|
| 1 |
|
| Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “ Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we; omuwanika oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaasaanya ebintu bye. |
|
| 2 |
|
| N'amuyita n'amugamba nti Kiki kino kye mpulira ku ggwe? Bala omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga tokyayinza nate kubeera muwanika. |
|
| 3 |
|
| Oyo omuwanika n'ayogera munda mu ye nti Nnaakola ntya, kubanga mukama wange anzigyako obuwanika bwange? Sirina galima; ate nkwatibwa ensonyi okusabiriza. |
|
| 4 |
|
| Mmanyi kye nnaakola, bwe nnaagobebwa mu buwanika, bansembeze mu nnyumba zaabwe. |
|
| 5 |
|
| N'ayita buli alina ebbanja lya mukama we, nnaagamba ow'olubereberye nti, ‘Mukama wange akubanja ki?’ |
|
| 6 |
|
| N'agamba nti, ‘Ebigera by'amafuta kikumi (100).’ Nnaamugamba nti, ‘ Twala ebbaluwa yo, otuule mangu owandiike ataano (50).’ |
|
| 7 |
|
| Ate nnaagamba omulala nti, ‘Naawe obanjibwa ki?’ N'agamba nti, ‘Ensawo z'eŋŋaano kikumi (100).’ Nnaamugamba nti, ‘Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana (80).’ |
|
| 8 |
|
| Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omukumpanya kubanga akoze bya magezi: kubanga abaana ab'ebiro bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana. |
|
| 9 |
|
| Nange mbagamba nti Mwekwanirenga emikwano mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliggwaawo, babasembeze mu weema ziri ezitaggwaawo. |
|
| 10 |
|
| Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi. |
|
| 11 |
|
| Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima? |
|
| 12 |
|
| Era bwe mutaabenga beesigwa ku ekyo ekya beene, ekyammwe ani alikibawa? |
|
| 13 |
|
| Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n'anyooma omulala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona.” |
|
| 14 |
|
| Awo Abafalisaayo, abaali abaagazi b'effeeza, ne bawulira ebyo byonna; ne bamusekerera. |
|
| 15 |
|
| N'abagamba nti, “ Mmwe muumwo abeefuula abatuukirivu mu maaso g'abantu; naye Katonda amanyi emitima gyammwe; kubanga ekigulumizibwa mu bantu kya muzizo mu maaso ga Katonda. |
|
| 16 |
|
| Amateeka ne bannabbi byaliwo okutuuka ku Yokaana: okuva olwo Enjiri y'obwakabaka bwa Katonda ebuulirwa, era buli muntu abuyingiramu lwa maanyi. |
|
| 17 |
|
| Naye kyangu eggulu n'ensi okuggwaawo, okusinga ennukuta emu ey'amateeka okuggwaawo. |
|
| 18 |
|
| Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze.” |
|
| 19 |
|
| “Awo waaliwo omuntu omugagga eyayambalanga olugoye olw'effulungu ne bafuta ennungi, eyabeeranga bulijjo mu kwesiima ng'asanyuka: |
|
| 20 |
|
| era waaliwo n'omwavu erinnya lye Laazaalo, eyali awummusewummuse amabwa eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo, |
|
| 21 |
|
| nga yeegomba okukkuta ebyagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; era embwa nazo zajjanga ne zikombereranga amabwa ge. |
|
| 22 |
|
| Awo olwatuuka omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika n'assibwa mu kifuba kya Ibulayimu. N'omugagga naye n'afa, n'aziikibwa. |
|
| 23 |
|
| Ng'ali mu kulumizibwa kungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Ibulayimu ng'ali wala, ne Laazaalo ng'ali mu kifuba kye. |
|
| 24 |
|
| N'ayogerera waggulu n'agamba nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, annyike ensonda y'olunwe lwe mu mazzi, awozeewoze olulimi lwange; kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’ |
|
| 25 |
|
| Naye Ibulayimu n'amugamba nti, ‘ Mwana wange, jjukira nga ggwe waweebwanga ebirungi byo mu bulamu bwo, era ne Laazaalo bw'atyo yaweebwanga ebibi; naye kaakano ye asanyusibwa, ggwe olumwa. |
|
| 26 |
|
| Era ku ebyo byonna, wakati waffe nammwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekebwawo, abaagala okuva eno okujja gye muli balemenga okuyinza, era balemenga okuva eyo okuyitawo okujja gyetuli.’ |
|
| 27 |
|
| N'agamba nti, ‘ Kale, nkwegayiridde, kitange, otume Lazaalo mu nnyumba ya kitange; |
|
| 28 |
|
| kubanga nnina baganda bange bataano; abalabule baleme okujja nabo mu kifo kino ekirimu okulumwa.’ |
|
| 29 |
|
| Naye Ibulayimu n'agamba nti, ‘ Balina Musa ne bannabbi; bawulirenga abo.’ |
|
| 30 |
|
| N'agamba nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu; naye omu ku bafu bw'aligenda gyebali balyenenya.’ |
|
| 31 |
|
| N'amugamba nti, ‘ Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.’” |
|
|
|
|