Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’avaayo n’agenda okubuulira n’okuyigiriza mu bibuga byabwe. |
| 2 |
| Yokaana Omubatiza, eyali omusibe mu kkomera mu kiseera ekyo, bwe yawulira emirimu Kristo gye yali akola, n’amutumira abayigirizwa be. |
| 3 |
| Ne babuuza Yesu nti, “Ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira, nantiki tulindirireyo omulala?” |
| 4 |
| Yesu n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumugambe bye mulaba ne bye muwulira. |
| 5 |
| Abazibe b’amaaso balaba, n’abalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, n’abafu bazuukizibwa n’abaavu babuulirwa Enjiri. |
| 6 |
| Era mumumpeere obubaka buno nti, ‘Alina omukisa oyo atanneesittalako.’ ” |
| 7 |
| Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza bwe baamala okugenda, Yesu n’ategeeza abantu ebya Yokaana nti, “Bwe mwagenda mu ddungu mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? |
| 8 |
| Naye kiki kye mwagenda okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambala engoye ennungi babeera mu mbiri za bakabaka. |
| 9 |
| Naye mwagenda kulaba ki? Nnabbi. Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. |
| 10 |
| Kubanga ye oyo ayogerwako mu Byawandiikibwa nti, “ ‘Ndiweereza omubaka wange akukulembere, alikuteekerateekera ekkubo nga tonnajja.’ |
| 11 |
| Ddala ddala mbagamba nti tewabangawo muntu eyazaalibwa omukazi asinga Yokaana Omubatiza. Naye asembayo okuba omukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu asinga Yokaana. |
| 12 |
| Era okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza n’okutuusa kaakano, obwakabaka obw’omu ggulu buyingirwa n’amaanyi, era abantu ab’amaanyi ennyo be babutwala. |
| 13 |
| Kubanga amateeka gonna era n’obunnabbi byonna byayogera okutuukira ddala ku Yokaana. |
| 14 |
| Era obanga mwagala okukkiriza, ye Eriya anaatera okujja. |
| 15 |
| Alina amatu agawulira, awulire.” |
| 16 |
| “Eggwanga lino nnaaligeraageranya ku ki? Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagamba bato bannaabwe nti, |
| 17 |
| “ ‘Twabafuuyira omulere, ne mutazina; ne tuyimba oluyimba olw’okukungubaga, ne mutakungubaga.’ |
| 18 |
| Kubanga Yokaana eyali talya wadde okunywa yajja ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni.’ |
| 19 |
| Omwana w’Omuntu, bwe yajja ng’alya era ng’anywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. B’abeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.” |
| 20 |
| Yesu n’anenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya. |
| 21 |
| “Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe. |
| 22 |
| Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango! |
| 23 |
| Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. |
| 24 |
| Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olw’okusalirako omusango!” |
| 25 |
| Yesu n’asaba bw’ati nti, “Ayi Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino eby’amazima wabikisa abo abeeyita ab’amagezi ennyo, naye n’obibikkulira abaana abato. |
| 26 |
| Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.” |
| 27 |
| “Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka y’amanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, n’abo Omwana b’aba ayagadde okulaga Kitaawe nabo bamumanyi.” |
| 28 |
| “Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. |
| 29 |
| Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. |
| 30 |
| Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/matthew/011.mp3
28
11