|
| 1 |
|
| Bangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe, |
|
| 2 |
|
| nga bwe baabitubuulira, abo abaasooka okuva ku lubereberye okuba abajulirwa era abaweereza b'ekigambo, |
|
| 3 |
|
| awo nange bwe nnaliraanyiza ddala byonna okuva ku lubereberye, ndabye nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro omulungi ennyo, byonna nga bwe byaliraana; |
|
| 4 |
|
| olyoke omanye amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa. |
|
| 5 |
|
| Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka w'e Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zaakaliya, wa mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow'omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi. |
|
| 6 |
|
| N'abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi. |
|
| 7 |
|
| So tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba, ate nga bombi baali bakaddiye nnyo. |
|
| 8 |
|
| Awo olwatuuka, Zaakaliya bwe yali ng'akola omulimu ogw'obwakabona mu maaso ga Katonda ng'oluwalo lwe bwe lwaliraana, |
|
| 9 |
|
| awo akalulu ne kamugwako ng'empisa ez'obwa kabona bwe zaali okuyingira mu Yeekaalu ya Mukama okwoteza obubaane. |
|
| 10 |
|
| Awo ekibiina kyonna eky'abantu kyali nga kisabira bweru mu kiseera eky'okwoterezaamu. |
|
| 11 |
|
| Awo malayika wa Mukama n'amulabikira ng'ayimiridde ku luuyi olwa ddyo olw'ekyoto eky'okwotereezaako. |
|
| 12 |
|
| Awo Zaakaliya bwe yamulaba ne yeeraliikirira, n'atya. |
|
| 13 |
|
| Naye malayika n'amugamba nti, “ Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana.” |
|
| 14 |
|
| “Olisanyuka, era olijaguza, era bangi abalisanyukira okuzaalibwa kwe. |
|
| 15 |
|
| Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama, so talinywa mwenge newakubadde ekitamiiza; era alijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu lubuto lwa nnyina. |
|
| 16 |
|
| Era abaana ba Isiraeri bangi alibakomyawo eri Mukama Katonda waabwe. |
|
| 17 |
|
| Mukama mu Mwoyo n'amaanyi nga Eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu okumulindirira.” |
|
| 18 |
|
| Awo Zaakaliya n'agamba malayika nti, “ Nnaakimanya ntya ekyo? Kubanga nze ndi mukadde ne mukazi wange naye akaddiye.” |
|
| 19 |
|
| Awo malayika n'addamu n'amugamba nti, “ Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi. |
|
| 20 |
|
| Kale, laba, olisirika era nga toyinza kwogera, okutuusa ku lunaku bye nkugambye lwe biribaawo, kubanga tokkirizza bigambo byange, ebirituukirizibwa mu ntuuko zaabyo.” |
|
| 21 |
|
| Awo abantu baali balindirira Zaakaliya, era nga beewuunya bw'aludde mu Yeekaalu. |
|
| 22 |
|
| Awo bwe yafuluma n'atayinza kwogera nabo: ne bategeera nti alabye okwolesebwa mu Yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono kubanga yali azibye omumwa. |
|
| 23 |
|
| Awo olwatuuka, ennaku ez'okuweereza kwe bwe zaggwaayo, n'addayo eka ewuwe. |
|
| 24 |
|
| Awo ennaku ezo bwe zaayitawo mukazi we Erisabesi n'aba olubuto: ne yeekwekera emyezi etaano, ng'agamba nti, |
|
| 25 |
|
| “Bw'atyo Mukama bw'ankoze mu nnaku ze yantunuuliriramu n'anzijako ensonyi mu bantu.” |
|
| 26 |
|
| Awo mu mwezi ogw'omukaaga Katonda n'atuma malayika Gabulyeri mu kibuga eky'e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi, |
|
| 27 |
|
| eri omuwala atamanyi musajja, erinnya lye Malyamu, eyali ayogerezebwa omusajja, erinnya lye Yusufu ow'omu nnyumba ya Dawudi. |
|
| 28 |
|
| Awo Malayika najja gyali, n'amugamba nti, “ Mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama ali naawe.” |
|
| 29 |
|
| Naye Malyamu ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli. |
|
| 30 |
|
| Awo malayika n'amugamba nti, “ Totya, Malyamu; kubanga olabye ekisa eri Katonda. |
|
| 31 |
|
| Era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu. |
|
| 32 |
|
| Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w'Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe, |
|
| 33 |
|
| era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n'emirembe, so obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” |
|
| 34 |
|
| Awo Malyamu n'agamba malayika nti, “ Kiriba kitya ekyo, kubanga simanyi musajja?” |
|
| 35 |
|
| Ne malayika n'addamu n'amugamba nti, “Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, Omwana wa Katonda. |
|
| 36 |
|
| Laba, Erisabesi muganda wo, era naye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi mu bukadde bwe, guno gwe mwezi gwe ogw'omukaaga eyayitibwanga omugumba. |
|
| 37 |
|
| Kubanga tewali kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maanyi.” |
|
| 38 |
|
| Malyamu n'agamba nti, “ Laba, nze ndi muzaana wa Mukama; kibe ku nze nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava gy'ali. |
