Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Oweekitiibwa ennyo Tewofilo: Bangi bagezezzaako okuwandiika n'obwegendereza ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe. |
| 2 |
| Baawandiika ebyatubuulirwa abo abaabirabirako ddala okuva ku ntandikwa yaabyo, era abaakola omulimu ogw'okubunyisa Ekigambo kya Katonda. |
| 3 |
| Nange bwe neetegerezza byonna okuva ku ntandikwa yaabyo, ndabye nti kirungi okubikuwandiikira nga bwe biddiriŋŋana. |
| 4 |
| Kino nkikoze, olyoke omanyire ddala amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa. |
| 5 |
| Kabaka Herode bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zakariya, ow'omu kitongole kya bakabona ekya Abiya. Yalina mukazi we erinnya lye Elisaabeeti, nga muzzukulu wa Arooni. |
| 6 |
| Bombi baali bantu balungi mu maaso ga Katonda, nga bakwata bulungi ebiragiro bya Mukama byonna n'amateeka ge. |
| 7 |
| Baali tebalina mwana, kubanga Elisaabeeti yali mugumba, ate bombi baali bakaddiye. |
| 8 |
| Lwali lumu, Zakariya yali akola omulimu gwe ogw'obwakabona, mu maaso ga Katonda, ng'ekitongole kye yalimu kye kiri mu luwalo. |
| 9 |
| Yalondebwa na kalulu, ng'empisa ya bakabona bwe yali, n'ayingira mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo, okunyookeza obubaane. |
| 10 |
| Mu kiseera ekyo eky'okunyookeza obubaane, abantu bonna abaali bakuŋŋaanye, baali wabweru nga basinza Katonda. |
| 11 |
| Awo malayika wa Mukama n'ayimirira ku ludda olwa ddyo olw'ekyoterezo ky'obubaane, n'alabikira Zakariya. |
| 12 |
| Zakariya bwe yamulaba ne yeesisiwala, entiisa n'emukwata. |
| 13 |
| Malayika n'amugamba nti: “Zakariya, leka kutya, kubanga Katonda awulidde okwegayirira kwo: mukazi wo Elisaabeeti alikuzaalira omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye Yowanne. |
| 14 |
| Olisanyuka n'ojaguza, era n'abalala bangi balisanyuka olw'okuzaalibwa kwe, |
| 15 |
| kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama. Talinywa mwenge gwa mizabbibu, newaakubadde ekitamiiza ekirala kyonna. Alijjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu nga tannaba kuva mu lubuto lwa nnyina. |
| 16 |
| Alikomyawo Abayisirayeli bangi eri Mukama Katonda waabwe. |
| 17 |
| Aliweebwa omwoyo n'obuyinza nga Eliya bye yalina, n'akulembera Mukama okuzza emitima gya bakitaabwe b'abaana eri abaana baabwe, n'okuzza abajeemu mu kkubo ly'abantu abalungi, alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.” |
| 18 |
| Awo Zakariya n'agamba nti: “Kino nnaakikakasiza ku ki? Nze neekaddiyidde, ne mukyala wange naye akaddiye.” |
| 19 |
| Malayika n'amuddamu nti: “Nze Gabulyeli, ayimirira bulijjo mu maaso ga Katonda nga mmuweereza. Ntumiddwa okwogera naawe, n'okukutegeeza amawulire gano amalungi. |
| 20 |
| Kale nno nga bw'otokkirizza bye nkutegeezezza, ebirituukirira ng'ekiseera kyabyo kituuse, ojja kuziba omumwa, obe nga tokyasobola kwogera, okutuusa ku lunaku bino lwe birituukirira.” |
| 21 |
| Mu kiseera ekyo, abantu baali balindirira Zakariya, era nga beewuunya ekimulwisizza mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo. |
| 22 |
| Bwe yafuluma n'atasobola kwogera nabo, ne bamanya nti wabaddewo ekitali kya bulijjo ky'alabye mu Ssinzizo. Olw'obutasobola kwogera, n'abategeeza mu bubonero, n'asigala ng'azibye omumwa. |
