Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa n'omuntu nnannyini nnimiro y'emizabbibu, eyakeera ku makya ennyo okunoonya abakozi ab'okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu. |
| 2 |
| “Bwe yamala okukkiriziganya nabo okubasasula denaari emu olunaku, n'abasindika okukola mu nnimiro ye ey'emizabbibu. |
| 3 |
| Era n'afuluma ku ssaawa nga ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde awo mu katale, nga tebalina kye bakola. |
| 4 |
| N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mu nnimiro yange ey'emizabbibu mukole, nnaabasasula ekibasaanira.’ |
| 5 |
| Ne bagenda. N'afuluma nate ku ssaawa nga mukaaga, ne ku ssaawa nga mwenda, n'akola ekintu kye kimu. |
| 6 |
| Era ne ku ssaawa nga kkumi n'emu n'afuluma, n'asanga abalala nga bayimiridde, n'ababuuza nti: ‘Lwaki muyimiridde wano olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’ |
| 7 |
| “Ne bamuddamu nti: ‘Kubanga tewali yatututte kumukolera.’ N'abagamba nti: ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey'emizabbibu.’ |
| 8 |
| “Obudde bwe bwawungeera, nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba musajja we alabirira abakozi, nti: ‘Yita abakozi, obasasule empeera yaabwe, ng'otandikira ku baasembyeyo okujja okukola, osembyeyo abaasoose ku mulimu.’ |
| 9 |
| “Abo abaatandika okukola ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne basasulwa denaari emu buli omu. |
| 10 |
| Ababereberye ku mulimu bwe bajja okusasulwa, ne balowooza nti banaafuna kinene okusinga ku kya bali kye bafunye. Naye nabo ne bafuna denaari emu buli omu. |
| 11 |
| “Bwe baazifuna, ne beemulugunyiza nnannyini nnimiro, |
| 12 |
| nga bagamba nti: ‘Bano abazze oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obasasula kye kimu nga ffe abaakoze omulimu olunaku lwonna, nga n'essana litwokya?’ |
| 13 |
| Kyokka ye n'addamu omu ku bo nti: ‘Munnange, sikulyazaamaanyizza. Tewalagaanye nange denaari emu? |
| 14 |
| Twala eyiyo, ogende. Njagadde okuwa ono eyazze oluvannyuma nga bwe mpadde ggwe. |
| 15 |
| Sikkirizibwa kukozesa byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya kubanga ndi mulungi?’ |
| 16 |
| “Bwe batyo ab'oluvannyuma, baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye, baliba ab'oluvannyuma.” |
| 17 |
| Yesu bwe yali ng'ayambuka e Yerusaalemu, n'azza ku bbali abayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti: |
| 18 |
| “Laba twambuka e Yerusaalemu, era eyo Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu, ne mu bannyonnyozi b'amateeka. Bajja kumusalira ogw'okufa, |
| 19 |
| era bamuweeyo mu b'amawanga amalala okumusekerera, n'okumukubisa embooko eriko amalobo agasuna, n'okumukomerera ku musaalaba. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.” |
| 20 |
| Awo nnyina w'abatabani ba Zebedaayo n'ajja ne batabani be eri Yesu, n'amufukaamirira, n'abaako ky'amusaba. |
| 21 |
| Yesu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?” N'amuddamu nti: “Suubiza nti mu Bwakabaka bwo, batabani bange bano bombi, balituula nga bakuliraanye, omu ku ludda lwo olwa ddyo, ate omulala ku lwa kkono.” |
| 22 |
| Yesu n'addamu nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako?” Ne bamuddamu nti: “Tusobola.” |
| 23 |
| Yesu n'abagamba nti: “Ddala ekikopo kyange eky'okubonaabona mulikinywako. Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa Kitange.” |
| 24 |
| Abayigirizwa abalala ekkumi bwe baakiwulira, ne banyiigira abooluganda bombi. |
| 25 |
| Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali. N'abagamba nti “Mumanyi ng'abafuzi b'abantu ab'ensi baagala kuweerezebwa. Era ababa n'obuyinza, bafugisa bukambwe. |
| 26 |
| Naye mu mmwe, si bwe kiteekwa okuba. Wabula mu mmwe, buli ayagala okuba omukulembeze, ateekwa okuba omuweereza wa banne. |
| 27 |
| Era buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe, ateekwa okuba omuddu wa bonna, |
| 28 |
| okufaanana ng'Omwana w'Omuntu, atajjirira kuweerezebwa, wabula okuweereza, era n'okuwaayo obulamu bwe, ng'omutango okununula abangi.” |
| 29 |
| Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga bava e Yeriko, ekibiina ky'abantu kinene ne kimugoberera. |
| 30 |
| Bamuzibe babiri abaali batudde ku mabbali g'ekkubo, ne bawulira nti Yesu ayitawo, ne batandika okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!” |
| 31 |
| Abantu ne bababoggolera basirike. Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Ssebo, Omuzzukulu wa Dawudi, tukwatirwe ekisa!” |
| 32 |
| Awo Yesu n'ayimirira n'abayita, n'ababuuza nti: “Mwagala mbakolere ki?” |
| 33 |
| Ne baddamu nti: “Ssebo tuzibule amaaso.” |
| 34 |
| Yesu n'abakwatirwa ekisa, n'akwata ku maaso gaabwe. Amangwago ne basobola okulaba, ne bagenda naye. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/matthew/020.mp3
28
20