BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Awo n'atandika okwogera nabo mu ngero nti: “Omuntu omu yasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agisibako olukomera, n'asimamu ekinnya ky'essogolero, n'azimbamu omunaala, n'agikwasa abalimi, n'agenda ku ggwanga. |
| 2 |
| Obudde bwe bwatuuka, n'atumira abakozi omuweereza anone ku bakozi ebibala by'ennimiro ye ey'emizabbibu. |
| 3 |
| Bo ne bamukwata, ne bamukuba, ne bamugoba ngalo nsa. |
| 4 |
| N'abatumira ate omuweereza omulala; n'oyo ne bamukuba olubale, ne bamuvumaavuma. |
| 5 |
| Era n'atuma omulala; ne bamutta; n'abalala bangi, abamu ne babaweweenyula, abandi ne babattira ddala. |
| 6 |
| Naye nno yalinayo omulala, mutabani we omu omwagalwa, n'amubatumira ng'agamba nti: ‘Omwana wange banaamutya.’ |
| 7 |
| Naye abakozi ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika; mugire tumutte, obusika butuddire.’ |
| 8 |
| Ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu. |
| 9 |
| Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu alikola ki? Alijja n'azikiriza abalimi abo n'ennimiro ye ey'emizabbibu n'agiwa abalala. |
| 10 |
| Ekyawandiikibwa kino temukisomanga nti: “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka lukulwe mu nsonda; |
| 11 |
| ekyo Omukama ye yakikola; kya kyewuunyo mu maaso gaffe’?” |
| 12 |
| Baali banoonya okumukwata, naye ne batya ekibiina; kubanga baategeera ng'olugero aluyisizza ku bo bennyini; ne bamuleka, ne bagenda. |
| 13 |
| Ne bamutumira abamu ku Bafarisaayo n'abamu ku b'ekibiina kya Erode, bamukwate mu bigambo. |
| 14 |
| Ne bajja, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, nga teweeguya muntu; obukulu bw'omuntu si bw'otunuulira, wabula ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda. Kale nno, kisaanye okuwa Kayisari omusolo, nandiki tekisaanye? |
| 15 |
| Tuwe oba tetuwa?” N'ategeera enkwe zaabwe, n'abagamba nti: “Munkemera ki? Mundeetere dinaari ndabe.” |
| 16 |
| Ne bagireeta. N'abagamba nti: “Ekifaananyi kino n'ekiwandiiko ebiriko by'ani?” Ne bamugamba nti: “Bya Kayisari.” |
| 17 |
| Yezu n'abagamba nti: “Ebya Kayisari mubiddize Kayisari; n'ebya Katonda mubiddize Katonda.” Ne bamwewuunya. |
| 18 |
| Abasaddukaayo, abo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja gy'ali, ne bamubuuza nti: |
| 19 |
| “Muyigiriza, Musa yaleka atuwandiikidde nti singa muganda w'omuntu afanga n'aleka omukazi, naye n'ataleka baana, muganda we awasanga omukazi oyo n'asibusiza muganda we ezzadde. |
| 20 |
| Waaliwo ab'oluganda musanvu: omubereberye yawasa omukazi, n'afa nga talese mwana. |
| 21 |
| N'owookubiri n'amuwasa, era naye n'afa nga talese mwana. N'owookusatu bw'atyo. |
| 22 |
| Bonna omusanvu ne bataleka baana. N'oluvannyuma lwa bonna omukazi n'afa. |
| 23 |
| Kale mu mazuukira, aliba muka ani? Anti bonna omusanvu baamuwasaako.” |
| 24 |
| Awo Yezu n'abaanukula nti: “Si kyemuva musobya olw'obutamanya Biwandiiko yadde obuyinza bwa Katonda? |
| 25 |
| Kubanga bwe balimala okuzuukira mu bafu, tebagenda kuwasa yadde okufumbirwa, wabula baliba nga bamalayika mu ggulu. |
| 26 |
| Okumanya ng'abafu balizuukizibwa, temusomangako mu kitabo kya Musa, we boogerera ku kisaka, Katonda nga bwe yamugamba nti: ‘Nze Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, ne Katonda wa Yakobo’? |
| 27 |
| Katonda taba wa bafu, wabula wa balamu. Musobya nnyo.” |
| 28 |
| Awo omu ku bawandiisi eyali awulidde bwe bawakana, bwe yalaba abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti: “Kiragiro ki ekisooka mu byonna?” |
| 29 |
| Yezu n'amuddamu nti: “Ekiragiro ekisooka kye kino: ‘Wulira Yisirayeli, Omukama Katonda waffe yekka ye Mukama. |
| 30 |
| Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.’ |
| 31 |
| Ate ekyokubiri kye kino: ‘Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.’ Teri kiragiro kirala kikira ebyo.” |
| 32 |
| Omuwandiisi n'amugamba nti: “Ky'ekyo, Muyigiriza; oyogedde mazima, nti ali omu, teri mulala okuggyako ye; |
| 33 |
| ate nti okumwagala n'omutima gwonna, n'amagezi gonna, n'amaanyi gonna, era nti n'oli okwagala munne nga bwe yeeyagala yennyini, kye kisinga ebitambiro byonna ebyokye n'ebyonziira.” |
| 34 |
| Yezu bwe yalaba ng'azzeemu na magezi, n'amugamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tobuli wala.” Era tewali n'omu yageza nate kumubuuza kibuuzo kirala. |
| 35 |
| Bwe yali ayigiriza mu Kiggwa, Yezu n'agamba nti: “Abawandiisi basobola batya okugamba nti: Kristu mwana wa Dawudi? |
| 36 |
| Kubanga Dawudi yennyini, ku bwa Mwoyo Mutuukirivu agamba nti: “ ‘Omukama yagamba Mukama wange, nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa abalabe bo lwe ndibassa wansi w'ebigere byo.” ’ |
| 37 |
| Dawudi yennyini amuyita Mukama, ate abeera atya omwana we?” Ekibiina ekinene ne kimuwulira n'essanyu. |
| 38 |
| Era mu njigiriza ye n'abagamba nti: “Mwekengere abawandiisi, abaagala okukumbira mu matanvuuwa, n'okulamusibwa mu mbuga, |
| 39 |
| n'entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga, n'ebifo ebisinga ekitiibwa ku bijjulo; |
| 40 |
| abakaliza ennyumba za bannamwandu, ne beefukuutiriza essaala empanvu. Balifuna ekibonerezo ekisingako obukambwe.” |
| 41 |
| Yezu yali atudde mu maaso g'eggwanika ng'atunuulide ekibiina bwe kisuula ensimbi mu ggwanika; abagagga bangi nga basuulamu nnyingi. |
| 42 |
| Ne wajjawo nnamwandu omwavu, n'asuulamu obusente bubiri obuweza ekyokuna ky'ennusu. |
| 43 |
| Awo n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu asuddemu kingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika, |
| 44 |
| kubanga bonna basuddemu nga baggya ku bibafikkiridde, sso ng'ono mu bwavu bwe ataddemu kyonna ky'abadde nakyo, kyonna ekibadde eky'okumuliisa.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/mark/012.mp3
16
12