| 23 |
| Awo ennaku ze ez'okuweereza bwe zaggwaako, n'addayo ewuwe. |
| 24 |
| Bwe waayitawo ekiseera, Elisaabeeti mukazi we n'aba olubuto, n'amala emyezi etaano nga teyeeraga mu bantu, ng'agamba nti: |
| 25 |
| “Mukama ye annyambye okuba bwe nti, n'ankwatirwa ekisa mu kiseera kino, n'anzigyako okuswala kwe mbadde nakwo mu bantu.” |
| 26 |
| Elisaabeeti yali yaakamala emyezi mukaaga ng'ali lubuto, Katonda n'atuma malayika Gabulyeli mu kibuga eky'e Galilaaya, erinnya lyakyo Nazaareeti, |
| 27 |
| ew'omuwala embeerera, erinnya lye Mariya, eyali ayogerezebwa omusajja ayitibwa Yosefu, muzzukulu wa Ssekabaka Dawudi. |
| 28 |
| Malayika bwe yatuuka w'ali, n'agamba nti: “Nkulamusa, ggwe aweereddwa omukisa; Mukama ali naawe!” |
| 29 |
| Mariya ne yeeraliikirira nnyo olw'ebigambo ebyo, era ne yeebuuza mu mutima gwe kye bitegeeza. |
| 30 |
| Awo malayika n'amugamba nti: “Mariya, totya, kubanga Katonda akuwadde omukisa: |
| 31 |
| ojja kuba olubuto, ozaale omwana wa bulenzi, omutuume erinnya lye Yesu. |
| 32 |
| Aliba wa buyinza, era aliyitibwa Mwana wa Katonda Atenkanika. Mukama Katonda alimuwa obwakabaka bwa Dawudi jjajjaawe. |
| 33 |
| Alifuga bazzukulu ba Yakobo emirembe gyonna, era obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.” |
| 34 |
| Mariya n'abuuza malayika nti: “Eky'okuba olubuto kinaatuukirira kitya, nga simanyi musajja?” |
| 35 |
| Malayika n'amuddamu nti: “Mwoyo Mutuukirivu anajja ku ggwe, era amaanyi ga Katonda Atenkanika ganaaba naawe, n'olwekyo omwana alizaalibwa aliyitibwa Mutuukirivu, Mwana wa Katonda. |
| 36 |
| Muganda wo Elisaabeeti, newaakubadde yayitibwanga mugumba, era nga mukadde, guno omwezi gwa mukaaga ng'ali lubuto. Era naye ajja kuzaala omwana wa bulenzi, |
| 37 |
| kubanga tewali Katonda ky'ayogera kitayinzika.” |
| 38 |
| Awo Mariya n'agamba nti: “Nzuuno omuzaana wa Mukama; nzikirizza, kibe nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava w'ali, n'agenda. |
| 39 |
| Mu nnaku ezo, Mariya n'asituka, n'alaga mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga ky'omu Buyudaaya, |
| 40 |
| n'ayingira mu nnyumba ya Zakariya, n'alamusa Elisaabeeti. |
| 41 |
| Awo olwatuuka, Elisaabeeti bwe yawulira Mariya ng'amulamusa, omwana n'azannya mu lubuto lwa Elisaabeeti. Era Elisaabeeti n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, |
| 42 |
| n'akangula nnyo ku ddoboozi, n'agamba nti: “Waweebwa omukisa okusinga abakazi abalala bonna, n'omwana gw'olizaala yaweebwa omukisa. |
| 43 |
| Kale mpeereddwa ntya ekitiibwa kino, nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira? |
| 44 |
| Bwe mpulidde eddoboozi lyo ng'onnamusa, omwana n'asamba olw'essanyu, mu lubuto lwange. |
| 45 |
| Oli wa mukisa ggwe eyakkiriza nti ebyo Mukama bye yakutegeeza birituukirira.” |
| 46 |
| Awo Mariya n'agamba nti: “Omutima gwange gugulumiza Mukama. |
| 47 |
| Omwoyo gwange gusanyukira Katonda Omulokozi wange, |
| 48 |
| kubanga akwatiddwa ekisa omuzaana we ataliiko bw'ali. Okuva kati, abantu ab'emirembe gyonna banampitanga wa mukisa, |
| 49 |
| olw'ebikulu Nnannyinibuyinza by'ankoledde. Erinnya lye ttukuvu! |
| 50 |
| Era mu buli mulembe, akwatirwa ekisa abamutya. |
