|
| 1 |
|
| Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne bava e Yerusaalemu, ne bajja awali Yesu, ne bagamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Lwaki abayigirizwa bo tebafa ku bulombolombo bwa bajjajjaffe? Bwe baba bagenda okulya emmere, tebanaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwe bulagira?” |
|
| 3 |
|
| Yesu n'abaddamu nti: “Lwaki nammwe temufa ku kiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe? |
|
| 4 |
|
| Kubanga Katonda yagamba nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’ era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’ |
|
| 5 |
|
| Naye mmwe mugamba nti: ‘Buli ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye nandikuwadde okukuyamba, kiweereddwayo eri Katonda,’ |
|
| 6 |
|
| aba takyawalirizibwa kuyamba kitaawe. Bwe mutyo mwadibya ekiragiro kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe. |
|
| 7 |
|
| Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi bye yaboogerako bituufu, bwe yagamba nti: |
|
| 8 |
|
| ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe, tegindiiko. |
|
| 9 |
|
| N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu, kubanga ebigambo by'abantu obuntu bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’ ” |
|
| 10 |
|
| Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Muwulirize era mwetegereze: |
|
| 11 |
|
| ebyo omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo by'ayogera bye bizoonoona.” |
|
| 12 |
|
| Awo abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti: “Omanyi ng'Abafarisaayo banyiize bwe bawulidde ekigambo ekyo?” |
|
| 13 |
|
| Yesu n'addamu nti: “Buli kimera ekitaasimbibwa Kitange ow'omu ggulu, kirisimbulwa. |
|
| 14 |
|
| Mubaleke abo bakulembeze bamuzibe. Muzibe bw'akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu bunnya.” |
|
| 15 |
|
| Awo Peetero n'amuddamu nti: “Tutegeeze amakulu g'olugero olwo.” |
|
| 16 |
|
| Yesu n'agamba nti: “Nammwe temutegedde? |
|
| 17 |
|
| Temulaba nti buli kintu ekiriibwa kigenda mu lubuto, mwe kiva ne kifuluma? |
|
| 18 |
|
| Naye ebyogerwa biva mu mutima, era ebyo bye byonoona empisa z'omuntu. |
|
| 19 |
|
| Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okwogera obubi ku balala. |
|
| 20 |
|
| Bino bye byonoona empisa z'omuntu. Naye omuntu okulya nga tanaabye mu ngalo ng'obulombolombo bwe bulagira, tekizoonoona.” |
|
| 21 |
|
| Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'alaga mu kitundu ky'e Tiiro ne Sidoni. |
|
| 22 |
|
| Omukazi Omukanaani, munnansi w'ekitundu ekyo, n'ajja gy'ali, n'aleekaana ng'agamba nti: “Nkwatirwa ekisa, Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi! Muwala wange aliko omwoyo omubi, gumubonyaabonya!” |
|
| 23 |
|
| Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja w'ali ne bamwegayirira nti: “Mugobe, kubanga ajja atuleekaanira!” |
|
| 24 |
|
| Yesu n'addamu nti: “Saatumibwa walala okuggyako eri abantu ba Yisirayeli abaabula.” |
|
| 25 |
|
| Awo omukazi n'ajja n'asinza Yesu nga bw'agamba nti: “Ssebo, nnyamba!” |
|
| 26 |
|
| Yesu n'addamu nti: “Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'esuulirwa obubwa.” |
|
| 27 |
|
| Omukazi n'agamba nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'obubwa, bulya ku bukunkumuka obuva ku mmeeza ya bakama baabwo.” |
|
| 28 |
|
| Yesu n'amuddamu nti: “Mukazi wattu, olina okukkiriza kunene! Kikukolerwe nga bw'oyagala.” Muwala we n'awona mu kiseera ekyo. |
|
| 29 |
|
| Yesu bwe yava mu kifo ekyo, n'ajja ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'ayambuka ku lusozi n'atuula. |
|
| 30 |
|
| Abantu bangi nnyo ne bajja w'ali nga baleese abalema, bamuzibe, abakonzibye, ne bakasiru, n'abalwadde abalala bangi. Ne babassa kumpi n'ebigere bye, n'abawonya. |
|
| 31 |
|
| Abantu ne bawuniikirira nga balaba ababadde bakasiru boogera, ababadde bakonzibye balamu, ababadde abalema batambula, ababadde bamuzibe balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Yisirayeli. |
|
| 32 |
|
| Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya. Saagala kubasiibula ng'enjala ebaluma, sikulwa nga bazirikira mu kkubo.” |
|
| 33 |
|
| Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Mu ddungu tunaggya wa emmere emala okukkusa abantu abangi bwe batyo?” |
|
| 34 |
|
| Yesu n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne baddamu nti: “Musanvu, n'obwennyanja mpa we buzira.” |
|
| 35 |
|
| Awo n'alagira abantu batuule wansi. |
|
| 36 |
|
| N'atoola emigaati omusanvu n'ebyennyanja, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be, abayigirizwa ne babigabira abantu. |
|
| 37 |
|
| Bonna ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalemerawo, ne bujjuza ebibbo musanvu. |
|
| 38 |
|
| Abo abaalya, baali abasajja enkumi nnya, awatali kubala bakazi na baana. |
|
| 39 |
|
| Awo Yesu n'asiibula abantu, n'asaabala mu lyato, n'alaga mu kitundu ky'e Magadani. |
|
|
|
|