Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu, n'abatuma kinnababirye mu maaso ge okugenda mu buli kibuga na buli kifo gy'agenda okujja ye. |
| 2 |
| N'abagamba nti Okukungula kwe kungi, naye abakunguzi be batono: kale musabe Mukama w'okukungula okutuma abakunguzi mu kukungula kwe. |
| 3 |
| Mugende: laba, mbatuma mmwe ng'abaana b'endiga wakati mu misege. |
| 4 |
| Temutwala nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto; so temulamusa muntu mu kkubo. |
| 5 |
| Na buli nnyumba gye muyingirangamu, musookenga okugamba nti Emirembe gibe mu nnyumba muno. |
| 6 |
| Oba nga mulimu omwana w'emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye; naye oba nga si bwe kityo, ate ginaddanga gye muli. |
| 7 |
| Mubeerenga mu nnyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu okuyingira mu ndala. |
| 8 |
| Na buli kibuga kye mutuukangamu, ne babasembeza, mulyanga buli bye bassanga mu maaso gammwe; |
| 9 |
| muwonyenga abalwadde abalimu, mubagambenga nti Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde kumpi. |
| 10 |
| Naye buli kibuga kye mutuukangamu ne batabasembeza, mufulumanga mu nguudo zaakyo, mugambanga nti |
| 11 |
| N'enfuufu ey'omu kibuga kyammwe, etusaabaanye mu bigere, tugibakunkumulira mmwe; naye mutegeere kino ng'obwakabaka bwa Katonda busembedde. |
| 12 |
| Mbagamba mmwe nti Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku luli okukira ekibuga ekyo. |
| 13 |
| Zikusanze, Kolaziini! zikusanze, Besusayida kubanga, eby'amaanyi ebyakolerwa ewammwe singa byakolerwa e Ttuulo n'e Sidoni, singa beenenya dda nga batudde mu bibukutu n'evvu. |
| 14 |
| Naye Ttuulo ne Sidoni biriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okukira mmwe. |
| 15 |
| Naawe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? olissibwa okutuuka e Magombe. |
| 16 |
| Abawulira mmwe, ng'awulira nze; era anyooma mmwe ng'anyooma nze; n'oyo anyooma nze ng'anyooma eyantuma. |
| 17 |
| Awo abo ensanvu ne bakomawo n'essanyu nga bagamba nti Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo. |
| 18 |
| N'abagamba nti Nnalaba Setaani ng'avudde mu ggulu okugwa ng'okumyansa. |
| 19 |
| Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono |
| 20 |
| Naye ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu. |
| 21 |
| Awo mu ssaawa eyo n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abakabakaba, n'obibikkulira abaana abato: weewaawo, Kitange; kubanga bwe kyasiimwa bwe kityo mu maaso go. |
| 22 |
| Byonna byampeebwa Kitange; tewali muntu amanyi Omwana bw'ali, wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ayagala okumubikkulira. |
| 23 |
| N'akyukira abayigirizwa be n'abagamba kyama nti Galina omukisa amaaso agalaba bye mulaba: |
| 24 |
| kubanga mbagamba nti Bannabbi bangi ne bakabaka baayagalanga okulaba bye mulaba mmwe, ne batabiraba; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira. |
| 25 |
| Kale, laba, omuyigiriza w'amateeka n'ayimirira ng'amukema ng'agamba nti Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo? |
| 26 |
| N'amugamba nti Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya? |
| 27 |
| N'addamu n'agamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka. |
| 28 |
| N'amugamba nti Ozzeemu bulungi; kola bw'otyo, onoobanga n'obulamu. |
| 29 |
| Naye ye obutayagala kuwangulukuka, n'agamba Yesu nti Muliraanwa wange ye ani? |
| 30 |
| Yesu n'addamu n'agamba nti Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng'aserengeta e Yeriko; n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng'abulako katono okufa. |
| 31 |
| Awo kabona yali ng'aserengetera inu kkubo eryo nga tamanyiridde; kale bwe yamulaba, n'amwebalama n'ayitawo. |
| 32 |
| N'Omuleevi bw'atyo bwe yatuuka mu kifo ekyo, n'amulaba, n'amwebalama n'ayitawo. |
| 33 |
| Naye Omusamaliya bwe yali ng'atambula, n'ajja w'ali: awo bwe yamulaba n'amukwatirwa ekisa, |
| 34 |
| n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'afukamu amafuta n'omwenge; n'amussa ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abagenyi, n'amujjanjaba. |
| 35 |
| Awo bwe bwakya enkya n'atoola eddinaali bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba n'amugamba nti Mujjanjabe; n'ekintu kyonna ky'oliwaayo okusukkawo, bwe ndikomawo ndikusasula. |
| 36 |
| Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w'oyo eyagwa mu batemu? |
| 37 |
| N'agamba nti oli eyamukolera eby'ekisa. Yesu n'amugamba nti Naawe genda okole bw'otyo. |
| 38 |
| Awo bwe baali bagenda, n'ayingira mu kyalo: omukazi erinnya lye Maliza n'amusembeza mu nnyumba ye. |
| 39 |
| Naye yalina muganda we ayitibwa Malyamu, eyatuulanga awali ebigere bya Mukama waffe n'awuliranga ekigambo kye. |
| 40 |
| Naye Maliza yabanga n'emitawaana egy'okuweereza okungi; n'ajja w'ali, n'amugamba nti Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? kale mugambe annyambe. |
| 41 |
| Naye Mukama waffe n'addamu n'amugamba nti Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy'ebigambo bingi; |
| 42 |
| naye ekyetaagibwa kiri kimu: kubanga Malyamu alonzeewo omugabo ogwo omulungi ogutalimuggibwako. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/luke/010.mp3
24
10