BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Awo oluvannyumako n'ayitaayita mu bibuga n'ebyalo ng'ayigiriza, era ng'ababuulira amawulire amalungi ag'obwakabaka bwa Katonda; n'Ekkumi n'Ababiri nga bali naye, |
| 2 |
| n'abakazi abamu abaali bawonyezeddwa emyoyo emibi n'endwadde: Mariya ayitibwa Magudalena eyagobebwamu emyoyo emibi musanvu, |
| 3 |
| ne Yowannina muka Kuza omuwanika wa Erode, ne Suzanna, n'abalala bangi, abaabalabiriranga nga batoola ku byabwe. |
| 4 |
| Awo ebibiina binene ne bikuŋŋaana, abantu ne bava mu bibuga n'ebibuga ne bajja w'ali, n'ayogera mu ngero nti: |
| 5 |
| “Omusizi yafuluma okusiga ensigo ye. Yali asiga, ensigo emu n'egwa mu kkubo, n'erinnyirirwa ebigere, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bigirya. |
| 6 |
| Endala n'egwa ku lwazi; n'emeruka, n'ekala, kubanga teyalina mazzi. |
| 7 |
| Endala n'egwa mu maggwa; amaggwa ne gamera wamu nayo ne gagifuuwa. |
| 8 |
| Endala n'egwa mu ttaka eddungi, n'ekula, n'ereetako ebibala kikumi.” Bwe yasirissa ebyo, n'akoowoola nti: “Alina amatu okuwulira, awulire.” |
| 9 |
| Awo abayigirizwa be ne bamubuuza ku lugero olwo bwe luli. |
| 10 |
| Ye n'abagamba nti: “Mmwe mwaweebwa okumanya ebyama by'obwakabaka bwa Katonda; abalala bo kibabuulirwa mu ngero, bwe balaba baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera. |
| 11 |
| Kale olugero lwe luno: Ensigo kye kigambo kya Katonda. |
| 12 |
| Ensigo ey'oku kkubo, be baabo abawulira, oluvannyuma Sitaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu myoyo gyabwe, baleme kukkiriza na kulokoka. |
| 13 |
| Ate eyagwa ku lwazi, be baabo, bwe bawulira ekigambo, bakyaniriza n'essanyu; naye obutabaako mirandira, bakkiriza akabanga, ate mu budde obw'okukemebwa, nga beeseebulula. |
| 14 |
| Eyagwa mu maggwa, be baabo abawulira; naye bwe bagenda, okweraliikirira n'obugagga, n'amasanyu ag'obulamu ne bibatuga ne batabala bibala. |
| 15 |
| Eyagwa ey'omu ttaka eddungi, be baabo abawulira ekigambo ne bakitereka mu mutima omulungi, omwesimbu, ne baleeta ebibala mu kugumiikiriza.” |
| 16 |
| “Tewali akoleeza ttawaaza n'agisaanikirako nsuwa, oba n'agissa wansi wa kitanda; naye agiwanika ku kikondo abayingira balyoke balabe ekitangaala. |
| 17 |
| Kubanga tewali kyakisibwa ekitalibikkulibwa, era n'ekyakwekebwa ekitalimanyibwa ne kijja mu kitangaala. |
| 18 |
| Mwekkaanye engeri gye muwuliramu. Kubanga alina alyongerwako; ate buli atalina, ne ky'alowooza nti akirina kirimuggyibwako.” |
| 19 |
| Awo nnyina ne baganda be ne bajja gy'ali; ne batasobola kumutuukako olw'ekibiina. |
| 20 |
| Ne bamutumira nti: “Nnyoko ne baganda bo bayimiridde wano ebweru baagala okukulabako.” |
| 21 |
| Ye n'ayanukula n'abagamba nti: “Mmange ne baganda bange be baabo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakissa mu nkola.” |
| 22 |
| Awo olumu n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Tusomoke, tulage emitala w'ennyanja.” Ne basitula. |
| 23 |
| Bwe baali bawunguka, ne yeebaka. Omuyaga ogw'empewo ne gukka ku nnyanja, ne bajjula amazzi, ne baba mu kabi. |
| 24 |
| Ne basembera w'ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Muyigiriza, Muyigiriza, tusaanawo!” Ye n'agolokoka, omuyaga n'ennyanja eyali esiikuuse n'abikomako, ne bikoma, ne guba mulaala. |
| 25 |
| N'abagamba nti: “Okukkiriza kwammwe kuli wa?” Ne batya, ne beewuunya, ne bagambagana nti: “Ono ye ani, alagira empewo n'amazzi ne bimuwulira?” |
| 26 |
| Ne basaabala, ne bagoba mu nsi y'Abagerasa emitala wa Galilaaya. |
| 27 |
| Bwe yagoba ku ttale, n'ajjirwa omuntu okuva mu kibuga eyalimu emyoyo emibi. Ebiro bingi yali takyayambala, nga tasula na mu nnyumba, wabula ng'abeera eyo mu biggya. |
| 28 |
