Mubabale nga muva ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Olusiisira bwe lunaabanga lusitula, Alooni ne batabani be banaayingiranga mu Weema ya Mukama, ne batimbulula eggigi ery’olutimbe ne balibikka ku Ssanduuko ey’Endagaano.
“Banaddiranga ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu gy’obuweereza mu watukuvu ne babiteeka mu lugoye olwa bbululu ne babibikkako amaliba ga lukwata, ne babiteeka ku misituliro gyabyo.
“Alooni ne batabani be bwe banaamalanga okusibako awatukuvu ne byonna ebibeeramu, nga n’ekiseera ky’olusiisira okusitula mu lugendo kituuse; awo batabani ba Kokasi banajjanga ne babisitula, naye ekintu kyonna ekitukuvu tebakikwatangako, baleme okufa. Ebyo bye bintu eby’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu batabani ba Kokasi bye baneetikkanga.
Mu kuweereza kwonna okw’Abagerusoni, oba mu kwetikka oba mu kukola emirimu egy’engeri endala, Alooni ne batabani be, be banaabalagiranga. Abagerusoni ojjanga kubakwasa obuvunaanyizibwa bwonna ku ebyo bye baneetikkanga.
Obwo bwe buweereza bwa batabani ba Gerusoni nga bukwata ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bye banaakolanga binaalabirirwanga Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
Egyo gye ginaabanga emirimu gy’omu mpya z’abaana ba Merali nga bali mu buweereza bwabwe obwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”
Ne bababala nga batandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku myaka amakumi ataano, abajja okuweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu,
Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogw’abo abaali mu mpya z’Abakokasi abaaweerezanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama bwe yalagira Musa.
Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwa batabani ba Gerusoni abaali mu mpya za Abagerusoni abaaweerezanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.