Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, abakazi ne bajja ku ntaana nga baleeta ebyobuwoowo bye baategeka. |
| 2 |
| Ne basanga ng'ejjinja liyiringisiddwa ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana. |
| 3 |
| Ne bayingira, ne batasangamu mulambo gwa Mukama waffe Yesu. |
| 4 |
| Awo olwatuuka, baali bakyasamaaliridde olw'ekyo, abasajja babiri ne bayimirira kumpi nabo, nga bambadde engoye ezinekaaneka. |
| 5 |
| Abakazi bwe baatya ne bakutama ne batunula wansi ku ttaka, abasajja ne babagamba nti: “Lwaki munoonyeza omulamu mu bafu? |
| 6 |
| Taliiwo wano, azuukidde. Mujjukire nga bwe yababuulira ng'akyali mu Galilaaya, ng'agamba nti: Luk 9:22; 18:31-33 |
| 7 |
| Omwana w'Omuntu ateekwa okuweebwayo mu mikono gy'abantu aboonoonyi, n'okukomererwa ku musaalaba, n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.” |
| 8 |
| Ne bajjukira ebigambo bye, |
| 9 |
| ne bava ku ntaana, ebyo byonna ne babibuulira abayigirizwa ekkumi n'omu, n'abalala bonna. |
| 10 |
| Ebyo abaabibuulira abatume, baali Mariya Magudaleena, Yowanna, ne Mariya nnyina Yakobo, n'abalala abaali nabo. |
| 11 |
| Ebigambo ebyo ne bifaananira abatume ng'eby'okugereesa, ne batabikkiriza. |
| 12 |
| Kyokka Peetero n'asituka, n'adduka, n'alaga ku ntaana, n'akutama, n'alaba engoye nga ziri zokka, n'avaayo nga yeewuunya ebibaddewo. |
| 13 |
| Ku lunaku lwe lumu olwo, babiri ku bo baali balaga mu kabuga erinnya lyako Emmaawo, kilomita nga kkumi okuva e Yerusaalemu. |
| 14 |
| Baali banyumya bokka na bokka ku ebyo byonna ebibaddewo. |
| 15 |
| Awo olwatuuka, nga banyumya era nga beebuuzaganya, ne Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula wamu nabo. |
| 16 |
| Kyokka amaaso gaabwe gaaziyizibwa okumwekkaanya, baleme okumutegeera. |
| 17 |
| N'abagamba nti: “Mboozi ki eyo gye munyumya nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwavu. |
| 18 |
| Omu ku bo, erinnya lye Kulewopa n'amuddamu nti: “Ggwe muntu wekka ali mu Yerusaalemu atamanyi bibaddewo mu nnaku zino?” |
| 19 |
| N'ababuuza nti: “Biki?” Ne bagamba nti: “Ebifa ku Yesu Omunazaareeti, eyali omusajja omulanzi ow'amaanyi mu bye yakolanga, ne mu bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna; |
| 20 |
| era nga bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okusalirwa ogw'okufa, ne bamukomerera ku musaalaba. |
| 21 |
| Ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Yisirayeli. N'ebyo byonna nga biri awo, luno olunaku lwakusatu kasookedde bino bibaawo. |
| 22 |
| Naye ate abakazi abamu ab'ewaffe, abaabadde ku ntaana ku makya ennyo, batuwuniikirizza, |
| 23 |
| bwe batasanzeeyo mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti mulamu. |
| 24 |
| Abamu ku bannaffe baalaze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe baagambye, kyokka ye tebaamulabye.” |
| 25 |
| Awo Yesu n'abagamba nti: “Basirusiru mmwe, era abalwawo okukkiriza byonna abalanzi bye baayogera! |
| 26 |
| Kristo yali tateekwa kubonyaabonyezebwa ebyo byonna alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” |
