Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo olwatuuka, Yesu bwe yayingira ku Sabbaato mu nnyumba y'omu ku bakulembeze b'Abafarisaayo okulya emmere, bo ne bamwekaliriza amaaso. |
| 2 |
| Omuntu omulwadde w'entumbi yali awo mu maaso ga Yesu. |
| 3 |
| Yesu n'agamba abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo nti: “Kikkirizibwa okuwonya ku Sabbaato, oba nedda?” |
| 4 |
| Naye bo ne basirika. Awo Yesu n'amukwatako, n'amuwonya, n'amusiibula. |
| 5 |
| N'agamba nti: “Ani ku mmwe, endogoyi ye oba ente ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangwago ku lunaku lwa Sabbaato?” |
| 6 |
| Ne batayinza kino kukiddamu. |
| 7 |
| Yesu bwe yalaba abayitiddwa ku mbaga nga beeroboza ebifo ebisinga okuba ebyekitiibwa, n'abagerera olugero, n'abagamba nti: |
| 8 |
| “Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo ekisinga okuba ekyekitiibwa, sikulwa nga wabaawo omulala akusinga ekitiibwa ayitiddwa, |
| 9 |
| oli eyabayise mwembi, n'ajja n'akugamba nti: ‘Viira ono mu kifo,’ olwo n'ogenda okutuula mu kifo ekisembayo, ng'oswadde. |
| 10 |
| Naye bw'oyitibwanga, ogendanga n'otuula mu kifo ekisembayo, oli eyakuyise bw'ajja, alyoke akugambe nti: ‘Munnange, sembera eno waggulu,’ olwo olissibwamu ekitiibwa mu maaso ga bonna b'otudde nabo okulya. |
| 11 |
| Buli eyeegulumiza, alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza, aligulumizibwa.” |
| 12 |
| Ate n'agamba n'oyo eyamuyita nti: “Bw'ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo oba baganda bo, oba ab'ekika kyo, oba baliraanwa bo abagagga, si kulwa nga nabo bakuyita, n'osasulwa. |
| 13 |
| Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga baavu, bakateeyamba, balema, bamuzibe. |
| 14 |
| Olwo oliba n'omukisa, kubanga tebalina kya kukusasula. Katonda alikusasula ng'abalungi bazuukidde.” |
| 15 |
| Awo omu ku baali batudde awamu okulya bwe yawulira ebyo, n'agamba nti: “Wa mukisa oyo alirya emmere mu Bwakabaka bwa Katonda!” |
| 16 |
| Yesu n'amugamba nti: “Waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene, n'ayita bangi. |
| 17 |
| Obudde obw'embaga bwe bwatuuka, n'atuma omuddu we okugamba abayitiddwa nti: ‘Mujje, kubanga byonna bimaze okutegekebwa.’ |
| 18 |
| Naye bonna, nga bali ng'abaalagaanye, ne batandika okwewolereza. Eyasooka yagamba nti: ‘Naguze ekibanja, nteekwa okugenda okukirambula. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’ |
| 19 |
| Omulala n'agamba nti: ‘Naguze emigogo gy'ente etaano, era ŋŋenda kugigeza. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’ |
| 20 |
| N'omulala n'agamba nti: ‘Nawasizza omukazi, n'olwekyo siyinza kujja.’ |
| 21 |
| “Awo omuddu n'addayo, bino n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyinimu n'asunguwala, n'agamba omuddu we nti: ‘Fuluma mangu, oyiteeyite mu nguudo ne mu buguudo bw'ekibuga, oleete wano abaavu ne bakateeyamba ne bamuzibe n'abalema.’ |
| 22 |
| Omuddu n'agamba nti: ‘Mukama wange, kye walagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ekifo.’ |
| 23 |
| Mukama w'omuddu oyo n'amugamba nti: ‘Fuluma, oyiteeyite mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule. |
| 24 |
| Mbagamba nti ku basajja abo abaabadde bayitiddwa, tewali anaalya ku mbaga yange.’ ” |
| 25 |
| Abantu bangi nnyo baali bagenda ne Yesu, n'abakyukira n'abagamba nti: |
| 26 |
| “Singa omuntu ajja gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina, ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, wadde n'obulamu bwe bwennyini, tayinza kuba muyigirizwa wange. |
| 27 |
| Buli ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange. |
| 28 |
| “Kale ani ku mmwe aba ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira ebyetaagibwa, alabe oba ng'alina ebimala? |
| 29 |
| Sikulwa ng'amala okuteekawo omusingi, n'atasobola kumaliriza, bonna abalaba ne batandika okumusekerera |
| 30 |
| nga bagamba nti: ‘Omuntu ono yatandika okuzimba, n'atasobola kumaliriza?’ |
| 31 |
| “Oba kabaka ki aba agenda okulwanyisa kabaka omulala mu lutalo, atasooka kutuula n'alowooza oba ng'ayinza, n'abantu omutwalo ogumu, okusisinkana oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri? |
| 32 |
| Bw'aba nga tayinza, atuma ababaka ng'oli akyali wala, n'asaba batabagane. |
| 33 |
| Kale bwe kityo buli omu ku mmwe ateefiiriza byonna by'alina, tayinza kuba muyigirizwa wange. |
| 34 |
| “Omunnyo gwa mugaso, naye singa omunnyo gusaabulukuka, gunazzibwamu gutya obuka bwagwo? |
| 35 |
| Guba tegukyagasa mu ttaka, wadde awateekebwa ebigimusa, bagusuula busuuzi. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/luke/014.mp3
24
14