Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo abasolooza b’omusolo n’abakozi b’ebibi ne bakuŋŋaanira eri Yesu okumuwuliriza. |
| 2 |
| Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana n’abantu abalina ebibi, n’okulya n’alya nabo. |
| 3 |
| Yesu n’alyoka abagerera olugero luno ng’agamba nti, |
| 4 |
| “Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale n’agenda anoonya eri ebuze okutuusa Lw’agiraba? |
| 5 |
| Bw’agiraba, agisitula ku bibegabega bye n’agitwala eka ng’ajaguza. |
| 6 |
| Bw’atuuka eka ayita mikwano gye ne baliraanwa be bajje ng’agamba nti, ‘Munsanyukireko kubanga endiga yange eyabadde ebuze, erabise.’ |
| 7 |
| Mu ngeri y’emu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.” |
| 8 |
| “Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu n’emubulako, atakoleeza ttaala n’anoonya mu buli kasonda konna ak’ennyumba, n’ayera n’ebuziizi yenna okutuusa lw’agiraba? |
| 9 |
| Bw’agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, ennoso yange eyabadde ebuze ngirabye.’ |
| 10 |
| Mbategeeza nti mu ngeri y’emu omukozi w’ebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.” |
| 11 |
| Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri. |
| 12 |
| Omuto n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe n’abagabanyiza ebintu byabwe. |
| 13 |
| “Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto n’asibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, n’agenda mu nsi ey’ewala. Bwe yatuuka eyo n’asaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu. |
| 14 |
| Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, n’enjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, n’asiibanga era n’asulanga enjala. |
| 15 |
| N’agenda abeere ew’omwami omu ow’omu nsi omwo n’amusaba amuwe omulimu, n’amusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga. |
| 16 |
| Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta by’embizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna. |
| 17 |
| “Naye bwe yeddamu n’agamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala! |
| 18 |
| Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go, |
| 19 |
| era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ng’abapakasi bo.’ |
| 20 |
| Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe. “Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera. |
| 21 |
| Omwana n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’ |
| 22 |
| “Naye kitaawe n’alagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze n’engatto! |
| 23 |
| Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze. |
| 24 |
| Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga n’etandika. |
| 25 |
| “Mu kiseera ekyo omwana omukulu yali ali mu nnimiro. Awo bwe yali akomawo eka ng’asemberedde ennyumba, n’awulira ennyimba ez’amazina. |
| 26 |
| N’ayita omu ku baweereza n’amubuuza bwe bibadde. |
| 27 |
| Omuweereza n’amutegeeza nti, ‘Muganda wo akomyewo, era kitammwe amuttidde ennyana eya ssava olwokubanga muganda wo akomyewo nga mulamu bulungi.’ |
| 28 |
| “Muganda we omukulu n’anyiiga, n’okuyingira n’atayingira mu nnyumba. Naye kitaawe n’ajja n’amwegayirira ayingire, |
| 29 |
| naye omwana n’amuddamu nti, ‘Emyaka gino gyonna nkukoledde, era tewali mulundi na gumu Lwe wali ondagidde ne nkujeemera. Naye tompangayo wadde akabuzi akato neesanyuseeko ne mikwano gyange. |
| 30 |
| Naye kale mutabani wo olukomyewo ng’ebintu byo bye wamuwa amaze okubimalira mu bamalaaya, n’omuttira ennyana ensava.’ |
| 31 |
| “Kitaawe n’amuddamu nti, ‘Laba mwana wange, tuli ffenna bulijjo, era byonna bye nnina bibyo. |
| 32 |
| Kaakano kituufu okusanyuka n’okujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’ ” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/luke/015.mp3
24
15