| 27 |
| Awo Yesu n'abannyonnyola ebimwogerako mu byawandiikibwa byonna, ng'atandikira ku bya Musa, n'ayongera n'eby'abalanzi bonna. |
| 28 |
| Ne basemberera akabuga gye baali balaga, ye n'aba ng'akyeyongerayo mu maaso. |
| 29 |
| Ne bamwegayirira nti: “Sigala naffe, kubanga obudde buwungedde, era enjuba emaze okugwa.” N'ayingira okubeera nabo. |
| 30 |
| Awo olwatuuka, bwe yali atudde nabo okulya, n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'agubawa. |
| 31 |
| Awo amaaso gaabwe ne gazibuka, ne bamutegeera, kyokka n'ababulako, nga tebakyamulaba. |
| 32 |
| Ne bagambagana nti: “Emitima tegyatubuguumiridde bwe yabadde ng'ayogera naffe mu kkubo, era ng'atunnyonnyola ebyawandiikibwa?” |
| 33 |
| Ne basituka mu kaseera ako kennyini, ne baddayo e Yerusaalemu, ne basanga abayigirizwa ekkumi n'omu n'abalala abaali nabo, nga bakuŋŋaanye, |
| 34 |
| nga bagamba nti: “Ddala Mukama waffe azuukidde, alabikidde ne Simooni.” |
| 35 |
| Ne bano ne banyumya ebyabaddewo mu kkubo, era nga bwe baamutegeeredde ku kumenyaamenyamu omugaati. |
| 36 |
| Awo baali nga bakyayogera ebyo, Yesu yennyini n'ayimirira wakati waabwe n'agamba nti: “Emirembe gibe nammwe!” |
| 37 |
| Ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu. |
| 38 |
| Awo n'abagamba nti: “Lwaki mweraliikiridde? Era lwaki okubuusabuusa kuno kuzze mu mitima gyammwe? |
| 39 |
| Mulabe ebibatu byange n'ebigere byange. Nze nzuuno mwene. Munkwateko mulabe, anti omuzimu teguba na mubiri na magumba nga bwe mundaba nga mbirina.” |
| 40 |
| Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'ebigere bye. |
| 41 |
| Awo nga tebannaba kukkiriza, nga beewuunya olw'essanyu, n'abagamba nti: “Wano mulinawo ekyokulya?” |
| 42 |
| Ne bamuwa ekitundu ky'ekyennyanja ekyokye. |
| 43 |
| N'akitoola, n'akirya nga balaba. |
| 44 |
| N'abagamba nti: “Bino bye bigambo bye nabagamba nga nkyali nammwe nti byonna ebyawandiikibwa nga binjogerako mu mateeka ga Musa ne mu bitabo by'abalanzi ne mu Zabbuli, biteekwa okutuukirizibwa.” |
| 45 |
| Olwo n'atangaaza amagezi gaabwe bategeere ebyawandiikibwa, |
| 46 |
| n'abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristo ateekwa okubonaabona n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu, |
| 47 |
| era nti mu linnya lye, obubaka obw'okwenenya n'okusonyiyibwa ebibi buteekwa okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna, okusookera ku Yerusaalemu. |
| 48 |
| Mmwe bajulirwa b'ebyo. |
| 49 |
| Era nze nja kubaweereza ekirabo, Kitange kye yabasuubiza. Naye mubeere mu kibuga, okutuusa lwe mulifuna amaanyi agava mu ggulu.” |
| 50 |
| Awo Yesu n'abatwala ebweru w'ekibuga, n'agenda nabo e Betaniya, n'agolola emikono gye, n'abawa omukisa. |
| 51 |
| Awo olwatuuka, ng'akyabawa omukisa, n'ava we bali, natwalibwa mu ggulu. |
| 52 |
| Ne bamusinza, ne baddayo e Yerusaalemu nga bajjudde essanyu lingi. |
| 53 |
| Ne babeeranga mu Ssinzizo bulijjo, nga batendereza Katonda. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/luke/024.mp3
24
24