Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso. |
| 2 |
| Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali. |
| 3 |
| Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?” |
| 4 |
| Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire. |
| 5 |
| N’alyoka abakyukira n’ababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye n’egwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?” |
| 6 |
| Era ne batamuddamu. |
| 7 |
| Awo Yesu bwe yalaba abagenyi abaayitibwa n’abagerera olugero ng’agamba nti, |
| 8 |
| “Bwe bakuyitanga ku mbaga ey’obugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba eky’ekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa, |
| 9 |
| eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo w’otudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo w’otudde.’ Noolyoka ositukawo ng’oswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega. |
| 10 |
| Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo eky’emabega, kale nno eyakuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo eky’omu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa. |
| 11 |
| Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.” |
| 12 |
| Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula. |
| 13 |
| Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe. |
| 14 |
| Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.” |
| 15 |
| Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.” |
| 16 |
| Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, n’ayita abantu bangi. |
| 17 |
| Bwe yamala okutegeka, n’atuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’ |
| 18 |
| “Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’ |
| 19 |
| “Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’ |
| 20 |
| “Omulala n’agamba nti, ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’ |
| 21 |
| “Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe. |
| 22 |
| “Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’ |
| 23 |
| “N’agamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ez’omu byalo ne mu bukubo obutono okubirize b’onoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule. |
| 24 |
| Era mbategeeza nti tewali n’omu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’ ” |
| 25 |
| Awo ebibiina by’abantu bangi nnyo bwe baali bagoberera Yesu, n’akyuka n’abagamba nti, |
| 26 |
| “Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange. |
| 27 |
| Era oyo ateetikka musaalaba gwe n’angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange. |
| 28 |
| “Singa omu ku mmwe ayagala okuzimba omulungooti, tamala kutuula n’abalirira omuwendo omulimu ogwo gwe gunaatwala, n’alaba obanga ensimbi ezeetaagibwa azirina okugumaliriza? |
| 29 |
| Kubanga singa tagumaliriza n’akoma ku musingi gwokka, buli agulaba atandika okumusekerera, |
| 30 |
| nga bw’agamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye n’alemwa okumaliriza!’ |
| 31 |
| “Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula n’abalirira obanga n’abaserikale omutwalo ogumu b’alina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba n’abaserikale emitwalo ebiri? |
| 32 |
| Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe. |
| 33 |
| Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange. |
| 34 |
| “Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo? |
| 35 |
| Guba tegukyalina mugaso n’akamu mu ttaka wadde ne mu bigimusa, noolwekyo gusuulibwa bweru. Alina amatu agawulira awulire.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/luke/014.mp3
24
14