BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| “Olwo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaanaanyirizibwa abawala ekkumi abaakwata ettawaaza zaabwe ne bagenda okwaniriza awasizza. |
| 2 |
| Abataano ku bo baali babuyabuya, naye abalala abataano nga balabufu. |
| 3 |
| Kubanga abataano ababuyabuya, bwe baakwata ettawaaza zaabwe, tebaatwalirako muzigo. |
| 4 |
| Abalabufu bo ne batwala omuzigo mu ccupa wamu n'ettawaaza zaabwe. |
| 5 |
| Awasa bwe yalwawo okutuuka, bonna ne basumagira, ne beebaka. |
| 6 |
| Eyo mu ttumbi, ne wabaawo obuluulu nti: ‘Awasa wuuyo! Mufulume mumusisinkane.’ |
| 7 |
| Abawala bali bonna ne basituka, ne balongoosa ettawaaza zaabwe. |
| 8 |
| Ababuyabuya ne bagamba abalabufu nti: ‘Mutuwe ku muzigo gwammwe, kubanga ettawaaza zaffe zizikira.’ |
| 9 |
| Abalabufu ne baddamu nga bagamba nti: ‘Oba oli awo ne gutatumala, ffe nammwe. Ekisinga mugende mu batunzi mwegulireyo.’ |
| 10 |
| Baali bagenze okwegulira, awasa n'atuuka; abaali beetegese ne bayingira wamu naye ku mbaga, omulyango ne guggalibwa. |
| 11 |
| Oluvannyuma abawala abaasigalira ne bajja, nga bagamba nti: ‘Ssebo, ssebo, tuggulirewo.’ |
| 12 |
| Ye n'ayanukula nti: ‘Mazima mbagamba nti nze sibamanyi.’ |
| 13 |
| Awo nno mwekuumenga, kubanga temumanyi lunaku na kaseera.” |
| 14 |
| “Era kiriba ng'omuntu eyali agenda olugendo, eyayita abaweereza be, n'abakwasa ebintu bye, |
| 15 |
| omu n'amukwasa talenta ttaano, omulala bbiri, n'omulala emu ng'alabira ku busobozi bwa buli omu. N'agenda. |
| 16 |
| Eyaweebwa talenta ettaano n'agenda mangu, n'azisuubuza, n'aviisaamu talenta endala ttaano. |
| 17 |
| Eyaweebwa ebbiri naye bwe yakola, naviisaamu endala bbiri. |
| 18 |
| Naye eyaweebwa talenta emu, n'agenda n'asima mu ttaka, n'akukulira omwo ensimbi za mukama we. |
| 19 |
| Oluvannyuma lw'ebbanga ddene, mukama w'abaweereza abo n'atuuka, n'atereeza nabo ebibye. |
| 20 |
| Eyafuna talenta ettaano n'asembera, n'aleeta talenta endala ttaano, n'agamba nti: ‘Ssebo, wankwasa talenta ttaano; laba, naviisaamu endala ttaano.’ |
| 21 |
| Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuweereza omulungi omwesigwa, kubanga wali mwesigwa mu bitono, nzija kukukwasa ebingi. Kale yingira mu ssanyu lya mukama wo.’ |
| 22 |
| Eyaweebwa talenta ebbiri n'asembera n'agamba nti: ‘Ssebo, wankwasa talenta bbiri; laba naviisaamu endala bbiri.’ |
| 23 |
| Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale omuweereza omulungi, omwesigwa; kubanga wali mwesigwa mu bitono, nzija kukukwasa ebingi. Kale yingira mu ssanyu lya mukama wo.’ |
| 24 |
| N'eyafuna talenta emu n'asembera, n'agamba nti: ‘Ssebo, nkumanyi ng'oli muntu mukalubo; okungula gy'otaasiga, okuŋŋaanya gy'otaawewera. |
| 25 |
| Natya; kwe kugenda talenta yo ne ngikukulira mu ttaka; kwata ekikyo.’ |
| 26 |
| Mukama we n'addamu n'amugamba nti: ‘Muweereza ggwe omubi, engajaba! Wamanya nga nkungula gye saasiga, nkuŋŋaanya gye saawewera, |
| 27 |
| wali nno oteekwa ensimbi zange okuziwa abawaanyisa b'ensimbi; bwe nandikomyewo, ne nfuna ekyange ko n'amagoba. |
| 28 |
| Kale, talenta mugimuggyeeko, mugiwe oli alina ekkumi, |
| 29 |
| Kubanga buli alina aliweebwa n'afuna na biyitirivu; naye atalina ne ky'alina kirimuggyibwako. |
| 30 |
| Omuweereza ono entagasa mumukasuke ebweru mu nzikiza, eyo eriba okukaaba n'okuluma obujiji.’ |
| 31 |
| “Omwana w'Omuntu bw'alijja mu kitiibwa kye, wamu ne bamalayika be bonna, olwo alituula ku nnamulondo ye ey'ekitiibwa. |
| 32 |
| Amawanga gonna ne gakuŋŋaanira mu maaso ge, n'abaawulamu kinnoomu ng'omusumba bw'ayawula endiga mu mbuzi. |
| 33 |
| Alissa endiga ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku gwa kkono. |
| 34 |
| Awo kabaka aligamba abo abalimubeera ku mukono ogwa ddyo, nti: ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabategekerwa okuva ensi lwe yabangibwawo. |
| 35 |
| Kubanga bwe nali nnumwa enjala, mwampa ku kyokulya; bwe nali nnumwa ennyonta, mwampa ku kyokunywa; bwe nali omugenyi mwannyaniriza; |
| 36 |
| bwe nali obwereere, mwannyambaza; bwe nali omulwadde, mwannambula; bwe nali mu kkomera, mwantuukako.’ |
| 37 |
| Awo abatuukirivu balimuddamu nti: ‘Mukama, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, ne tukuliisa; ng'olumwa ennyonta, ne tukuwa ekyokunywa? |
| 38 |
| Twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukwaniriza; ng'oli bwereere ne tukwambaza? |
| 39 |
| Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba omusibe mu kkomera, ne tukulambula?’ |
| 40 |
| Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti nga bwe mwakikolera omu ku baganda bange bano abasingayo obuto, mwakikolera nze.’ |
| 41 |
| Awo aligamba abo abalibeera ku mukono gwe ogwa kkono nti: ‘Bavumirire mmwe, muve we ndi, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwategekerwa Sitaani ne bamalayika be; |
| 42 |
| Kubanga nali nnumwa enjala, ne mutampa kyakulya, nali nnumwa ennyonta, ne mutampa kyakunywa; |
| 43 |
| nali mugenyi ne mutannyaniriza, nali bukunya ne mutannyambaza; nali mulwadde ne mu kkomera, ne mutannambula.’ |
| 44 |
| Awo nabo balimuddamu nti: ‘Mukama, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, oba ng'olumwa ennyonta, oba ng'oli mugenyi, oba ng'oli bwereere, oba ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera ne tutakuweereza?’ |
| 45 |
| Alibaddamu ng'abagamba nti: ‘Mazima mbagamba nti nga bwe mwagaana okukikolera omu ku basingayo obuto bano, mwagaana kukikolera nze.’ |
| 46 |
| Abo nno baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; abatuukirivu bo mu bulamu obutaggwaawo.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/matthew/025.mp3
28
25