Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti, |
| 2 |
| “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna. |
| 3 |
| Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’ |
| 4 |
| “Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa, |
| 5 |
| naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ” |
| 6 |
| Awo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba. |
| 7 |
| Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza? |
| 8 |
| Mbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?” |
| 9 |
| Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti, |
| 10 |
| “Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo n’omulala nga muwooza. |
| 11 |
| Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono. |
| 12 |
| Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’ |
| 13 |
| “Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’ |
| 14 |
| “Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.” |
| 15 |
| Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta. |
| 16 |
| Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda. |
| 17 |
| Ddala ddala mbagamba nti atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.” |
| 18 |
| Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” |
| 19 |
| Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. |
| 20 |
| Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ” |
| 21 |
| N’amuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.” |
| 22 |
| Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.” |
| 23 |
| Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo. |
| 24 |
| Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! |
| 25 |
| Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” |
| 26 |
| Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?” |
| 27 |
| Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.” |
| 28 |
| Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!” |
| 29 |
| Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda, |
| 30 |
| atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.” |
| 31 |
| Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. |
| 32 |
| Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, |
| 33 |
| balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.” |
| 34 |
| Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera. |
| 35 |
| Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza. |
| 36 |
| Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, “Kiki ekyo?” |
| 37 |
| Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.” |
| 38 |
| Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” |
| 39 |
| Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!” |
| 40 |
| Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti, |
| 41 |
| “Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!” |
| 42 |
| Yesu n’amugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.” |
| 43 |
| Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/luke/018.mp3
24
18