Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali basemberedde ekibuga Yerusaalemu, nga batuuse e Betufaage, okumpi n'Olusozi olw'emiti Emizayiti, Yesu n'atuma abayigirizwa babiri, |
| 2 |
| n'abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangwago, mujja kulaba endogoyi esibiddwa nga eri n'omwana gwayo. Muzisumulule, muzindeetere. |
| 3 |
| Singa wabaawo abavunaana, mugamba nti: ‘Mukama waffe azeetaaga’, olwo ye ajja kuziweereza mangu.” |
| 4 |
| Kino kyabaawo okutuukiriza ekyo omulanzi kye yayogera nti: |
| 5 |
| “Mubuulire abantu b'e Siyooni nti: Laba, Kabaka wammwe ajja gye muli. Muteefu, era yeebagadde endogoyi, yeebagadde omwana gw'endogoyi.” |
| 6 |
| Awo abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira. |
| 7 |
| Ne baleeta endogoyi n'omwana gwayo, ne bazissaako ekkooti zaabwe, ne bazeebagazaako Yesu. |
| 8 |
| Abantu ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne batema obutabi ku miti, ne babwaliira mu kkubo. |
| 9 |
| Abantu abangi abaali bamukulembedde, era n'abo abaali bava emabega, ne baleekaana nti: “Omuzzukulu wa Dawudi, atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama aweereddwa omukisa! Mukama ali mu ggulu atenderezebwe!” |
| 10 |
| Awo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemu, ekibuga kyonna ne kiyuuguuma. Abakirimu ne babuuza nti: “Oyo ani?” |
| 11 |
| Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Ono ye mulanzi, Yesu ow'e Nazaareeti eky'e Galilaaya.” |
| 12 |
| Awo Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'agobamu abo bonna abaali batundiramu, n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batundiramu enjiibwa. |
| 13 |
| N'abagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kunsinzizaamu.’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi.” |
| 14 |
| Awo bamuzibe n'abalema ne bajja awali Yesu mu Ssinzizo, n'abawonya. |
| 15 |
| Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baalaba ebyamagero bye yakola, era ne balaba abaana nga baleekaana mu Ssinzizo, nga bagamba nti: “Omuzzukulu wa Dawudi atenderezebwe,” ne banyiiga. |
| 16 |
| Ne bagamba nti: “Owulira abo bye bagamba?” Yesu n'abaddamu nti: “Weewaawo. Temusomangako ekyawandiikibwa ekigamba nti: ‘Wagunjula abaana abawere n'abayonka okuwa ettendo ettuufu?’ ” |
| 17 |
| N'abaawukanako, n'afuluma ekibuga, n'alaga e Betaniya, n'asula eyo. |
| 18 |
| Enkeera ku makya, Yesu bwe yali addayo mu kibuga, n'alumwa enjala. |
| 19 |
| N'alengera omuti gumu omutiini ku mabbali g'ekkubo. N'agutuukako, n'atagusangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka. N'agugamba nti: “Toddangayo okubala ebibala emirembe gyonna!” Amangwago omutiini ne gukala. |
| 20 |
| Abayigirizwa bwe baalaba ekyo, ne beewuunya! Ne bagamba nti: “Omutiini gukaze gutya amangu?” |
| 21 |
| Yesu n'abaddamu nti: “Mazima mbagamba nti singa muba n'okukkiriza nga temubuusabuusa, munaayinzanga okukola kye nkoze ku mutiini ogwo. Era si ekyo kyokka, naye munaayinzanga n'okugamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja,’ ne kituukirira. |
| 22 |
| Era singa muba n'okukkiriza, byonna bye munaasabanga Katonda nga mumusinza, munaabifunanga.” |
| 23 |
| Awo Yesu bwe yakomawo mu Ssinzizo, bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja w'ali ng'ayigiriza, ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola bino? Era ani yakuwa obuyinza buno?” |
| 24 |
| Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Bwe munaakinziramu, olwo nange nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola bino. |
| 25 |
| Ani yatuma Yowanne okubatiza: Katonda, oba bantu?” Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tuddamu nti: ‘Katonda ye yamutuma’, ajja kutubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne ono temwamukkiriza?’ |
| 26 |
| Ate singa tuddamu nti: ‘Abantu be baamutuma,’ tutya abantu: kubanga bonna bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.” |
| 27 |
| Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bino. |
| 28 |
| “Kale mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri, n'agenda eri omubereberye, n'amugamba nti: ‘Mwana wange, olwaleero genda okole mu nnimiro y'emizabbibu.’ |
| 29 |
| Ye n'addamu nti: ‘Ŋŋaanye.’ Kyokka oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda n'akola. |
| 30 |
| Kitaabwe era n'agenda eri owookubiri n'amulagira ekintu kye kimu. Ye n'addamu nti: ‘Ka ŋŋende, ssebo.’ Kyokka n'atagenda. |
| 31 |
| Kale ani ku bombi eyakola ekyo kitaawe kye yayagala?” Ne baddamu nti: “Omubereberye.” Yesu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti abasolooza b'omusolo ne bamalaaya babasooka mmwe okuyingira Obwakabaka bwa Katonda, |
| 32 |
| kubanga Yowanne Omubatiza yajja gye muli, n'abalaga ekkubo ettuufu, ne mutamukkiriza. Naye abasolooza b'omusolo ne bamalaaya, bo baamukkiriza. Ekyo mwakiraba, naye n'oluvannyuma temwenenya mulyoke mumukkirize.” |
| 33 |
| “Muwulire olugero olulala. Waaliwo omuntu ssemaka, eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agyetoolooza olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala. |
| 34 |
| Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma abaddu be eri abapangisa, bamuwe ebibala ebibye. |
| 35 |
| Kyokka abapangisa ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, n'omulala ne bamukasuukirira amayinja. |
| 36 |
| N'ayongera okutuma abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye. Era ne babakola ekintu kye kimu. |
| 37 |
| Oluvannyuma n'abatumira omwana we ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamussaamu ekitiibwa.’ |
| 38 |
| Naye abapangisa bwe baalaba omwana oyo, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika! Mujje tumutte, obusika buliba bwaffe.’ |
| 39 |
| Ne bamukwata, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta. |
| 40 |
| “Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu bw'alijja, alikola atya abapangisa abo?” |
| 41 |
| Ne bamuddamu nti: “Ababi abo alibazikiririza ddala, era ennimiro y'emizabbibu aligissaamu abapangisa abalala, abanaamuwanga ebibala mu kiseera ekituufu.” |
| 42 |
| Yesu n'abagamba nti: “Temusomangako ekyo ebyawandiikibwa kye bigamba? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro. Ekyo Mukama ye yakikola, ne tukiraba, ne tukyewuunya.’ |
| 43 |
| “N'olwekyo mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako mmwe, ne buweebwa abantu abalikola ebikolwa ebibusaanira. [ |
| 44 |
| Buli agwa ku jinja eryo, alimenyekamenyaka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.”] |
| 45 |
| Bakabona abakulu n'Abafarisaayo bwe baawulira engero za Yesu, ne bategeera nti ayogedde ku bo. |
| 46 |
| Ne bagezaako okumukwata, naye ne batya ekibiina ky'abantu, kubanga kyali kimanyi nti Yesu mulanzi. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/matthew/021.mp3
28
21