|
| 1 |
|
| Awo Ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, eby'okusiiga omulambo gwa Yesu. |
|
| 2 |
|
| Awo bwe bwakya enkya ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali yaakavaayo ne bajja ku ntaana. |
|
| 3 |
|
| Awo baali beebuuzaganya bokka nti, “ Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?” |
|
| 4 |
|
| Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali ate nga lyali ddene nnyo. |
|
| 5 |
|
| Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olweru, ne bawuniikirira. |
|
| 6 |
|
| N'abagamba nti, “Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa. |
|
| 7 |
|
| Naye mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Peetero nti, Abakulembedde okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.” |
|
| 8 |
|
| Awo ne bafuluma ne bava ku ntaana nga badduka, kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya. |
|
| 9 |
|
| Awo bwe yamala okuzuukira ku makya ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu. |
|
| 10 |
|
| Oyo n'agenda n'abuulira abaayitanga naye, n'abasanga nga bakungubaga era nga bakaaba. |
|
| 11 |
|
| Awo bo, bwe baawulira nga mulamu, ng'alabiddwa ye, ne batakkiriza. |
|
| 12 |
|
| Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo. |
|
| 13 |
|
| Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, naye nabo ne batabakkiriza. |
|
| 14 |
|
| Oluvannyuma n'alabikira ekkumi n'omu (11) nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamulaba ng'amaze okuzuukira. |
|
| 15 |
|
| N'abagamba nti, “ Mugende mu nsi zonna, mubuulire Enjiri eri ebitonde byonna. |
|
| 16 |
|
| Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga. |
|
| 17 |
|
| Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya; |
|
| 18 |
|
| banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, nabo banaawonanga.” |
|
| 19 |
|
| Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. |
|
| 20 |
|
| Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina. |
|
|
|
|