| Olwalengera ku Yezu, n'awowoggana, n'ajja agwa mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Onjagaza ki ggwe Yezu Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ddala? Nkwegayiridde tombonyaabonya.” |
| 29 |
| Kubanga yali alagidde omwoyo omugwagwa guve mu musajja. Anti ebbanga lyali ddene bukya gumukwata; baamukuumiranga mu masamba ne mu njegere, naye ebyamusibanga ng'abikutula, omwoyo omubi ne gumutwala mu ddungu. |
| 30 |
| Yezu n'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” n'amugamba nti: “Ggye,” kubanga emyoyo emibi gyali gimuyingiddemu mingi. |
| 31 |
| Ne gimwegayirira aleme kugiragira kugenda mu nnyanga. |
| 32 |
| Eggana ly'embizzi ddene lyali lirya awo ku lusozi; ne gimusaba agireke giyingire omwo. N'agikkiriza. |
| 33 |
| Awo emyoyo emibi ne giva mu muntu, ne giyingira mu mbizzi; eggana lyonna ne lifubutuka, ne lyesolessa mu nnyanja okuva waggulu ku bbanga, ne lisaanawo. |
| 34 |
| Abaali bazirunda bwe baalaba ekyali kiguddewo, ne badduka, ne bagenda boogera mu kibuga ne mu byalo. |
| 35 |
| Bo ne bavaayo okulaba ekibaddewo; ne bajja eri Yezu, ne basanga omuntu emyoyo emibi gwe gyavaamu ng'atudde ku bigere bya Yezu, ayambadde era ng'ategeera bulungi; ne batya. |
| 36 |
| Abaali balabye ne babanyumiza eyali akwatiddwa emyoyo emibi nga bwe yali awonyezeddwa. |
| 37 |
| Ekibiina kyonna eky'ab'omu nsi ey'Abagerasa ekyetooloddewo ne kimwegayirira abaviire; kubanga entiisa yali ebakutte nnene. Awo kwe kusaabala mu lyato n'addayo. |
| 38 |
| Eyalimu emyoyo emibi n'amusaba amukkirize abeerenga naye; Yezu ye n'amusiibula, n'amugamba nti: |
| 39 |
| “Genda ewammwe, obuulire Katonda by'akukoledde.” N'agenda n'ayitaayita mu kibuga kyonna ng'alangirira obunene bw'ebyo Yezu bye yali amukoledde. |
| 40 |
| Awo Yezu n'akomawo, ekibiina ne kimwaniriza; kubanga bonna baali bamulinda. |
| 41 |
| Ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulu wa sinaagooga; n'agwa ku bigere bya Yezu, n'amwegayirira ayingire mu nnyumba ye, |
| 42 |
| Kubanga yali alina omwana we ow'obuwala omu yekka nga wa myaka kkumi n'ebiri, yali afa. N'agenda, naye ekibiina nga kimusindiikiriza. |
| 43 |
| Awo omukazi eyali alwadde endwadde eya ggerenge okumala emyaka kkumi n'ebiri ne watabaawo amuwonya, |
| 44 |
| n'afuluma emabega, n'akoma ku matanvuuwa g'ekyambalo kye, amangu ago okukulukuta kw'omusaayi ne kukoma. |
| 45 |
| Yezu n'agamba nti: “Ani oyo ankomyeko?” Bonna ne beegaana. Awo Petero n'agamba nti: “Muyigiriza, abantu bakwetoolodde, bakusindiikiriza.” |
| 46 |
| Yezu n'agamba nti: “Waliwo ankomyeko, kubanga mpulidde ng'amaanyi ganvaamu.” |
| 47 |
| Omukazi bwe yalaba nga tasobola kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'avunnama ku bigere bye n'ayatula mu maaso g'abantu bonna ensonga eyamumukomezzaako, era nga bw'awonye amangu ago. |
| 48 |
| Awo Yezu n'amugamba nti: “Muwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.” |
| 49 |
| Yali akyayogera, ne wabaawo ajja okuva ew'omukulu wa sinaagooga ng'agamba nti: “Muwala wo afudde; omuyigiriza toyongera kumuteganya.” |
| 50 |
| Yezu bwe yawulira ekigambo ekyo, n'amugamba nti: “Totya, kkiriza bukkiriza, ajja kuwona.” |
| 51 |
| Bwe yatuuka ku nnyumba, n'ataganya muntu mulala yenna kuyingira naye, okuggyako Petero ne Yakobo ne Yowanna muganda wa Yakobo, ne kitaawe w'omuwala ne nnyina. |
| 52 |
| Bonna baali awo nga bakaaba, nga bamukubira ebiwoobe; naye ye n'agamba nti: “Muleke kukaaba; kubanga tafudde, yeebase bwebasi.” |
| 53 |
| Ne bamusekerera, kubanga baali bamanyi ng'afudde. |
| 54 |
| Awo n'akwata omukono gw'omuwala n'ayogerera waggulu, n'agamba nti: “Muwala, golokoka.” |
| 55 |
| Omwoyo gwe ne gumuddamu, amangu ago n'agolokoka. N'alagira okumuwa ekyokulya. |
| 56 |
| Bakadde be ne bawuniikirira; ye n'abakuutira obutabuulirako muntu kyali kibaddewo. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/luke/008.mp3
24
8