Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we. Oyo ne bamumuloopera nti asaasaanyizza ebintu bye. |
| 2 |
| Awo n'amuyita n'amugamba nti: ‘Kino kye nkuwuliddeko kiri kitya? Nnyonnyola ebifa ku buwanika bwo, kubanga tokyayinza kusigala ng'oli muwanika.’ |
| 3 |
| Omuwanika ne yeebuuza mu mutima gwe nti: ‘Kiki kye nnaakola, kubanga mukama wange anzigyako obuwanika? Sirina maanyi ga kulima, ate nkwatibwa ensonyi okusabiriza. |
| 4 |
| Kati mmanyi kye nnaakola, balyoke bannyanirize mu nnyumba zaabwe nga ngobeddwa ku buwanika.’ |
| 5 |
| “Awo n'ayita buli alina ebbanja lya mukama we. N'agamba eyasooka nti: ‘Mukama wange akubanja ki?’ |
| 6 |
| N'addamu nti: ‘Endebe z'omuzigo ebikumi bibiri.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa. Tuula mangu, owandiike kikumi.’ |
| 7 |
| Olwo n'agamba omulala nti: ‘Ate ggwe obanjibwa ki?’ N'addamu nti ‘Ensawo z'eŋŋaano kikumi.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa, owandiike kinaana.’ |
| 8 |
| “Awo omuwanika ono omukumpanya n'atendebwa mukama we olw'amagezi ge yasala. Abantu ab'ensi bagezigezi okusinga abantu ab'ekitangaala, mu nkolagana yaabwe. |
| 9 |
| Mbagamba nti mwefunire emikwano nga mugaba ku bugagga obw'ensi, bwe buliba nga tebukyagasa, mulyoke mwanirizibwe mu maka ag'olubeerera. |
| 10 |
| “Oyo aba omwesigwa ku kitono, aba mwesigwa ne ku kinene; n'oyo ataba mwesigwa ku kitono, taba mwesigwa ne ku kinene. |
| 11 |
| Kale bwe mutaba beesigwa mu bugagga obw'ensi, ani alibateresa obugagga bwennyini? |
| 12 |
| Era bwe mutaba beesigwa ku bya mulala, ebyammwe ani alibibawa? |
| 13 |
| “Tewali muddu ayinza kuba na bakama be babiri, kubanga alikyawa omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu, n'anyooma omulala. Temuyinza kuba baddu ba Katonda ate ne muba baddu ba bugagga obw'ensi.” |
| 14 |
| Awo Abafarisaayo abaali abaagazi b'ebyobugagga, ne bawulira ebyo byonna, ne basekerera Yesu. |
| 15 |
| Ye n'abagamba nti: “Mmwe muli bantu abeefuula abalungi mu maaso g'abantu, kyokka Katonda amanyi emitima gyammwe. Abantu kye bagulumiza, kiba kya muzizo mu maaso ga Katonda. |
| 16 |
| “Amateeka ga Musa n'ebyawandiikibwa abalanzi bye byaliwo okutuusa Yowanne Omubatiza lwe yajja. Naye okuva olwo, Obwakabaka bwa Katonda bwe butegeezebwa abantu ng'Amawulire Amalungi, era buli muntu afuba okubuyingiramu olw'amaanyi. |
| 17 |
| Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga akanukuta akamu okuggyibwa mu mateeka ga Musa. |
| 18 |
| “Buli agoba mukazi we, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze. Era oyo awasa omukazi agobeddwa bba, aba ayenze. |
| 19 |
| “Waaliwo omuntu omugagga, eyayambalanga engoye eza kakobe, n'engoye ezinekaaneka, era eyabeeranga mu bulamu obw'okwejalabya buli lunaku. |
| 20 |
| Waaliwo n'omwavu, erinnya lye Laazaro, eyali ajjudde amabwa, era eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo. |
| 21 |
| Laazaro ono yeegombanga okulya n'okukkuta obukunkumuka bw'emmere obwagwanga, nga buva ku mmeeza y'omugagga. Era embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ge. |
| 22 |
| “Awo olwatuuka, omwavu oyo n'afa, n'atwalibwa bamalayika awali Aburahamu. Omugagga naye n'afa, n'aziikibwa. |
| 23 |
| Ng'ali mu bulumi bungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Aburahamu, n'alengera ne Laazaro awali Aburahamu. |
| 24 |
| Awo n'akoowoola ng'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nkwatirwa ekisa otume Laazaro, annyike akasammambiro k'olunwe lwe mu mazzi, avubirize olulimi lwange, kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’ |
| 25 |
| “Aburahamu n'agamba nti: ‘Mwana wange, jjukira nti ebirungi ebibyo wabifuna ng'okyali mulamu, ye Laazaro n'afuna ebitali birungi. Kaakati ye wano asanyuka, nga ggwe oli mu bulumi obungi. |
| 26 |
| Ate ebyo byonna ng'obitadde ku bbali, waateekebwawo olukonko lunene wakati waffe nammwe, abo abaagala okuva eno okujja gye muli tebayinza, era tewali ayinza kuva eyo okujja gye tuli.’ |
| 27 |
| “Awo omugagga n'agamba nti: ‘Kale nno ssebo, nkwegayiridde, tuma Laazaro mu nnyumba ya kitange, |
| 28 |
| kubanga nninayo baganda bange bataano, agende abalabule, sikulwa nga nabo bajja mu kifo kino eky'obulumi obungi.’ |
| 29 |
| “Aburahamu n'agamba nti: ‘Balina amateeka ga Musa n'abalanzi, bawulirenga abo.’ |
| 30 |
| Omugagga n'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nedda, naye singa wabaawo azuukira n'agenda gye bali, baneenenya.’ |
| 31 |
| Aburahamu n'agamba nti: ‘Oba nga tebawulira Musa na balanzi, tebajja kukkiriza newaakubadde wabaawo azuukira.’ ” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/luke/016.mp3
24
16