|
| 1 |
|
| Awo olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olwolubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu omulala ne bagenda okulaba entaana. |
|
| 2 |
|
| Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja n'aliggyawo, era n'alituulako. |
|
| 3 |
|
| Naye ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n'engoye ze zaali zitukula ng'omuzira. |
|
| 4 |
|
| era entiisa ye n'ekankanya abakuumi, ne baba ng'abafudde. |
|
| 5 |
|
| Naye malayika n'agamba abakazi nti, “Mmwe temutya; kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa. |
|
| 6 |
|
| Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo we yagalamizibwa. |
|
| 7 |
|
| Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; eyo gye mulimulabira, laba, mbabuulidde.” |
|
| 8 |
|
| Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisa naye nga balina essanyu lingi, ne badduka okubuulira abayigirizwa be. |
|
| 9 |
|
| Laba, Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti, “Mirembe.” Ne bajja ne bakwata ku bigere bye, ne bamusinza. |
|
| 10 |
|
| Awo Yesu n'abagamba nti, “Temutya, mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gye balindabira.” |
|
| 11 |
|
| Abakazi bwe baali bagenda, laba abakuumi abamu ne bajja mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebibaddewo. |
|
| 12 |
|
| Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa wamu, ne bawa abasserikale effeeza nnyingi, |
|
| 13 |
|
| ne babagamba nti, “Mugambanga nti, ‘Abayigirizwa be bajja ekiro, ne bamubba ffe nga twebase.’ |
|
| 14 |
|
| Naye ekigambo kino bwe kiribuulirwa owessaza, ffe tulimuwooyawooya, nammwe tulibaggyako omusango.” |
|
| 15 |
|
| Abakuumi ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabagamba; ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, n'okutuusa leero. |
|
| 16 |
|
| Awo abayigirizwa ekkumi n'omu (11) ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabalagira. |
|
| 17 |
|
| Bwe baamulaba ne bamusinza; naye abalala ne babuusabuusa. |
|
| 18 |
|
| Yesu n'ajja n'ayogera nabo, n'agamba nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. |
|
| 19 |
|
| Kale mugende, mufuule abantu b'amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu; |
|
| 20 |
|
| nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe. Era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” |
|
|
|
|