“Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ng’omaze okubafuula abalongoofu era ng’obawaddeyo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.
Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo ky’ababereberye, eky’abaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri.
Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ng’ekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.”
Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
“Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja ab’emyaka amakumi abiri mu etaano egy’obukulu n’okusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu;
Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bw’otyo bw’onootegekanga emirimu gy’Abaleevi.”