|
| 39 |
|
| Awo mu nnaku ezo Malyamu n'asituka n'agenda mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga kya Yuda; |
|
| 40 |
|
| n'ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n'alamusa Erisabesi. |
|
| 41 |
|
| Awo olwatuuka Erisabesi bwe yawulira okulamusa kwa Malyamu, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwe; Erisabesi n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu; |
|
| 42 |
|
| n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'agamba nti, “Oweereddwa omukisa ggwe mu bakazi, n'ekibala eky'omu lubuto lwo kiweereddwa omukisa. |
|
| 43 |
|
| Nange nno, ekigambo kino kivudde wa, nnyina Mukama wange okujja gye ndi? |
|
| 44 |
|
| Kubanga laba, eddoboozi ly'okulamusa kwo bwe liyingidde mu matu gange, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwange, olw'essanyu. |
|
| 45 |
|
| Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga ebyo bye wagambibwa Mukama, birituukirizibwa.” |
|
| 46 |
|
| Awo Malyamu n'agamba nti, “Emmeeme yange etendereza Mukama, |
|
| 47 |
|
| N'omwoyo gwange gusanyukidde Katonda Omulokozi wange. |
|
| 48 |
|
| Kubanga alabye obunaku bw'omuzaana we: Kubanga, laba, okusooka leero abantu ab'emirembe gyonna banaampitanga aweereddwa omukisa. |
|
| 49 |
|
| Kubanga Oyo Omuyinza ankoledde ebikulu; N'erinnya lye ttukuvu. |
|
| 50 |
|
| N'ekisa kye kiri eri abo abamutya; Emirembe n'emirembe. |
|
| 51 |
|
| Alaze amaanyi n'omukono gwe; Asaasaanyizza abalina amalala mu kulowooza kw'omu mitima gyabwe. |
|
| 52 |
|
| Agobye abafuzi abeekulumbaza ku ntebe zaabwe, Agulumizizza abeetoowaze |
|
| 53 |
|
| Abalina enjala abakkusizza ebirungi; N'abagagga abagobye nga tebalina kintu. |
|
| 54 |
|
| Abedde Isiraeri omuddu we Ajjukire ekisa kye |
|
| 55 |
|
| Nga bwe yagamba bajjajjaffe Eri Ibulayimu n'ezzadde lye, emirembe gyonna.” |
|
| 56 |
|
| Awo Malyamu n'amalayo emyezi ng'esatu, n'addayo ewuwe. |
|
| 57 |
|
| Awo ebiro bya Erisabesi ne bituuka eby'okuzaala: n'azaala omwana wa bulenzi. |
|
| 58 |
|
| Baliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira nga Mukama amukwatiddwa ekisa kye, ne basanyukira wamu naye. |
|
| 59 |
|
| Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana; era baali baagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya. |
|
| 60 |
|
| Nnyina n'addamu n'abagamba nti, “ Nedda, naye anaatuumibwa Yokaana.” |
|
| 61 |
|
| Ne bamugamba nti, “ Tewali wa mu kika kyo ayitibwa linnya eryo.” |
|
| 62 |
|
| Ne bawenya ku kitaawe, bw'ayagala okumutuuma. |
|
| 63 |
|
| N'ayagala ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika, nti Erinnya lye ye Yokaana. Ne beewuunya bonna. |
|
| 64 |
|
| Amangwago akamwa ke ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera nga yeebaza Katonda. |
|
| 65 |
|
| Bonna abaali baliraanyeewo ne batya. N'ebigambo ebyo byonna ne bibuna mu nsi yonna ey'ensozi ey'e Buyudaaya. |
|
| 66 |
|
| Ne bonna abaabiwulira ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti, “ Kale omwana oyo aliba ki?” Kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu naye. |
|
| 67 |
|
| Kitaawe Zaakaliya n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, n'ayogera, ng'agamba nti, |
|
| 68 |
|
| “Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri; Kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde, |
|
| 69 |
|
| Era atuyimusirizza ejjembe ery'obulokozi Mu nnyumba y'omuddu we Dawudi. |
|
| 70 |
|
| Nga bwe yayogerera mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu, abaaliwo kasookedde ensi ebaawo, |
|
| 71 |
|
| Okulokolebwa mu balabe baffe, ne mu mikono gy'abo bonna abatukyawa; |
|
| 72 |
|
| Okutuukiriza ekisa kye yasuubiza bajjajjaffe, N'okujjukira endagaano ye entukuvu; |
|
| 73 |
|
| Okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu, |
|
| 74 |
|
| Okukituwa ffe; ffe bwe tulokolebwa mu mikono gy'abalabe baffe, Tulyoke tumuweereze nga tetuliiko kye tutya, |
|
| 75 |
|
| Mu butukuvu ne mu butuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna. |
|
| 76 |
|
| Naawe, omwana, oliyitibwa nnabbi w'Oyo Ali waggulu ennyo: Kubanga olikulembera Mukama okulongoosa amakubo ge; |
|
| 77 |
|
| Okumanyisa abantu be obulokozi, Ebibi byabwe bibaggibweko, |
|
| 78 |
|
| Olw'ekisa kya Katonda waffe ekirungi, Emmambya kyevudde etusalira eva mu ggulu, |
|
| 79 |
|
| Okwakira abatuula mu nzikiza, ne mu kisiikirize ky'olumbe, Okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe.” |
|
| 80 |
|
| Omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n'abeeranga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isiraeri. |
|
|
|
|