Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta. |
| 2 |
| Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato. |
| 3 |
| Mwekuume. “Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. |
| 4 |
| Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.” |
| 5 |
| Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.” |
| 6 |
| Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera. |
| 7 |
| “Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’ |
| 8 |
| Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’ |
| 9 |
| Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola? |
| 10 |
| Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ” |
| 11 |
| Awo Yesu bwe yali yeeyongerayo mu lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, n’akwata ekkubo eriyita wakati wa Ggaliraaya ne Samaliya. |
| 12 |
| Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako |
| 13 |
| ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!” |
| 14 |
| Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu. |
| 15 |
| Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. |
| 16 |
| N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya. |
| 17 |
| Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? |
| 18 |
| Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?” |
| 19 |
| Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” |
| 20 |
| Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja, |
| 21 |
| era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.” |
| 22 |
| Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba. |
| 23 |
| Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga. |
| 24 |
| Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe, |
| 25 |
| Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno. |
| 26 |
| “Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. |
| 27 |
| Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu. |
| 28 |
| “Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, |
| 29 |
| okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu. |
| 30 |
| “Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako. |
| 31 |
| Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. |
| 32 |
| Mujjukire mukazi wa Lutti! |
| 33 |
| Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya. |
| 34 |
| Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa. |
| 35 |
| Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. |
| 36 |
| Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.” |
| 37 |
| Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega we zirikuŋŋaanira!” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/luke/017.mp3
24
17