Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, yali ng'ayigiriza abantu mu yeekaalu, ng'abuulira enjiri, bakabona abakulu n'abawandiisi wamu n'abakadde ne bamujjira; |
| 2 |
| ne boogera nga bamugamba nti Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo? |
| 3 |
| N'addamu n'abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu; mumbulire: |
| 4 |
| okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu nantiki mu bantu? |
| 5 |
| Ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Bwe tunaagamba Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kiki ekyabalobera okumukkiriza? |
| 6 |
| Naye bwe tunaagamba ati Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi. |
| 7 |
| Ne baddamu nti tebamanyi gye kwava. |
| 8 |
| Yesu n'abagamba nti Kale nange siibabuulire mmwe buyinza obunkoza bino gye bwava. |
| 9 |
| N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo. |
| 10 |
| Awo mu biro by'omwaka abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamusindika nga talina kintu. |
| 11 |
| N'ayongera okutuma omuddu omulala; n'oyo ne bamukuba, ne bamuswaza ne bamusindika nga talina kintu. |
| 12 |
| N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo naye ne bamufumita ne bamugoba. |
| 13 |
| Oyo mukama w'olusuku lw'emizabbibu n'agamba nti Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa. |
| 14 |
| Naye abalimi bwe baamulaba, ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ye musika: tumutte, obusika bube bwaffe. |
| 15 |
| Ne bamugoba mu lusuku lw'emizabbibu, ne bamutta. Kale alibakola atya mukama w'olusuku lw'emizabbibu? |
| 16 |
| Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala. Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti Bireme okubaawo. |
| 17 |
| Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda? |
| 18 |
| Buli agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka; naye oyo gwe lirigwako, lirimufuumuula ng'enfuufu. |
| 19 |
| Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumussaako emikono mu kiseera ekyo; ne batya abantu; kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero olwo. |
| 20 |
| Ne bamulabirira, ne batuma abakessi nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, balyoke bamuweeyo eri okufuga okw'owessaza n'eri obuyinza bwe. |
| 21 |
| Ne bamubuuza, nga bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oyogera era ng'oyigiriza eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyigiriza mazima ekkubo lya Katonda: |
| 22 |
| kirungi ffe okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo? |
| 23 |
| Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti Mundage eddinaali. |
| 24 |
| Ekifaananyi ekiriko n'obuwandiikeko by'ani? Bo ne bagamba nti Bya Kayisaali. |
| 25 |
| N'abagamba nti Kale ebya Kayisaali mumusasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumusasulenga Katonda. |
| 26 |
| Ne batayinza kuggya nsonga mu kigambo ekyo mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika. |
| 27 |
| Abasaddukaayo abamu ne bajja gy'ali, abagamba nti tewali kuzuukira; ne bamubuuza, |
| 28 |
| nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde. |
| 29 |
| Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa nga talina mwana; |
| 30 |
| n'ow'okubiri; |
| 31 |
| n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bali omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana. |
| 32 |
| Oluvannyuma n'omukazi n'afa. |
| 33 |
| Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo? kubanga bonna omusanvu baamuwasa. |
| 34 |
| Yesu n'abagamba nti Abaana b'ensi eno bawasa, bafumbizibwa: |
| 35 |
| naye bali abasaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw'omu bafu, tebawasa, so tebafumbizibwa: |
| 36 |
| kubanga n'okufa tebayinza kufa nate: kubanga bali nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira. |
| 37 |
| Okumanya ng'abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku Kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. |
| 38 |
| Naye ye si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubwe. |
| 39 |
| Abawandiisi abamu ne baddamu, nga bagamba nti Omuyigiriza, oyogedde bulungi. |
| 40 |
| Kubanga tebaayaŋŋanga kumubuuza kigambo kyonna nate. |
| 41 |
| N'abagamba nti Boogera batya nga Kristo ye mwana wa Dawudi? |
| 42 |
| Kubanga Dawudi yennyini ayogera mu kitabo kya Zabbuli nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, |
| 43 |
| Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebbe y'ebigere byo. |
| 44 |
| Dawudi amuyita Mukama we, kale mwana we atya? |
| 45 |
| Awo abantu bonna bwe baali nga bamuwulira, n'agamba abayigirizwa be nti |
| 46 |
| Mwekuumenga abawandiisi; abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga; |
| 47 |
| abanyaga ennyumba za bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/luke/020.mp3
24
20