BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Awo Yezu n'ava mu Kiggwa; aba agenda, abayigirizwa be ne basembera w'ali okumulaga enzimba y'Ekiggwa. |
| 2 |
| Ye n'abaddamu nti: “Ebyo byonna mubirabye? Mazima mbagamba nti wano tewalisigala jjinja liri ku linnaalyo litalisuulibwa wansi.” |
| 3 |
| Bwe yali atudde ku Lusozi lw'Oliva, abayigirizwa be ne basembera w'ali ebbali yekka, ne bagamba nti: “Tubuulire, ebyo biribeerawo ddi, kaluwa akaliba akabonero k'okujja kwo n'ak'enkomerero y'emirembe?” |
| 4 |
| Yezu n'ayanukula n'abagamba nti: “Mwekkaanye, tewabaawo abawubisa. |
| 5 |
| Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze Kristu,’ era baliwubisa bangi. |
| 6 |
| Muliwulira entalo, n'eŋŋambo z'entalo. Mwekuume, temwekanganga. Ebyo tebirirema kubaawo; naye yo enkomerero eriba tennatuuka. |
| 7 |
| Kubanga eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo; walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebimu; |
| 8 |
| naye ebyo byonna kwe kusookereza kw'okulumwa. |
| 9 |
| “Balibawaayo okubabonyaabonya ne babatta. Amawanga gonna galibakyawa olw'okubeera erinnya lyange. |
| 10 |
| Bangi baliterebuka, ne balyaŋŋanamu enkwe, ne bakyawagana. |
| 11 |
| Abalanzi ab'obulimba bangi balisituka ne bawubisa bangi. |
| 12 |
| Olw'obugwenyufu okugenda nga bweyongera, bangi okwagala kwabwe kulinnyogoga. |
| 13 |
| Naye aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero alirokoka. |
| 14 |
| N'Evangili eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, ng'obukakafu eri amawanga gonna; olwo nno enkomerero n'eryoka etuuka. |
| 15 |
| “Awo nno bwe muliraba ekyenyinyalwa ekizikiriza, Danyeli omulanzi kye yayogerako, nga kiri mu Kifo Ekitukuvu, asoma bino ategeeranga. |
| 16 |
| Olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi; |
| 17 |
| aliba ku kasolya waggulu takkanga kuggyamu kantu mu nnyumba ye, |
| 18 |
| n'alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala munagiro gwe. |
| 19 |
| Zibasanze abo abaliba embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! |
| 20 |
| Mwegayirire okudduka kwammwe kuleme kutuuka mu budde bwa butiti oba ku Sabbaato. |
| 21 |
| Kubanga mu nnaku ezo mulibaamu ebibonoobono bingi ebitabangawo okuva mu masooka g'ensi n'okutuusa kati, era tebiribaawo nate. |
| 22 |
| Era singa ennaku tezaakendeezebwako, tewandiwonye muntu n'omu; naye, olw'okubeera abalondemu, ennaku ezo zirikendeezebwako. |
| 23 |
| “Awo nno bwe wabangawo abagamba nti: ‘Laba, Kristu wuuno wano,’ oba nti: ‘Wuuli wali!’ temukkirizanga. |
| 24 |
| Kubanga Bakristu ab'obulimba n'abalanzi ab'obulimba bagenda kusituka; balikola obubonero obunene n'ebyewuunyisa okuwubisa n'ewandibadde abalondemu, singa kiyinzika. |
| 25 |
| Laba, mbalabuliddewo. |
| 26 |
| Awo nno ne bwe babagambanga nti: ‘Wuuli mu ddungu,’ temugendangayo; oba nti: ‘Wuuno wano mu nnyumba,’ temukkirizanga. |
| 27 |
| Kubanga ng'ekimyanso bwe kimyansiza ebuvanjuba ne kyaka okutuuka ebugwanjuba, n'okutuuka kw'Omwana w'Omuntu bwe kuliba kutyo. |
| 28 |
| Omulambo we gubeera, n'ensega we zirikuŋŋaanira. |
| 29 |
| “Amangu ng'ebibonoobono eby'ennaku ezo byakaggwa, enjuba eriddugala, omwezi gulirekayo okwaka, n'emmunyeenye zirigwa okuva ku ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa. |
| 30 |
| Awo akabonero k'Omwana w'Omuntu kalirabika ku ggulu; ebika byonna eby'oku nsi ne biryoka bitema ebiwoobe; baliraba Omwana w'Omuntu ng'ajjira ku bire eby'oku ggulu, n'amaanyi mangi, n'ekitiibwa kinene. |
| 31 |
| Alituma bamalayika be n'okuvuga kw'ekkondeere okw'amaanyi ne bakuŋŋaanya abalonde be okuva mu njuyi ennya, okuva ku nsonda emu ey'eggulu okutuuka ku ndala. |
| 32 |
| “Mulabire ku mukunyu; ettabi lyagwo bwe lidda obuto, ne lissaako amakoola, mutegeera ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka. |
| 33 |
| Nammwe nno, bwe mulabanga ebyo byonna, mumanyanga nti ali kumpi, ku miryango kwennyini. |
| 34 |
| Mazima mbagamba nti ezzadde lino teririggwaawo ebyo byonna nga tebinnatuukirira. |
| 35 |
| Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo. |
| 36 |
| “Kyokka olunaku lwennyini oba akadde tewali abimanyi, newandibadde bamalayika mu ggulu, yadde Mwana, wabula Taata yekka. |
| 37 |
| Ng'obudde bwa Nowa bwe bwali, bwe guliba ne mu kujja kw'Omwana w'Omuntu. |
| 38 |
| Nga bwe gwali mu nnaku ezaakulembera omujjuzi: abantu baali balya, baali banywa, nga bawasa, nga bafumbiza, okutuusa olunaku Nowa lwe yayingira mu kyombo, |
| 39 |
| ne batamanya, okutuusa omujjuzi lwe gwajja ne gubeerawo bonna, n'okujja kw'Omwana w'Omuntu bwe kuliba bwe kutyo. |
| 40 |
| “Abasajja babiri balibeera mu nnimiro, omu alitwalibwa, omulala n'alekebwa. |
| 41 |
| Abakazi babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa, omulala n'alekebwa. |
| 42 |
| Awo nno mutunule, kubanga temumanyi lunaku ki Mukama wammwe lw'alituukirako. |
| 43 |
| Mumanye na kino nti singa nnannyinimu yali ategedde akaseera omubbi k'anajjiramu, yanditunudde, n'ataganya nnyumba ye kumenyebwa. |
| 44 |
| Nammwe nno mwetegekenga, kubanga Omwana w'Omuntu alijja mu kaseera ke mutalowooza. |
| 45 |
| “Awo nno ye ani oyo omuweereza omwesigwa era omwegendereza mukama we gwe yassa ku b'omu nnyumba ye okubawa emmere akadde nga katuuse? |
| 46 |
| Omuweereza oyo yeesiimye mukama we bw'alijja amala amusanga ng'akola bw'atyo! |
| 47 |
| Mazima mbagamba nti alimussa ku bibye byonna. |
| 48 |
| Naye singa omuweereza omubi oyo agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aludde,’ |
| 49 |
| n'asooka okukuba baweereza banne, n'alya, n'anywa n'abatamiivu, |
| 50 |
| mukama w'omuweereza oyo alijja ku lunaku lw'atamusuubira ne mu kaseera k'atamanyi. |
| 51 |
| Alimubonereza nnyo, n'amuteeka n'abakuusa, eyo awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/matthew/024.mp3
28
24