Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo mu kiseera ekyo, ne wabaawo abaabuulira Yesu ku Bagalilaaya Pilaato be yatta, n'atabula omusaayi gwabwe wamu n'ogw'ebitambiro byabwe. |
| 2 |
| Yesu n'abaddamu nti: “Olw'okubanga Abagalilaaya bano baabonyaabonyezebwa batyo, mulowooza nti baali boonoonyi okusinga Abagalilaaya abalala bonna? |
| 3 |
| Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira. |
| 4 |
| Oba bali ekkumi n'omunaana, omunaala be gwagwako e Silowaamu ne gubatta mulowooza nti bo baali boonoonyi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemu? |
| 5 |
| Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira.” |
| 6 |
| Awo Yesu n'agera olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyalina omuti omutiini, ogwali gusimbiddwa mu nnimiro ye ey'emizabbibu. N'ajja okugunoonyaako ebibala, n'atasangako na kimu. |
| 7 |
| N'agamba omulimi w'ennimiro nti: ‘Laba, kati emyaka esatu nga nzija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne sibisangako. Gutemewo, ate gwonoonera ki ettaka?’ |
| 8 |
| Kyokka omulimi w'ennimiro n'amuddamu nti: ‘Mukama wange, guleke ne mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera n'okuguteekako ebigimusa. |
| 9 |
| Singa gulibala ebibala omwaka ogujja, kirungi; bwe gutalibala, oligutemawo.’ ” |
| 10 |
| Ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu yali ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro. |
| 11 |
| Waaliwo omukazi eyaliko omwoyo omubi, ogwali gumumazeemu amaanyi okumala emyaka kkumi na munaana. Yali yeewese, era nga tayinza kwegolola n'akatono. |
| 12 |
| Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti: “Mukazi wattu, oggyiddwako obulwadde bwo.” |
| 13 |
| N'amukwatako, amangwago omukazi n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda. |
| 14 |
| Kyokka omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga, kubanga Yesu awonyezza ku Sabbaato. N'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Ennaku ziri mukaaga eziteekwa okukolerwako emirimu. Kale mujjenga ku ezo muwonyezebwe, naye si ku lunaku lwa Sabbaato.” |
| 15 |
| Mukama waffe n'amuddamu nti: “Bakuusa mmwe! Buli omu ku mmwe tayimbula nte ye, oba ndogoyi ye mu kisibo ku Sabbaato, n'agitwala okunywa? |
| 16 |
| Kale omukazi ono, muzzukulu wa Aburahamu, Sitaani gw'abadde asibye okumala emyaka ekkumi n'omunaana, abadde tasaanidde kuggyibwa mu busibe buno ku lunaku lwa Sabbaato?” |
| 17 |
| Bwe yali ng'ayogera bino, abalabe be ne bakwatibwa ensonyi, ate ekibiina ky'abantu kyonna ne kisanyuka olwa byonna eby'ettendo bye yali akola. |
| 18 |
| Yesu ate n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa na ki, era nnaabugeraageranya na ki? |
| 19 |
| Bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasuula mu nnimiro ye, ne kamera, ne kavaamu omuti, era ebinyonyi ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.” |
| 20 |
| Yesu era n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda nnaabugeraageranya na ki? |
| 21 |
| Bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.” |
| 22 |
| Awo Yesu n'ayitaayita mu bibuga ne mu byalo ng'ayigiriza, ng'agenda e Yerusaalemu. |
| 23 |
| Omu n'amubuuza nti: “Mukama wange, abalokolebwa be batono?” Yesu n'abagamba nti: |
| 24 |
| “Mufube okuyingirira mu mulyango omufunda. Mbagamba nti bangi baligezaako okuyingira, ne batasobola. |
| 25 |
| Nnannyini nnyumba bw'aliba amaze okusituka n'aggalawo oluggi, muliyimirira wabweru, ne mutandika okukonkona ku luggi nga mugamba nti: ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Alibaddamu nti: ‘Sibamanyi gye muva.’ |
| 26 |
| Olwo mulitandika okugamba nti: ‘Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigirizanga mu nguudo zaffe.’ |
| 27 |
| Aliddamu ng'agamba nti: ‘Simanyi gye muva. Muve we ndi, mwenna abakozi b'ebibi.’ |
| 28 |
| Walibaawo okukaaba n'okuluma obujiji, bwe muliraba Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, n'abalanzi bonna, mu Bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru. |
| 29 |
| Era abantu baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono ne ddyo, ne batuula ku mbaga mu Bwakabaka bwa Katonda. |
| 30 |
| Era laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.” |
| 31 |
| Mu kiseera ekyo kyennyini, Abafarisaayo abamu ne bajja, ne bagamba Yesu nti: “Va wano ogende, kubanga Herode ayagala kukutta.” |
| 32 |
| Yesu n'abagamba nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti: ‘Laba, ngoba emyoyo emibi ku bantu, era mponya abalwadde leero ne jjo, ate luli mmaliriza.’ |
| 33 |
| Naye leero ne jjo ne luli, nteekwa okwongera okutambula, kubanga tekiyinzika omulanzi okuttirwa awantu awalala okuggyako mu Yerusaalemu. |
| 34 |
| “Yerusaalemu, Yerusaalemu, ggwe atta abalanzi era akuba amayinja abatumibwa gy'oli! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, ne mutakkiriza? |
| 35 |
| Laba ennyumba yammwe ebalekerwa nga kifulukwa. Era mbagamba nti temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/luke/013.mp3
24
13