Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukama n'ayogera ne Musa nti |
| 2 |
| Yogera ne Alooni omugambe nti Bw'onookoleezanga ettabaaza, ettabaaza omusavu zinaayakiranga mu maaso g'ekikondo. |
| 3 |
| Alooni n'akola bw'atyo; yakoleeza ettabaaza zaakyo okwakiranga mu maaso g'ekikondo, nga Mukama bwe yalagira Musa. |
| 4 |
| Era guno gwe gwali omulimu ogw'ekikondo, mulimu gwa zaabu mpeese; okutuuka ku ntobo yaakyo, n'okutuuka ku bimuli byakyo, kyali mulimu muweese: ng'ekyokulabirako bwe kyali Mukama kye yalaga Musa, bw'atyo bwe yakola. |
| 5 |
| Mukama n'agamba Musa nti |
| 6 |
| Yawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri, obalongoose. |
| 7 |
| Era bw'onoobakola bw'oti okubalongoosa: mansira ku bo amazzi ag'okutangirira, era akamwano bakayise ku mubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beerongoose. |
| 8 |
| Kale batwale ente envubuka, n'ekiweebwayo kyako eky'obutta, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'ente envubuka ey'okubiri gitwale okuba ekiweebwayo olw'ekibi. |
| 9 |
| Awo onooyanjula Abaleevi mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: n'okuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri: |
| 10 |
| n'oyanjula Abaleevi mu maaso ga Mukama: abaana ba Isiraeri ne balyoka bateeka emikono gyabwe ku Baleevi: |
| 11 |
| Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku bw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okukola okuweereza kwa Mukama. |
| 12 |
| Abaleevi ne bateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente; naawe oweeyo emu okuba ekiweebwayo, olw'ekibi, n'ey'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, eri Mukama, okutangirira Abaleevi. |
| 13 |
| N'oteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama. |
| 14 |
| Bw'otyo bw'onooyawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri: n'Abaleevi banaabanga bange. |
| 15 |
| Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe onoobalongoosa, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa. |
| 16 |
| Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi mu baana ba Isiraeri; naabeetwalira mu kifo ky'abo bonna abaggula nda, be babereberye ku baana ba Isiraeri bonna. |
| 17 |
| Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba nga muntu oba nga nsolo: ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nabeetukuliza. |
| 18 |
| Era ntutte Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri. |
| 19 |
| Era mpadde Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni n'eri batabani be nga mbaggya mu baana ba Isiraeri, okukolanga okuweereza kw'abaana ba Isiraeri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga abaana ba Isiraeri: walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, abaana ba Isiraeri nga basembera mu watukuvu. |
| 20 |
| Bw'atyo Musa bwe yakola Abaleevi ne Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa ku Baleevi, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baabakola. |
| 21 |
| Abaleevi ne beerongoosa mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abatangirira okubalongoosa. |
| 22 |
| Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza kwabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be: nga Mukama bwe yali alagidde Musa ku Baleevi, bwe batyo bwe baabakola. |
| 23 |
| Mukama n'agamba Musa nti |
| 24 |
| Bino bye by'Abaleevi: abaakamaze emyaka abiri mu etaano n'okukirawo banaayingiranga okulwanira olutalo mu mulimu ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu: |
| 25 |
| era bwe banaawezanga emyaka ataano, banaalekeranga awo okulwanira mu mulimu, nga tebakyaweereza; |
| 26 |
| naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa, nga tebaweereza kuweereza kwonna. Bw'otyo bw'onookola Abaleevi mu ebyo bye baateresebwa. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/numbers/008.mp3
36
8