|
| 1 |
|
| Temusalanga musango, muleme okusalirwa. |
|
| 2 |
|
| Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe. |
|
| 3 |
|
| Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye notofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? |
|
| 4 |
|
| Oba olimugamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo; naye laba, enjaliiro ekyali ku liiso lyo ggwe? |
|
| 5 |
|
| Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo. |
|
| 6 |
|
| Temuwanga mbwa ekintu ekitukuvu, so temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n'ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma. |
|
| 7 |
|
| Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo: |
|
| 8 |
|
| kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; eyeeyanjula aliggulirwawo. |
|
| 9 |
|
| Oba muntu ki mu mmwe, omwana we bw'alimusaba emmere, alimuwa ejjinja; |
|
| 10 |
|
| oba bw'alisaba ekyennyanja, alimuwa omusota? |
|
| 11 |
|
| Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abamusaba? |
|
| 12 |
|
| Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo: kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi. |
|
| 13 |
|
| Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi, n'ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n'abo abayitamu bangi. |
|
| 14 |
|
| Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n'abo abaliraba batono. |
|
| 15 |
|
| Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye munda gy'emisege egisikula. |
|
| 16 |
|
| Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango? |
|
| 17 |
|
| Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi. |
|
| 18 |
|
| Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi. |
|
| 19 |
|
| Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro. |
|
| 20 |
|
| Kale mulibategeerera ku bibala byabwe. |
|
| 21 |
|
| Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala. |
|
| 22 |
|
| Bangi abaliŋŋmba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? |
|
| 23 |
|
| Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby'obujeemu. |
|
| 24 |
|
| Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi: |
|
| 25 |
|
| enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta; ne bikuba enju eyo; so n'etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi. |
|
| 26 |
|
| Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusajja atalina magezi, eyazimba enju ye ku musenyu: |
|
| 27 |
|
| enkuba n'etonnya; mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta; ne bikuba enju eyo; n'egwa: n'okugwa kwayo kwali kunene. |
|
| 28 |
|
| Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe: |
|
| 29 |
|
| kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi baabwe. |
|
|
|
|