Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu. |
| 2 |
| Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo. |
| 3 |
| N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi. |
| 4 |
| Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo. |
| 5 |
| Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.” |
| 6 |
| Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu. |
| 7 |
| Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.” |
| 8 |
| Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.” |
| 9 |
| Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu. |
| 10 |
| Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.” |
| 11 |
| Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo. |
| 12 |
| N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo. |
| 13 |
| Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’ |
| 14 |
| “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’ |
| 15 |
| “Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu. |
| 16 |
| “Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’ |
| 17 |
| “Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’ |
| 18 |
| “Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’ |
| 19 |
| “Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’ |
| 20 |
| “Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. |
| 21 |
| Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’ |
| 22 |
| “Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, |
| 23 |
| kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’ |
| 24 |
| “N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’ |
| 25 |
| “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’ |
| 26 |
| “N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako. |
| 27 |
| Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ” |
| 28 |
| Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’atambula ng’akulembedde abayigirizwa be okwolekera Yerusaalemi. |
| 29 |
| Bwe yali asemberera ebibuga Besufaage ne Besaniya ng’ali ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n’atuma abayigirizwa be babiri n’abagamba nti, |
| 30 |
| “Mugende mu kabuga akatuli mu maaso bwe munaaba mwakakayingira, munaalaba omwana gw’endogoyi, oguteebagalwangako, nga gusibiddwa awo. Mugusumulule, muguleete wano. |
| 31 |
| Singa wabaawo ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumuddamu nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’ ” |
| 32 |
| Awo abaatumibwa ne bagenda ne basanga omwana gw’endogoyi nga Yesu bwe yabagamba. |
| 33 |
| Era bwe baali nga bagusumulula bannannyini gwo ne bababuuza nti, “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?” |
| 34 |
| Ne baddamu nti, “Mukama waffe agwetaaga.” |
| 35 |
| Omwana gw’endogoyi ne baguleeta eri Yesu, ne bagwaliirako eminagiro gyabwe, Yesu n’agwebagala. |
| 36 |
| Bwe yali ng’agenda, abantu ne baaliira ebyambalo byabwe mu luguudo. |
| 37 |
| Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero bye yali akoze nga boogera nti, |
| 38 |
| “Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!” “Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!” |
| 39 |
| Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, lagira abayigirizwa bo basirike!” |
| 40 |
| Yesu n’abaddamu nti, “Mbategeeza nti ssinga bo basirika, amayinja gano ganaaleekaana!” |
| 41 |
| Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira. |
| 42 |
| N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba. |
| 43 |
| Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda, |
| 44 |
| ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.” |
| 45 |
| Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abaali batundiramu. |
| 46 |
| N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’ ” |
| 47 |
| Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira. |
| 48 |
| Naye ne balemwa kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwuliriza. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/luke/019.mp3
24
19