Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo, ku lunaku olumu, Yesu bwe yali mu Ssinzizo ng'ayigiriza abantu, era ng'abategeeza Amawulire Amalungi, bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, wamu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bajja, |
| 2 |
| ne bamugamba nti: “Tubuulire, olina buyinza bwa ngeri ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza obwo?” |
| 3 |
| Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo. Mumbuulire, |
| 4 |
| ani yatuma Yowanne okubatiza, Katonda oba bantu?” |
| 5 |
| Awo bo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Singa tugamba nti Katonda ye yamutuma, ajja kutubuuza nti lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza? |
| 6 |
| Ate singa tugamba nti abantu be baamutuma, abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bakkiririza ddala nti Yowanne mulanzi.” |
| 7 |
| Awo ne baddamu nti: “Tetumanyi yamutuma.” |
| 8 |
| Ne Yesu n'abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira buyinza bwe nnina kukola bintu bino.” |
| 9 |
| Awo Yesu n'agerera abantu olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala, n'alwayo. |
| 10 |
| Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma omuddu eri abapangisa, bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Kyokka abapangisa ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu. |
| 11 |
| N'ayongera okutuma omuddu omulala. N'oyo ne bamukuba ne bamuswazaswaza, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu. |
| 12 |
| N'ayongera okutuma omuddu owookusatu. N'ono ne bamussaako ebiwundu, ne bamusuula ebweru. |
| 13 |
| Awo nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba nti: ‘Kiki kye nnaakola? Nja kutuma omwana wange omwagalwa, mpozzi ye banaamussaamu ekitiibwa.’ |
| 14 |
| Kyokka abapangisa bwe baamulaba, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika. Tumutte, obusika bube bwaffe.’ |
| 15 |
| Awo ne bamufulumya ebweru w'ennimiro y'emizabbibu, ne bamutta. Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu alibakola atya? |
| 16 |
| Alijja n'azikiriza abapangisa abo, era ennimiro y'emizabbibu n'agissaamu abalala.” Bwe baawulira ebyo ne bagamba nti: “Ekyo kireme kubaawo!” |
| 17 |
| Kyokka Yesu n'abatunuulira, n'agamba nti: “Kale kino ekyawandiikibwa kitegeeza ki? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’ |
| 18 |
| Buli agwa ku jjinja eryo, alimenyekamenyeka, era oyo gwe ligwako, lirimubetenta.” |
| 19 |
| Awo abannyonnyozi b'amateeka ne bakabona abakulu ne bagezaako okukwata Yesu mu kaseera ako, kubanga baamanya nti olugero olwo yalugera nga lukwata ku bo, kyokka ne batya abantu. |
| 20 |
| Bwe baali bakyalindirira akaseera akalala, ne batuma abakessi beefuule ng'abantu abalungi, bamukwase mu bigambo by'anaayogera, balyoke bamuweeyo eri omufuzi Omurooma. |
| 21 |
| Abakessi bano ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nti by'oyogera ne by'oyigiriza bituufu, era tososola mu bantu, naye abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. |
| 22 |
| Kaakati ssebo, tubuulire: tukkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tetukkirizibwa?” |
| 23 |
| Kyokka Yesu n'ategeera olukwe lwabwe, n'abagamba nti: |
| 24 |
| “Mundage essente. Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?” Ne bagamba nti: “Bya Kayisaari.” |
| 25 |
| Yesu n'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.” |
| 26 |
| Ne batasobola kumukwasa mu kintu na kimu kye yayogera mu maaso g'abantu. Ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika. |
| 27 |
| Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: |
| 28 |
| “Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa, n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’ |
| 29 |
| Kale waaliwo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa, kyokka n'afa nga talese mwana. |
| 30 |
| N'owookubiri n'awasa nnamwandu oyo. |
| 31 |
| Era n'owookusatu bw'atyo. Bonna omusanvu baamuwasa, ne bafa nga tebalese mwana. |
| 32 |
| Oluvannyuma, omukazi naye n'afa. |
| 33 |
| Kale ku lunaku olw'okuzuukira, omukazi oyo aliba muk'ani, nga bonna omusanvu baamuwasa?” |
| 34 |
| Awo Yesu n'abagamba nti: “Abantu ab'oku nsi bawasa era bafumbirwa. |
| 35 |
| Naye abo abalisaanyizibwa okuba mu mulembe ogwo, n'okuzuukira mu bafu, baliba tebakyawasa era nga tebakyafumbirwa, |
| 36 |
| “kubanga baliba tebakyayinza kufa nate. Baliba nga bamalayika, era baliba baana ba Katonda olw'okuba baliba bazuukidde. |
| 37 |
| Ne Musa alaga nti abafu bazuukira, kubanga mu kitundu ekifa ku kisaka, ayogera ku Mukama nti Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo. |
| 38 |
| Katonda si wa bafu wabula wa balamu, kubanga bonna eri Katonda balamu.” |
| 39 |
| Abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ne baddamu nti: “Muyigiriza, oyogedde bulungi.” |
| 40 |
| Baayogera batyo kubanga tewaali yaguma kwongera kumubuuza bibuuzo. |
| 41 |
| Awo Yesu n'abagamba nti: “Bayinza batya okugamba nti Kristo muzzukulu wa Dawudi? |
| 42 |
| Dawudi yennyini mu kitabo kya Zabbuli, agamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti tuula ng'onninaanye, ku ludda lwange olwa ddyo, |
| 43 |
| okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’ |
| 44 |
| Oba nga Dawudi amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?” |
| 45 |
| Abantu bonna nga bawulira, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: |
| 46 |
| “Mwekuume abannyonnyozi b'amateeka abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu ezikweya, era abaagala okulamusibwa mu butale, n'okutuula mu bifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro, ne mu bifo ebyekitiibwa ku mbaga, |
| 47 |
| era abanyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, era abasinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. Baliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/luke/020.mp3
24
20