Luganda Bible
|
| 1 |
| N'agamba abayigirizwa be nti Tekiyinzika ebisittaza obutajja; naye zimusanze oyo abireeta! |
| 2 |
| Waakiri oyo okusibwa olubengo mu bulago bwe, okusuulibwa mu nnyanja, okusinga okusittaza omu ku abo abato. |
| 3 |
| Mwekuumenga: muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga. |
| 4 |
| Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga. |
| 5 |
| Abatume ne bagamba Mukama waffe nti Otwongereko okukkiriza. |
| 6 |
| Mukama waffe n'agamba nti Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde. |
| 7 |
| Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'ayingira ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu ago otuule olye; |
| 8 |
| naye atamugamba nti Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n'okunywa; naawe olyoke olye era onywe? |
| 9 |
| Amwebaza omuddu oyo olw'okukola by'alagiddwa? |
| 10 |
| Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze. |
| 11 |
| Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya. |
| 12 |
| Awo bwe yayingira mu mbuga emu ne bamusisinkana abantu kkumi abagenge, abaayimirira ewala; |
| 13 |
| ne boogerera waggulu ne bagamba nti Yesu, Mukama waffe, otusaasire. |
| 14 |
| Bwe yabalaba n'abagamba nti Mugende mwerage eri bakabona. Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa. |
| 15 |
| Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene; |
| 16 |
| n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya. |
| 17 |
| Yesu n'addamu nagamba nti Ekkumi bonna tebalongoosebbwa? naye bali omwenda bali ludda wa? |
| 18 |
| Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono? |
| 19 |
| N'amugamba nti Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza. |
| 20 |
| Bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bujja ddi? n'abaddamu n'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese: |
| 21 |
| so tebaligamba nti Laba, buli wano! Oba nti Buli wali! Kubanga, laba, obwakabaka bwa Katonda buli munda yammwe! |
| 22 |
| N'agamba abayigirizwa be nti Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba. |
| 23 |
| Kale balibagamba nti Laba, wali! Laba, wano! temugendanga, so temugobereranga; |
| 24 |
| kubanga okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, nga bwe kumasamasiza ne ku luuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe. |
| 25 |
| Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ebingi n'okugaanibwa ab'emirembe gino. |
| 26 |
| Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z’Omwana, w'omuntu. |
| 27 |
| Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna. |
| 28 |
| Era nga bwe byali mu nnaku za Lutti; baali nga balya, nga banywa, nga bagula nga batunda, nga basiga, nga bazimba; |
| 29 |
| naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna: |
| 30 |
| bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikkulibwa. |
| 31 |
| Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga nnyuma. |
| 32 |
| Mujjukire mukazi wa Lutti. |
| 33 |
| Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya. |
| 34 |
| Mbagamba nti Mu kiro ekyo babiri baliba ku kitanda kimu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. |
| 35 |
| Abakazi babiri baliba nga baseera wamu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. |
| 36 |
| Ababiri baliba mu lusuku; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. |
| 37 |
| Ne baddamu ne bamugamba nti Wa, Mukama waffe? N'abagamba nti Awaba omulambo eyo n'ensega we zirikuŋŋaanira. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/luke/017.mp3
24
17