Luganda Bible
|
| 1 |
| Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu? |
| 2 |
| N'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe, |
| 3 |
| n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu. |
| 4 |
| Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. |
| 5 |
| Na buli alisembeza omwana omuto ng'ono mu linya lyange ng'asembezezza nze: |
| 6 |
| naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja. |
| 7 |
| Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza! |
| 8 |
| Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko okusuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi. |
| 9 |
| Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu okusinga okusuulibwa mu Ggeyeem ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi. |
| 10 |
| Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu. |
| 11 |
| Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula. |
| 12 |
| Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko? |
| 13 |
| Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze. |
| 14 |
| Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira. |
| 15 |
| Muganda wo bw'akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulira ng'ofunye muganda wo. |
| 16 |
| Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate. |
| 17 |
| Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza. |
| 18 |
| Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu: era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu. |
| 19 |
| Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu. |
| 20 |
| Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe. |
| 21 |
| Awo Peetero n'ajja, n'amugamba nti Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? kutuusa emirundi musanvu? |
| 22 |
| Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu. |
| 23 |
| Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo n'abaddu be. |
| 24 |
| Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta akakumi. |
| 25 |
| Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja liggwe. |
| 26 |
| Awo omuddu n'agwa wansi n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mmanja npola, nange ndikusasula byonna. |
| 27 |
| Mukama w'omuddu oyo n'amuaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja. |
| 28 |
| Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti Sasula ebbanja lyange. |
| 29 |
| Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti Mmanja mpola, nange ndikusasula. |
| 30 |
| N'atakkiriza: naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, amale okusasula ebbanja. |
| 31 |
| Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddeyo. |
| 32 |
| Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira: |
| 33 |
| naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe? |
| 34 |
| Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula ebbanja lyonna. |
| 35 |
| Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/matthew/018.mp3
28
18