Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo olwatuuka bwe yali ng'ali mu kifo ng'asaba, bwe yamala, ku bayigirizwa be omu n'amugamba nti Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be. |
| 2 |
| N'abagamba nti Bwe musabanga, mugambanga nti Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. |
| 3 |
| Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey'olunaku. |
| 4 |
| Era otusonyiwe ebyonoono byaffe; kubanga naffe tumusonyiwa buli gwe tubanja. So totutwala mu kukemebwa. |
| 5 |
| N'abagamba nti Ani ku mmwe alina ow'omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n'amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu; |
| 6 |
| kubanga mukwano gwange azze, ava mu lugendo, nange sirina kya kussa mu maaso ge; |
| 7 |
| n'oli ali munda n'addamu n'agamba nti Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa? |
| 8 |
| Mbagamba nti Newakubadde nga tagolokoka n'amuwa kubanga mukwano gwe, naye olw'okutayirira kwe anaagolokoka n'amuwa byonna bye yeetaaga. |
| 9 |
| Nange mbagamba mmwe nti Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo. |
| 10 |
| Kubanga buli muntu yenna asaba aweebwa; n'anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo. |
| 11 |
| Era ani ku mmwe kitaawe w'omuntu omwana we bw'alimusaba omugaati, alimuwa ejjinja? oba ekyennyanja, n'amuwa omusota mu kifo ky'ekyennyanja? |
| 12 |
| Oba bw'alisaba eggi, n'amuwa enjaba? |
| 13 |
| Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba. |
| 14 |
| Yali ng'agoba dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuvaako, kasiru n'ayogera, ebibiina ne byewuunya. |
| 15 |
| Naye abamu ne bagamba nti Agoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni. |
| 16 |
| N'abalala, ne bamwagaza akabonero akava mu ggulu, nga bamukema. |
| 17 |
| Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa. |
| 18 |
| Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli. |
| 19 |
| Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kyebaliva baba abalamuzi bammwe. |
| 20 |
| Naye bwe mba ngobesa dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde. |
| 21 |
| Omuntu ow'amaanyi ng'alina ebyokulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebintu bye bibeera mirembe: |
| 22 |
| naye amusinga amaanyi bw'amujjira n'amuwangula, amunyagako ebyokulwanyisa bye byonna bye yeesiga, n'agaba ebintu bye. |
| 23 |
| Ataba nange ye mulabe wange; era atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. |
| 24 |
| Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Ka nzireyo mu nnyumba yange mwe nnava. |
| 25 |
| Bw'ajja, agiraba ng'eyereddwa etimbiddwa. |
| 26 |
| Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu, ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye. |
| 27 |
| Awo olwatuuka ng'ayogera ebyo, omukazi ow'omu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako. |
| 28 |
| Naye ye n'agamba nti Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma. |
| 29 |
| Awo ebibiina bwe byali nga bikuŋŋaanira w'ali, n'atanula okugamba nti Emirembe gino mirembe mibi: ginoonya akabonero, so tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona. |
| 30 |
| Kuba Yona nga bwe yali akabonero eri ab'e Nineeve, bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'aliba eri emirembe gino. |
| 31 |
| Kabaka omukazi ow'obukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, alibasinza omusango: kubanga yava ku nkomerero z'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano. |
| 32 |
| Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'emirembe gino, baligisinza omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wano. |
| 33 |
| Tewali akoleeza ttabaaza n'agissa mu bunnya, oba munda w'ekibbo, wabula ku kikondo, abayingira balabe bw'eyaka. |
| 34 |
| Ettabaaza y'omubiri gwo lye liiso lyo; eriiso lyo bwe liraba obulungi, n'omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana; naye bwe liba ebbi, n'omubiri gwo nga gujjudde ekizikiza. |
| 35 |
| Kale weekuumenga omusana ogukulimu gulemenga okubeera ekizikiza. |
| 36 |
| Kale omubiri gwo gwonna bwe gujjula omusana, nga tegulina kitundu kimu kya kizikiza, gwonna gulijjula musana ng'ettabaaza bw'ekumulisiza n'okutangaala kwayo. |
| 37 |
| Awo bwe yali ng'ayogera, Omufalisaayo n'amuyita okulya emmere ewuwe: n'ayingira n'atuula ku mmere. |
| 38 |
| Omufalisaayo bwe yalaba, ne yeewuunya kubanga tasoose kunaaba nga tannalya. |
| 39 |
| Mukama waffe n'amugamba nti Mmwe Abafalisaayo munaaza kungulu w'ekikompe n'ow'ekibya; naye munda yammwe mujjudde obunyazi n'obubi. |
| 40 |
| Mmwe abasiru, oyo eyakola kungulu si ye yakola ne munda? |
| 41 |
| Naye ebiri munda mubiwengayo okuba eby'okusaasira; era, laba, byonna birongoofu gye muli. |
| 42 |
| Naye zibasanze mmwe, Abafalisaayo kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira n'akakubansiri n'enva zonna, naye omusango n'okwagala Katonda mubiyita bbali: ebyo kibagwanidde okubikolanga, na biri obutabirekangayo. |
| 43 |
| Zibasanze mmwe, Abafalisaayo! kubanga mwagala entebe ez'oku manjo mu makuŋŋaaniro n'okulamusibwa mu butale. |
| 44 |
| Zibasanze! kubanga mufaanana amalaalo agatalabika, abantu ge batambulirako nga tebagamanyi. |
| 45 |
| Awo omu ku bayigiriza b'amateeka n'addamu n'amugamba nti Omuyigiriza, bw'ogamba bw'otyo ovuma naffe. |
| 46 |
| N'agamba nti Nammwe, abayigiriza b'amateeka, zibasanze! kubanga mutikka abantu emigugu egiteetikkika, mmwe bennyini gye mutayagala kukomako na lunwe lwammwe. |
| 47 |
| Zibasanze! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, naye bajjajjammwe be baabatta. |
| 48 |
| Bwe mutyo muli bajulirwa era musiima ebikolwa bya bajjajjammwe: kubanga bo baabatta, nammwe muzimba amalaalo gaabwe. |
| 49 |
| N'amagezi ga Katonda kyegaava gagamba nti Ndibatumira bannabbi n'abatume; abamu ku bo balibatta balibayigganya; |
| 50 |
| omusaayi gwa bannabbi bonna, ogwayiika okuva ku kutondebwa kw'ensi, gubuuzibwe eri emirembe gino; |
| 51 |
| okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w'ekyoto ne yeekaalu: mazima mbagamba mmwe nti Gulibuuzibwa eri emirembe gino. |
| 52 |
| Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! Kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera: mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza. |
| 53 |
| Awo bwe yavaayo, abawandiisi n'Abafalisaayo ne batanula okumuteganya ennyo, n'okumukemereza ebigambo bingi; |
| 54 |
| nga bamutega, okutega ekigambo ekinaava mu kamwa ke, balyoke bamuwawaabire. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/luke/011.mp3
24
11