BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Awo Abafarisaayo wamu n'abawandiisi abamu abaava e Yeruzaalemu ne bajja w'ali; |
| 2 |
| bwe baalaba abamu ku bayigirizwa be nga balya emmere n'engalo ezitali nnongoofu, kwe kugamba, ezitali nnaabe, ne bamunenya. |
| 3 |
| Kubanga Abafarisaayo n'Abayudaaya bonna tebalya wabula nga bamaze kunaaba ngalo okutuukiriza empisa z'abakadde. |
| 4 |
| Era bwe bava mu katale, tebalya wabula nga bamaze kunaaba. Waaliwo n'ebirala bingi bye balagirwa okukwata: ng'okunaaza ebikopo n'ensumbi n'ebibya eby'ekikomo. |
| 5 |
| Awo Abafarisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti: “Abayigirizwa bo lwaki tebayisa mpisa z'abakadde, ne balya emmere n'engalo ezitali nnongoofu?” |
| 6 |
| N'abagamba nti: “Yisaaya yalanga bulungi ku mmwe abakuusa, nga bwe kyawandiikibwa nti: “ ‘Abantu bano bampa ekitiibwa kya ku mumwa bumwa; emitima gyabwe gindi wala. |
| 7 |
| Okusinza kwe bansinzaamu temuli kantu; enjigiriza gye bayigiriza mateeka g'abantu.’ |
| 8 |
| Kale muleka ekiragiro kya Katonda, ne mukwata empisa z'abantu.” |
| 9 |
| Era n'abagamba nti: “Nga mugaana bulungi ekiragiro kya Katonda mukwate empisa yammwe! |
| 10 |
| Kale Musa yabagamba nti: ‘Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ Ate nti: ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, wa kuttibwanga.’ |
| 11 |
| Sso mmwe mugamba nti: ‘Oli bw'agambanga kitaawe oba nnyina nti: Kye wandifunyeeko kati korubani’ - kwe kugamba nti ‘kitone’, |
| 12 |
| olwo nga temukyamuganya kukolera kantu kitaawe oba nnyina. |
| 13 |
| Ne mudibya mutyo ekigambo kya Katonda olw'empisa yammwe gye mugenda muyigiriza; n'ebirala bingi eby'engeri eyo bye mukola.” |
| 14 |
| Awo n'ayita nate ekibiina w'ali n'agamba abantu nti: “Mumpulire mwenna, era mutegeere. |
| 15 |
| Teri kiva bweru ne kiyingira mu muntu kiyinza kumwonoona; wabula ebifuluma mu muntu bye byonoona omuntu.” |
| 16 |
| 17 |
| Bwe yayingira mu nnyumba ng'avudde mu kibiina, abayigirizwa be ne bamubuuza ku lugero olwo. |
| 18 |
| N'abagamba nti: “Nammwe, bwe mutyo, temunnategeera? Temumanyi nga buli kintu ekiyingira munda nga kiva ebweru tekiyinza kumwonoona, |
| 19 |
| kubanga tekiyingira mu mutima gwe, wabula kigenda mu lubuto, ate ne kifulumira mu kiyigo?” Awo n'akakasa nti emmere yonna nnungi. |
| 20 |
| N'agamba nti: “Ebifuluma mu muntu bye byonoona omuntu. |
| 21 |
| Kubanga mu mitima gy'abantu mwe muva ebirowoozo ebibi, obukaba, obubbi, obutemu, |
| 22 |
| obwenzi, omululu gw'ebintu, omutima omubi, obulimba, obugwenyufu, eriiso ebbi, okukonjera, olunkulu n'obusirusiru. |
| 23 |
| Ebibi ebyo byonna bifuluma munda ne byonoona omuntu.” |
| 24 |
| Bwe yava awo, n'alaga mu bitundu by'e Tiiro, n'ayingira mu nnyumba nga tayagala wabeerewo amumanya; naye n'atasobola kwekisa. |
| 25 |
| Amangu ago omukazi ayalina omwana eyaliko omwoyo omugwagwa n'amuwulirako, n'ayingira, n'avunnama ku bigere bye. |
| 26 |
| Yali mukazi Mugereeki, nga muzaaliranwa wa mu Sirofenisiya; n'amusaba agobe mu kawala ke omwoyo omubi. |
| 27 |
| N'amugamba nti: “Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi kuddira mmere y'abaana n'ogikasukira embwa.” |
| 28 |
| Omukazi n'amuddamu nti: “Weewaawo, Mukama, naye era n'embwa eziri wansi w'emmeeza zirya obukunkumuka bw'abaana.” |
| 29 |
| Yezu n'amugamba nti: “Olw'ekigambo ekyo, genda; omwana wo omwoyo omubi gumuvuddemu.” |
| 30 |
| Bwe yaddayo eka, yasanga muwala we agalamidde ku kitanda, n'omwoyo omubi nga gumuvuddemu. |
| 31 |
| Ate n'ava mu bitundu by'e Tiiro n'akutulira mu Sidoni okujja ku nnyanja y'e Galilaaya ng'ayitira mu Dekapoli wakati. |
| 32 |
| Ne bamuleetera omuggavu w'amatu ng'alina n'obuzibu mu kwogera. Ne bamwegayirira amusseeko omukono. |
| 33 |
| Ye n'amuggya mu kibiina, n'amuzza ku bbali, n'amussa engalo mu matu, n'awandula eddusu, n'amukwata ku lulimi, |
| 34 |
| n'atunula ku ggulu, n'assa ekikkowe, n'agamba nti: “Effatta,” kwe kugamba nti: “Zibuka” |
| 35 |
| Amangu ago amatu ne gagguka, enkolo y'olulimi n'esumulukuka, n'ayogera bulungi. |
| 36 |
| N'abakuutira obutabuulirako muntu; naye gye yakomya okubakuutira, bo gye baakomya okukiralaasa. |
| 37 |
| Ne bawuniikirira ebitayogerekeka, ne bagamba nti: “Byonna abikoze bulungi; abaggavu b'amatu abawuliza, ne bakasiru aboogeza.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/mark/007.mp3
16
7