|
| 1 |
|
| Awo bwe waali wakyabulayo ennaku bbiri, embaga y'Okuyitako ne y'emigaati egitazimbulukusiddwa okutuuka, bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamukwata bamutte; |
|
| 2 |
|
| kubanga baagamba nti, “Si ku lunaku lwa mbaga, kubanga abantu bayinza okuleetawo akegugungo.” |
|
| 3 |
|
| Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwa Yesu. |
|
| 4 |
|
| Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala ne beebuuza nti, “ Amafuta gafudde ki bwe gatyo? |
|
| 5 |
|
| Kubanga amafuta gano ganditundiddwa eddinaali bisatu (300) n'okusingawo ne ziweebwa abaavu.” Ne bamwemulugunyiza. |
|
| 6 |
|
| Naye Yesu n'agamba nti, “Mumuleke; mumunakuwaliza ki? Ankoledde ekikolwa ekirungi. |
|
| 7 |
|
| Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; na buli lwe mwagala muyinza okubakola obulungi: naye nze temuli nange bulijjo. |
|
| 8 |
|
| Akoze nga bw'ayinzizza: asoose okufuka amafuta ku mubiri gwange nga bukyali okunziika. |
|
| 9 |
|
| Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, kino omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.” |
|
| 10 |
|
| Awo Yuda Isukalyoti, eyali omu ku kkumi n'ababiri (12), n'agenda eri bakabona abakulu alabe bw'anaalyamu Yesu olukwe abamuwe. |
|
| 11 |
|
| Awo bwe baawulira ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa effeeza. N'anoonya ebbanga wanaamuliramu olukwe. |
|
| 12 |
|
| Awo ku lunaku olwasooka olw'embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa kwe battira omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tugende wa tutegeke gy'onooliira Okuyitako?” |
|
| 13 |
|
| N'atuma ab'oku bayigirizwa be babiri, n'abagamba nti, “Mugende mu kibuga, anaasisinkana nammwe omusajja nga yeetisse ensuwa y'amazzi: mumugoberere; |
|
| 14 |
|
| muyingire mu nnyumba mw'anaayingira, mugambe nnannyini nnyumba nti, ‘Omuyigiriza agambye nti, Ekisenge kiri ludda wa mwe nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange?’ |
|
| 15 |
|
| Anaabalaga ye yennyini ekisenge ekinene ekya waggulu ekitegeke era ekirongooseddwa, mututegekere omwo.” |
|
| 16 |
|
| Awo abayigirizwa ne bagenda ne bajja ku kibuga, ne balaba nga bwe yabagambye: ne bategeka Okuyitako. |
|
| 17 |
|
| Awo bwe bwawungeera n'ajja n'ekkumi n'ababiri (12). |
|
| 18 |
|
| Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti, “ Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.” |
|
| 19 |
|
| ne batandika okunakuwala, n'okumubuuza kinnoomu nti, “Ye nze?” |
|
| 20 |
|
| N'abagamba nti, “Omu ku kkumi n'ababiri (12) akoza nange mu kibya ye wuuyo. |
|
| 21 |
|
| Kubanga Omwana w'omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikwako: naye zirimusanga omuntu oyo alyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.” |
|
| 22 |
|
| Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti, “Mutoole; guno gwe mubiri gwange.” |
|
| 23 |
|
| Ate n'addira ekikompe, awo bwe yamala okwebaza, n'akibawa; ne bakinywako bonna. |
|
| 24 |
|
| N'abagamba nti, “Guno gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika olw'abangi. |
|
| 25 |
|
| Mazima mbagamba nti Sirinywa nate ku kibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kiggya mu bwakabaka bwa Katonda.” |
|
| 26 |
|
| Awo bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni. |
|
| 27 |
|
| Awo Yesu n'abagamba nti, “Muneesittala mwenna: kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba, n'endiga zirisaasaana.’ |
|
| 28 |
|
| Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda mu Ggaliraaya.” |
|
| 29 |
|
| Naye Peetero n'amugamba nti, “Newakubadde nga bonna baneesittala, naye si nze.” |
|
| 30 |
|
| Yesu n'amugamba nti, “ Mazima nkugamba nti ggwe leero, ekiro kino, enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.” |
|
| 31 |
|
| Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti, “Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono.” Era bonna ne bagamba bwe batyo. |
|
| 32 |
|
| Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti, “Mutuule wano mmale okusaba.” |
|
| 33 |
|
| N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atandika okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo. |
|
| 34 |
|
| N'abagamba nti, “ emmeeme yange eriko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule.” |
|
| 35 |
|
