|
| 1 |
|
| Mukama Katonda n’agamba Musa nti, |
|
| 2 |
|
| “Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo: |
|
| 3 |
|
| “ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba, |
|
| 4 |
|
| n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni, |
|
| 5 |
|
| awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene. |
|
| 6 |
|
| Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba. |
|
| 7 |
|
| Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola; |
|
| 8 |
|
| eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada, |
|
| 9 |
|
| ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono. |
|
| 10 |
|
| Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu. |
|
| 11 |
|
| Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya. |
|
| 12 |
|
| Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo. “ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ” |
|
| 13 |
|
| Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu, |
|
| 14 |
|
| kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe. |
|
| 15 |
|
| Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.” |
|
| 16 |
|
| Mukama Katonda n’agamba Musa nti, |
|
| 17 |
|
| “Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni. |
|
| 18 |
|
| Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi. |
|
| 19 |
|
| “Gano ge mannya gaabwe: “Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda. |
|
| 20 |
|
| Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni. |
|
| 21 |
|
| Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini. |
|
| 22 |
|
| Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani. |
|
| 23 |
|
| Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. |
|
| 24 |
|
| Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu. |
|
| 25 |
|
| Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni. |
|
| 26 |
|
| Palutiyeri mutabani wa Azani nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali, |
|
| 27 |
|
| ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri, |
|
| 28 |
|
| ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.” |
|
| 29 |
|
| Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri. |
|
|
|
|