|
| 1 |
|
| Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?” |
|
| 2 |
|
| Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. |
|
| 3 |
|
| N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. |
|
| 4 |
|
| Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu. |
|
| 5 |
|
| “Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. |
|
| 6 |
|
| Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.” |
|
| 7 |
|
| “Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. |
|
| 8 |
|
| Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. |
|
| 9 |
|
| Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.” |
|
| 10 |
|
| “Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. |
|
| 11 |
|
| Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula. |
|
| 12 |
|
| “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? |
|
| 13 |
|
| Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. |
|
| 14 |
|
| Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.” |
|
| 15 |
|
| “Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. |
|
| 16 |
|
| Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. |
|
| 17 |
|
| Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo. |
|
| 18 |
|
| “Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa. |
|
| 19 |
|
| “Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. |
|
| 20 |
|
| Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.” |
|
| 21 |
|
| Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?” |
|
| 22 |
|
| Yesu n’amuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.” |
|
| 23 |
|
| Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be. |
|
| 24 |
|
| Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta omutwalo gumu. |
|
| 25 |
|
| Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe. |
|
| 26 |
|
| “Naye omuddu oyo n’agwa wansi mu maaso ga mukama we, n’amwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’ |
|
| 27 |
|
| “Mukama we n’asaasira omuddu oyo n’amusonyiwa ebbanja lyonna! |
|
| 28 |
|
| “Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’ |
|
| 29 |
|
| “Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’ |
|
| 30 |
|
| “Naye amubanja n’agaana okumuwuliriza, n’amuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. |
|
| 31 |
|
| Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye. |
|
| 32 |
|
| “Awo mukama we n’atumya omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde, |
|
| 33 |
|
| naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’ |
|
| 34 |
|
| Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. |
|
| 35 |
|
| “Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.” |
|
|
|
|