| N'atambulako katono, n'avuunama n'asaba, oba nga kiyinzika, ekiseera kimuyiteko. |
|
| 36 |
|
| N'agamba nti, “Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nzigyako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.” |
|
| 37 |
|
| Awo n'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti, “Simooni, weebase? Tosobodde kutunula wadde essaawa emu bw'eti? |
|
| 38 |
|
| Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.” |
|
| 39 |
|
| Nate n'addayo, n'asaba, n'ayogera ebigambo bye bimu na biri. |
|
| 40 |
|
| N'akomawo nate, n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu. |
|
| 41 |
|
| N'ajja omulundi ogwokusatu, n'abagamba nti, “ Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi. |
|
| 42 |
|
| Muyimuke, tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.” |
|
| 43 |
|
| Awo amangwago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri (12), n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde. |
|
| 44 |
|
| Yuda eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero nti, “Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.” |
|
| 45 |
|
| Awo bwe yatuuka, amangwago n'ajja gy'ali n'agamba nti, “Labbi;” n'amunywegera nnyo. |
|
| 46 |
|
| Ne bamussaako emikono gyabwe, ne bamukwata. |
|
| 47 |
|
| Naye omu ku abo abaali bayimiridde awo n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu. |
|
| 48 |
|
| Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Munjijiridde nga bwe mujjira omunyazi, n'ebitala n'emiggo okunkwata? |
|
| 49 |
|
| Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu Yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire.” |
|
| 50 |
|
| Awo bonna ne bamwabulira ne badduka. |
|
| 51 |
|
| Awo omulenzi omu n'amugoberera, eyali yeebikkiridde olugoye olw'ekitaani lwokka ku mubiri: ne bamukwata; |
|
| 52 |
|
| naye n'abalekera olugoye olw'ekitaani, n'adduka bwereere. |
|
| 53 |
|
| Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu. Bakabona abakulu bonna n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaana. |
|
| 54 |
|
| Awo Peetero n'agoberera Yesu ng'ali walako, n'atuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu, n'atuula n'abakuumi ng'ayota omuliro. |
|
| 55 |
|
| Awo bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubula. |
|
| 56 |
|
| Kubanga bangi abaaleeta obujulizi obw'obulimba ku ye, era obujulizi bwabwe bwali bukoonagana. |
|
| 57 |
|
| Awo abamu ne bayimuka ne bamuwaayiriza, nga bagamba nti, |
|
| 58 |
|
| “Ffe twamuwulira ng'agamba nti, ‘Ndimenya Yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono.’ ” |
|
| 59 |
|
| Era n'obujulizi obwo tebwakwatagana. |
|
| 60 |
|
| Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, nti, “Ggwe toyanukula n'akatono? Kiki kye bakulumiriza bano?” |
|
| 61 |
|
| Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa?” |
|
| 62 |
|
| Yesu n'agamba nti, “Ye Nze, nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu.” |
|
| 63 |
|
| Awo kabona asinga obukulu n'ayuza engoye ze, n'agamba nti, “Twetaagira ki nate abajulirwa? |
|
| 64 |
|
| Muwulidde obuvvoozi bwe: mulowooza mutya?” Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa. |
|
| 65 |
|
| Awo abamu ne batandika okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti, “Lagula.” Abakuumi nabo ne bamutwala nga bamukuba empi. |
|
| 66 |
|
| Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bazaana bakabona asinga obukulu n'ajja; |
|
| 67 |
|
| awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'amugamba nti, “Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu.” |
|
| 68 |
|
| Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti, “ Simanyi, so sitegeera ky'oyogera.” N'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima. |
|
| 69 |
|
| Awo omuzaana n'amulaba, n'atandika era okubagamba abaali bayimiridde awo nti, “ Omusajja oyo omu ku bo.” |
|
| 70 |
|
| Peetero n'ayongera okwegaana. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti, “Mazima oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya.” |
|
| 71 |
|
| Peetero n'atandika okukolima n'okulayira nti, “Simanyi muntu ono gwe mwogerako.” |
|
| 72 |
|
| Amangwago enkoko n'ekookolima omulundi ogwokubiri. Awo Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu bwe yamugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n'atulika n'akaaba amaziga. |
|
|
|
|