|
| 1 |
|
| N'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. |
|
| 2 |
|
| Ne bamutunulira nnyo okulaba oba anaamuwonyeza ku lunaku lwa ssabbiiti, balyoke bamuwawaabire. |
|
| 3 |
|
| Awo Yesu n'agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati awo.” |
|
| 4 |
|
| Awo n'abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola obubi? kuwonya bulamu oba kutta?” Naye ne basirika busirisi. |
|
| 5 |
|
| Bwe yabeetoolooza amaaso n'obusungu, ng'anakuwadde olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, n'agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N'agugolola: omukono gwe ne guwona. |
|
| 6 |
|
| Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n'Abakerodiyaani ku ye, nga bwe banaamuzikiriza. |
|
| 7 |
|
| Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja, ekibiina kinene ekyava e Ggaliraaya ne kimugoberera; era n'abalala ne bava mu Buyudaaya |
|
| 8 |
|
| n'e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'okwetooloola Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawulira bye yakola, ne bajja gy'ali. |
|
| 9 |
|
| N'agamba abayigirizwa be bamusembereze eryato limubeerenga kumpi ekibiina kireme okumunyigiriza; |
|
| 10 |
|
| kubanga yawonya bangi, ne bonna abalina endwadde bali benyigiriza bamukwateko bawonyezebwe. |
|
| 11 |
|
| Era emyoyo emibi buli lwe gyamulabanga ne gigwa mu maaso ge ne gikaaba nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” |
|
| 12 |
|
| Naye n'agikomako gireme okumwatuukiriza. |
|
| 13 |
|
| Awo n'alinnya ku lusozi n'ayita abo be yayagala, ne bajja gy'ali. |
|
| 14 |
|
| N'alondamu kkumi n'ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira |
|
| 15 |
|
| n'okuba n'obuyinza okugobanga emizimu. |
|
| 16 |
|
| Yalonda Simooni n'amutuuma erinnya Peetero; |
|
| 17 |
|
| ne Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo: bano n'abatuuma amannya Bowanerege, amakulu gaalyo nti, “Baana ba kubwatuka.” |
|
| 18 |
|
| ne Andereya ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo, ne Simooni Omukananaayo, |
|
| 19 |
|
| ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe. N'ajja mu nnyumba, |
|
| 20 |
|
| ekibiina ne kikuŋŋaana nate, n'okuyinza ne batayinza na kulya mmere. |
|
| 21 |
|
| Awo ababe bwe baawulira ne bafuluma okumukwata, kubanga abantu baali bagamba nti, “Alaluse.” |
|
| 22 |
|
| Naye abawandiisi abaaserengeta okuva e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli, era agoba dayimooni ku lwo mukulu wa badayimooni oyo.” |
|
| 23 |
|
| N'abayita gy'ali, n'abagambira mu ngero nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani? |
|
| 24 |
|
| Obwakabaka bwe bwawukanamu bwo bwokka, obwakabaka obwo tebuyinza kuyimirira. |
|
| 25 |
|
| N'ennyumba bw'eyawukanamu yo yokka, ennyumba eyo teriyinza kuyimirira. |
|
| 26 |
|
| Era oba Setaani yeegolokokeddeko ye yekka, n'ayawukanamu, tayinza kuyimirira, wabula aba yeezikiriza yekka. |
|
| 27 |
|
| Naye tewali muntu ayinza okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi okunyaga ebintu bye, nga tasoose kusiba oyo ow'amaanyi, n'alyoka anyaga ennyumba ye. |
|
| 28 |
|
| Mazima, mbagamba nti, Abaana b'abantu balisonyiyibwa ebibi byabwe byonna, n'obuvvoozi bwabwe bwe balivvoola bwonna; |
|
| 29 |
|
| naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye aba azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe.” |
|
| 30 |
|
| Yesu yayogera bwati kubanga baayogera nti, “Aliko omwoyo omubi.” |
|
| 31 |
|
| Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru. |
|
| 32 |
|
| N'ekibiina kyali kitudde nga bamwetoolodde; ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo bali wabweru bagala okukulaba.” |
|
| 33 |
|
| N'abaddamu ng'agamba nti, “Ani mmange ne baganda bange be baani?” |
|
| 34 |
|
| Awo ne yeetoolooza amaaso ku baali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti, “ Laba mmange ne baganda bange! |
|
| 35 |
|
| Kubanga buli muntu yenna akola Katonda by'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.” |
|
|
|
|