BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Mu budde obwo, Erode omufuzi atwala ekitundu yawulira ettutumu lya Yezu, |
| 2 |
| n'agamba abaweereza be nti: “Ono ye Yowanna Batista; azuukidde mu bafu, amaanyi ago kyegava gakola mu ye.” |
| 3 |
| Kubanga Erode yali akutte Yowanna n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera, olw'okubeera Erodiya muka Filippo muganda we, |
| 4 |
| kubanga Yowanna yamugambanga nti: “Tokkirizibwa kumwezza.” |
| 5 |
| Yayagalanga okumutta, naye n'atya abantu, kubanga baali bamutwala ng'omulanzi. |
| 6 |
| Naye olunaku olw'amazaalibwa ga Erode bwe lwatuuka, muwala wa Erodiya n'azina mu ddiiro, n'asanyusa Erode. |
| 7 |
| Erode n'atuuka n'okumusuubiza nga bw'alayira nti ajja kumuwa kyonna ky'anaasaba. |
| 8 |
| Ng'afukuutiriddwa nnyina, n'agamba nti: “Mpa wano kati omutwe gwa Yowanna Batista ku ssowaani.” |
| 9 |
| Kabaka n'anakuwala. Naye olw'okubeera ebirayiro bye yali alayidde n'olw'okubeera abagenyi be, n'alagira gumuweebwe. |
| 10 |
| N'atuma, n'atemako Yowanna omutwe mu kkomera, |
| 11 |
| omutwe gwe ne guleetebwa ku ssowaani, ne guweebwa omuwala, ye n'agutwalira nnyina. |
| 12 |
| Abayigirizwa be ne bajja, ne batwala omulambo ne baguziika; ne bagenda ne babuulira Yezu. |
| 13 |
| Yezu bwe yawulira ebyo, eyo n'avaayo mu lyato, n'agenda mu kifo eky'esuddeko ebbali yekka. Naye ebibiina bwe byawulira, abantu ne bamugoberera ku bigere nga bava mu bibuga. |
| 14 |
| Bwe yagoba ku mwalo, n'alaba ekibiina kinene; ne bamukwasa ekisa, n'awonya abalwadde baabwe. |
| 15 |
| Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bagamba nti: “Ekifo kino kyesudde n'obudde buyise; siibula ekibiina abantu bagende mu bibuga beegulireyo emmere gye banaalya.” |
| 16 |
| Naye Yezu n'abagamba nti: “Tewali kibatwala; mmwe mubawe kye banaalya.” |
| 17 |
| Ne bamuddamu nti: “Tetulinaawo kantu wano okuggyako emigaati etaano gyokka, n'ebyennyanja bibiri.” |
| 18 |
| N'abagamba nti: “Mubindeetere wano.” |
| 19 |
| Awo n'alagira abantu okubatuuza wansi ku muddo; n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula ku ggulu, ne yeebaza, emigaati n'agimenyamu, n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira abantu. |
| 20 |
| Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebisero kkumi na bibiri ebijjudde obutundutundu obwalema. |
| 21 |
| Abaalya bonna baali abasajja enkumi ttaano, obutabala bakazi na baana. |
| 22 |
| Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato, bamukulemberemu, balage emitala w'eri, ye nga bw'asiibula ekibiina. |
| 23 |
| Bwe yamala okusiibula ekibiina, n'ayambuka ku lusozi n'abeera eyo yekka nga yeegayirira. Obudde ne buwungeera ng'akyali eyo yekka. |
| 24 |
| Lyo eryato kati lyali sitadiyo nnyingi okuva ku lukalu, amayengo nga galisunda, kubanga empewo yali ebafuluma mu maaso. |
| 25 |
| Mu kisisimuka ekyokuna n'ajja gye bali ng'atambula ku nnyanja. |
| 26 |
| Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne beesisiwala, ne bagamba nti: “Ogwo muzimu!” ne bawowoggana olw'okutya. |
| 27 |
| Amangu ago Yezu n'ayogera gye bali, n'abagamba nti: “Mugume; ye Nze. Temutya.” |
| 28 |
| Petero n'ayanukula nti: “Mukama, oba ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli ku mazzi.” |
| 29 |
| N'agamba nti: “Jjangu.” Petero n'ava mu lyato, n'atambula ku mazzi, n'agenda eri Yezu. |
| 30 |
| Naye bwe yalaba empewo nga nnyingi, n'atya; n'atandika okukka; n'aleekaana ng'agamba nti: “Mukama, mponya.” |
| 31 |
| Amangu ago Yezu n'agolola omukono n'amukwata, n'amugamba nti: “Ggwe ow'okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?” |
| 32 |
| Bwe baamala okusaabala mu lyato, empewo n'ekoma. |
| 33 |
| Abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti: “Mazima, oli Mwana wa Katonda.” |
| 34 |
| Bwe baawunguka, ne batuuka mu nsi y'e Gennesareti. |
| 35 |
| Ab'omu nsi eyo olwamutegeera, ne batuma buli wantu wonna mu nsi eyo, ne bamuleetera abalwadde bonna. |
| 36 |
| Ne bamwegayirira waakiri bakome ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaalukomako ne bawonyezebwa. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/matthew/014.mp3
28
14