Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo abasolooza b'omusolo bonna n'aboonoonyi ne basemberera Yesu okumuwuliriza. |
| 2 |
| Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ono ayaniriza aboonoonyi era alya nabo.” |
| 3 |
| Awo Yesu n'abagerera olugero luno nti: |
| 4 |
| “Muntu ki ku mmwe aba n'endiga ekikumi, n'abulwako emu ku zo, ataleka ekyenda mu omwenda ku ttale, n'agenda okunoonya eri ebuze, okutuusa lw'agizuula? |
| 5 |
| Era ng'agizudde, agiteeka ku kibegabega kye ng'asanyuka. |
| 6 |
| Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange ebadde ebuze.’ |
| 7 |
| Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu lingi mu ggulu olw'omwonoonyi omu eyeenenya, okusinga olw'abalungi ekyenda mu omwenda abateetaaga kwenenya. |
| 8 |
| “Oba mukazi ki aba n'ebisente kkumi ebya ffeeza, singa abulwako ekimu, atakoleeza ttaala, n'ayera ennyumba, n'anoonya n'obwegendereza okutuusa lw'akizuula? |
| 9 |
| Era ng'akizudde, ayita baliraanwa be, n'agamba nti: ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde ekisente kyange ekya ffeeza ekibadde kibuze.’ |
| 10 |
| Mbagamba nti bwe kityo, wabaawo essanyu mu bamalayika ba Katonda olw'omwonoonyi omu eyeenenya.” |
| 11 |
| Yesu n'agamba nate nti: “Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri. |
| 12 |
| Omuto ku bombi n'agamba kitaawe nti: ‘Kitange, mpa omugabo ogwange ku bintu byo.’ Awo n'abagabanyiza mu bintu bye. |
| 13 |
| Ennaku tewaayitawo nnyingi, omwana omuto ku bombi n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'agenda mu nsi ey'ewala, n'asaasaanyiza eyo ebintu bye, ng'ayisa empisa embi. |
| 14 |
| Awo bwe yabimalaawo byonna, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo, n'atandika okuba mu buzibu. |
| 15 |
| N'agenda ne yeesiba ku omu ku bannansi b'omu kitundu ekyo, ye n'amusindika mu kibanja kye okulunda embizzi. |
| 16 |
| Ne yeegombanga okukkusa olubuto lwe ebikuta, embizzi bye zaalyanga, ne wataba abimuwa. |
| 17 |
| Kyokka bwe yeerowooza, n'agamba nti: ‘Abapakasi ba kitange bameka abalya emmere n'ebalemerawo, naye nze nfiira wano enjala! |
| 18 |
| Nja kusituka ŋŋende eri kitange, mmugambe nti kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go. |
| 19 |
| Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo. Nfuula ng'omu ku bapakasi bo.’ |
| 20 |
| N'asituka, n'agenda eri kitaawe. “Bwe yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'adduka, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera. |
| 21 |
| Omwana n'agamba nti: ‘Kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo!’ |
| 22 |
| Kyokka kitaawe n'agamba abaddu be nti: ‘Mwanguwe, muleete ekyambalo ekisinga obulungi, mukimwambaze, era mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere. |
| 23 |
| Muleete n'ennyana eyassava, mugitte, tulye tusanyuke, |
| 24 |
| kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ Awo ne batandika okusanyuka. |
| 25 |
| “Omwana we omukulu yali mu nnimiro. Bwe yali ajja, era ng'asemberedde ennyumba, n'awulira ekinyumu nga bayimba era nga bazina. |
| 26 |
| N'ayita omu ku baddu, n'abuuza ekiriwo. |
| 27 |
| Omuddu n'amugamba nti: ‘Muganda wo azze, kitaawo n'atta ennyana eyassava, kubanga amwanirizza nga mulamu.’ |
| 28 |
| “Ye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira. Awo kitaawe n'afuluma n'amwegayirira. |
| 29 |
| Naye ye n'addamu kitaawe nti: ‘Laba, emyaka mingi gye mmaze nga nkukolera, era sijeemerangako kiragiro kyo. Naye tompanga wadde akabuzi, nsanyukeko ne mikwano gyange. |
| 30 |
| Naye omwana wo ono, eyalya ebintu byo ng'ali ne bamalaaya, bw'azze, omuttidde ennyana eyassava!’ |
| 31 |
| Kitaawe n'amugamba nti: ‘Mwana wange, ggwe bulijjo oli wamu nange, era ebyange bye bibyo. |
| 32 |
| Naye kibadde kituufu okujaguza n'okusanyuka, kubanga muganda wo ono, yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ ” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/luke/015.mp3
24
15