|
| 1 |
|
| Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Ebyesittaza tebiyinza butajja; naye zimusanze oyo abireeta! |
|
| 2 |
|
| Waakiri oyo okusibibwa olubengo mu bulago bwe, n'asuulibwa mu nnyanja, okusinga okwesittaza omu ku abo abato. |
|
| 3 |
|
| Mwekuumenga mwekka na mwekka, muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga. |
|
| 4 |
|
| Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi egyo omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.” |
|
| 5 |
|
| Abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “ Otwongereko okukkiriza.” |
|
| 6 |
|
| Mukama waffe n'agamba nti, “ Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde.” |
|
| 7 |
|
| “Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'akomawo ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu otuule olye; |
|
| 8 |
|
| naye atamugamba nti Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n'okunywa; naawe olyoke olye era onywe? |
|
| 9 |
|
| Amwebaza omuddu oyo olw'okukola by'alagiddwa? |
|
| 10 |
|
| Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti, ‘ Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.’” |
|
| 11 |
|
| Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi, yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya. |
|
| 12 |
|
| Awo bwe yayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi (10) ne bamusisinkana, ne baayimirira walako; |
|
| 13 |
|
| ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “ Yesu, Mukama waffe, otusaasire.” |
|
| 14 |
|
| Bwe yabalaba n'abagamba nti, “Mugende mwerage eri bakabona.” Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa. |
|
| 15 |
|
| Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene; |
|
| 16 |
|
| n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya. |
|
| 17 |
|
| Yesu n'addamu n'agamba nti, “Ekkumi (10) bonna tebalongoosebbwa? Naye bali omwenda bali ludda wa? |
|
| 18 |
|
| Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono?” |
|
| 19 |
|
| N'amugamba nti, “ Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza.” |
|
| 20 |
|
| Awo Yesu bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” N'abaddamu n'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese: |
|
| 21 |
|
| so tebaligamba nti Laba, buli wano! oba nti buli wali! kubanga, laba, obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.” |
|
| 22 |
|
| N'agamba abayigirizwa be nti, “Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba. |
|
| 23 |
|
| Kale balibagamba nti Laba, wali! Laba, wano! temugendanga, so temubagobereranga; |
|
| 24 |
|
| kubanga ng'okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, ne kutangaaza n'oluuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe. |
|
| 25 |
|
| Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa ab'emirembe gino. |
|
| 26 |
|
| Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z'Omwana w'omuntu. |
|
| 27 |
|
| Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna. |
|
| 28 |
|
| Era nga bwe byali mu nnaku za Lutti; baali nga balya, nga banywa, nga bagula, nga batunda, nga basiga, nga bazimba, |
|
| 29 |
|
| naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna: |
|
| 30 |
|
| bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikkulibwa. |
|
| 31 |
|
| Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga mabega. |
|
| 32 |
|
| Mujjukire mukazi wa Lutti. |
|
| 33 |
|
| Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya. |
|
| 34 |
|
| Mbagamba nti Mu kiro ekyo babiri baliba ku kitanda kimu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. |
|
| 35 |
|
| Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa. |
|
| 36 |
|
| [Ababiri baliba mu lusuku; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.”] |
|
| 37 |
|
| Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Ludda wa, Mukama waffe?” N'abaddamu nti, “ Awaba omulambo n'ensega we zikuŋŋaanira.” |
|
|
|
|