| 51 |
| Alaze obuyinza bwe mu byamagero by'akola. Abeekulumbaza mu birowoozo byabwe, abasaasaanyizza. |
| 52 |
| Awanudde ab'obuyinza ku ntebe zaabwe, n'agulumiza abeetoowaze. |
| 53 |
| Abali mu bwetaavu abawadde ebirungi, abagagga n'abagoba nga tebalina kantu. |
| 54 |
| Ayambye Yisirayeli omuweereza we, nga bwe yasuubiza bajjajjaffe. |
| 55 |
| Ajjukidde okukwatirwa ekisa Aburahamu n'ezzadde lye emirembe gyonna.” |
| 56 |
| Mariya yamala n'Elisaabeeti emyezi ng'esatu, n'adda eka. |
| 57 |
| Awo ennaku za Elisaabeeti ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala omwana wa bulenzi. |
| 58 |
| Baliraanwa be ne baganda be ne bawulira nga Mukama bw'amukwatiddwa ekisa ekingi, ne basanyukira wamu naye. |
| 59 |
| Awo ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana. Baali bagenda kumutuuma erinnya lya kitaawe, Zakariya. |
| 60 |
| Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Nedda, anaatuumibwa Yowanne.” |
| 61 |
| Ne bamugamba nti: “Mu b'olulyo lwo teri n'omu ayitibwa linnya eryo!” |
| 62 |
| Awo ne beeyambisa obubonero, ne babuuza kitaawe w'omwana erinnya ly'ayagala batuume omwana. |
| 63 |
| Zakariya n'asaba ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika nti: “Erinnya ly'omwana ye Yowanne.” Bonna ne beewuunya. |
| 64 |
| Amangwago omumwa gwa Zakariya ne guzibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera ng'atendereza Katonda. |
| 65 |
| Awo abantu bonna ababaliraanye ne batya. Era ebigambo bino byonna ne bibuna mu kitundu kyonna ekya Buyudaaya eky'ensozi, |
| 66 |
| Bonna abaabiwulira, ne bibayingira mu mitima, ne bagamba nti: “Kale omwana ono aliba muntu wa ngeri ki?” Kubanga obuyinza bwa Mukama bwali naye nga bumuyamba. |
| 67 |
| Awo Zakariya kitaawe wa Yowanne, n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, n'alanga, ng'agamba nti: |
| 68 |
| “Mukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe, kubanga akyalidde abantu be era abanunudde. |
| 69 |
| Atuwadde Omulokozi ow'obuyinza, asibuka mu lulyo lwa Dawudi omuweereza we, |
| 70 |
| nga bwe yasuubiriza edda mu balanzi be abatukuvu, |
| 71 |
| okutuwonya abalabe baffe, n'okutuggya mu mikono gya bonna abatukyawa. |
| 72 |
| Yasuubiza okukwatirwa bajjajjaffe ekisa, n'okujjukira endagaano ye entukuvu. |
| 73 |
| Yalayira n'akakasa Aburahamu jjajjaffe, nti tuliggyibwa mu mikono gy'abalabe baffe, |
| 74 |
| tulyoke tumuweereze awatali kutya, |
| 75 |
| nga tuli beesimbu era batukuvu mu maaso ge, obulamu bwaffe bwonna. |
| 76 |
| Naawe omwana, oliyitibwa mulanzi wa Katonda Atenkanika, kubanga olikulembera Mukama, okulongoosa amakubo ge, |
| 77 |
| n'okumanyisa abantu be nti alibalokola, ng'abasonyiwa ebibi byabwe, |
| 78 |
| kubanga Katonda waffe ajjudde ekisa. Oyo alinga enjuba evaayo, alitukyalira ng'ava mu ggulu, |
| 79 |
| okwakira abo abali mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'olumbe, n'okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe.” |
| 80 |
| Omwana n'agenda ng'akula, era nga yeeyongera amaanyi mu mwoyo, n'abanga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yeeraga abantu ba Yisirayeli. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/luke/001.mp3
24
1