|
| 1 |
|
| N'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro; mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze. |
|
| 2 |
|
| Ne bamulabirira oba anaamuwonyeza ku lunaku lwa ssabbiiti, era bamuloope. |
|
| 3 |
|
| N'agamba omuntu eyalina omukono ogukaze nti Yimirira wakati awo. |
|
| 4 |
|
| Awo n'abagamba nti Kye kirungi ku lunaku lwa ssabbiiti okukola obulungi nantiki okukola obubi? kuwonya bulamu naatiki kutta? Naye ne basirika busirisi. |
|
| 5 |
|
| Bwe yabeetoolooza amaaso n'obusungu, ng'anakuwadde olw'okukakaayala kw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu ati Golola omukono gwo. N'agugolola: omukono gwe ne guwona. |
|
| 6 |
|
| Amangu ago Abafalisaayo ne bavaamu ne bateesa n'Abakerodiyaani ku ye, nga bwe banaamuzikiriza. |
|
| 7 |
|
| Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja, ebibiina bingi ne bimugoberera ebyava e Ggaliraaya n'e Buyudaaya |
|
| 8 |
|
| e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'abaliraanye e Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawulira bye yakola, ne bajja gy'ali. |
|
| 9 |
|
| N'agamba abayigirizwa be eryato ettono limubeerenga kumpi ebibiina bireme okumunyigiriza; |
|
| 10 |
|
| kubanga yawonya bangi, n'okugwa abalwadde ne bamugwako bamukwateko, bonna abaali balina ebibonoobono. |
|
| 11 |
|
| Dayimooni ababi nabo bwe baamulaba ne bagwa mu maaso ge ne bakaaba nga bagamba nti Ggwe Mwana wa Katonda. |
|
| 12 |
|
| N'abakuutira nnyo baleme okumwatiikiriza. |
|
| 13 |
|
| Awo n'alinnya ku lusozi n'abayita gy'ali b'ayagala: ne bagenda gy'ali. |
|
| 14 |
|
| N'ayawulamu ekkumi n'ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira, |
|
| 15 |
|
| n'okuba n'obuyinza okugobanga emizimu: |
|
| 16 |
|
| Simooni n'amutuuma erinnya Peetero; |
|
| 17 |
|
| ne Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo; nabo n'abatuuma amannya Bowanerege, amakulu gaalyo nti Baana ba kubwatuka: |
|
| 18 |
|
| ne Andereya ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo, ne Simooni Omukananaayo, |
|
| 19 |
|
| ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. N'ajja mu nnyumba, |
|
| 20 |
|
| ekibiina ne kikuŋŋaana nate, n'okuyinza ne batayinza na kulya mmere. |
|
| 21 |
|
| Awo ababe bwe baawulira ne bafuluma okumukwata, kubanga baagamba nti Alaluse. |
|
| 22 |
|
| Awo abawandiisi abaaserengeta okuva e Yerusaalemi ne bagamba nti Alina Beeruzebuli, era nti Agoba dayimooni ku bwa mukulu wa badayimooni. |
|
| 23 |
|
| N'abayita gy'ali, n'abagambira mu ngero nti Setaani ayinza atya okugoba Setaani? |
|
| 24 |
|
| Obwakabaka bwe bwawukanamu bwo bwokka, obwakabaka obwo tebuyinza kuyimirira. |
|
| 25 |
|
| N'ennyumba bw'eyawukanamu yo yokka, ennyumba eyo teriyinza kuyimirira. |
|
| 26 |
|
| Era oba Setaani yeegolokokeddeko ye yekka, n'ayawukanamu, tayinza kuyimirira, naye aggwaawo. |
|
| 27 |
|
| Naye tewali muntu ayinza okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi okunyaga ebintu bye, nga tasoose kusiba oyo ow'amaanyi, n'alyoka anyaga ennyumba ye. |
|
| 28 |
|
| Mazima mbagamba nti Abaana b'abantu balisonyiyibwa ebibi byabwe byonna, n'obuvvoozi bwabwe bwe balivvoola bwonna; |
|
| 29 |
|
| naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe: |
|
| 30 |
|
| kubanga baayogera nti Alina dayimooni. |
|
| 31 |
|
| Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru. |
|
| 32 |
|
| N'ekibiina kyali kitudde nga bamwetoolodde; ne bamugamba nti Laba, nnyoko ne baganda bo bali wabweru bakunoonya. |
|
| 33 |
|
| N'abaddamu ng'agamba nti Mmange ye ani ne baganda bange? |
|
| 34 |
|
| n'abeetoolooza amaaso abaali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti Laba, mmange ne baganda bange! |
|
| 35 |
|
| Kubanga buli muntu yenna anaakolanga Katonda by'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange. |
|
|
|
|