Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba emyoyo emibi gyonna ku bantu n'okuwonya endwadde. |
| 2 |
| N'abatuma bagende bategeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era bawonye abalwadde. |
| 3 |
| N'abagamba nti: “Mu lugendo luno, temugenda na kantu konna, newaakubadde omuggo, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, newaakubadde emmere, wadde ensimbi, era temuba na kkanzu yaakubiri. |
| 4 |
| Ennyumba gye muyingiramu ne babaaniriza, mwe mubanga musula okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. |
| 5 |
| Mu kibuga gye bagaana okubaaniriza, muveeyo era bwe muba nga muvaayo, mwekunkumuleko n'enfuufu eba ebakutte ku bigere, olw'okulabula abantu abo.” |
| 6 |
| Awo abayigirizwa ne bagenda, ne batambula wonna wonna mu byalo, nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi era nga bawonya abalwadde buli wantu. |
| 7 |
| Awo Herode, omufuzi wa Galilaaya, n'awulira byonna ebyaliwo, n'asoberwa nnyo, kubanga abantu abamu baagambanga nti: “Yowanne Omubatiza azuukidde!” |
| 8 |
| Abalala nga bagamba nti: “Eliya alabise”, n'abalala nti: “Omu ku balanzi ab'edda azuukidde.” |
| 9 |
| Herode n'agamba nti: “Yowanne nze nalagira n'atemwako omutwe, ate oyo ani gwe mpulirako ebyenkana awo?” N'agezaako okumulaba. |
| 10 |
| Abatume ne bakomawo, ne bategeeza Yesu byonna bye baakola. N'abatwala, ne bagenda naye bokka mu kibuga ekiyitibwa Betusayida. |
| 11 |
| Abantu bangi nnyo bwe baakimanya, ne bamugoberera. Bwe yamala okubaaniriza, n'ababuulira ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era n'awonya abaali beetaaga okuwonyezebwa. |
| 12 |
| Obudde bwe bwali butandika okuwungeera, abayigirizwa ekkumi n'ababiri ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Abantu basiibule bagende mu bubuga ne mu byalo ebiriraanye wano, bafune emmere ne we banaasula, kubanga wano tuli mu kifo kya ddungu.” |
| 13 |
| Kyokka Yesu n'abagamba nti: “Mmwe muba mubawa emmere balye.” Ne baddamu nti: “Tulinawo emigaati etaano gyokka, n'ebyennyanja bibiri. Mpozzi okuggyako nga tugenda ne tugulira abantu bano bonna emmere!” |
| 14 |
| Abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze mu bibinja nga buli kimu kirimu ng'amakumi ataano.” |
| 15 |
| Ne bakola bwe batyo, bonna ne babatuuza. |
| 16 |
| Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso ge eri eggulu, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abiwa abayigirizwa be babigabire abantu. |
| 17 |
| Bonna ne balya ne bakkuta. Obutundutundu obwalemerawo, ne bukuŋŋaanyizibwa, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri. |
| 18 |
| Lwali lumu, Yesu yali asinza Katonda, nga n'abayigirizwa be weebali, n'ababuuza nti: “Abantu bwe baba banjogerako bampita ani?” |
| 19 |
| Ne baddamu nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza, abalala Eliya, n'abalala bagamba nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde.” |
| 20 |
| Awo Yesu n'ababuuza nti: “Naye mmwe, mumpita ani?” Peetero n'addamu nti: “Ggwe Kristo wa Katonda.” |
| 21 |
| Awo Yesu n'abakuutira nnyo ekyo obutakibuulirako muntu n'omu. |
| 22 |
| Era n'agamba nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.” |
| 23 |
| Awo n'agamba bonna nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe buli lunaku, n'angoberera. |
| 24 |
| Buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Wabula buli afiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola. |
| 25 |
| Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate ne yeezikiriza, oba ne yeeretera okufiirwa obulamu bwe? |
| 26 |
| “Buli muntu akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne mu kitiibwa kya Kitaawe, ne mu kya bamalayika abatukuvu. |
| 27 |
| Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Obwakabaka bwa Katonda.” |
| 28 |
| Bwe waayitawo ennaku nga munaana nga Yesu amaze okwogera ebyo, n'atwala Peetero ne Yowanne ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusinza Katonda. |
| 29 |
| Bwe yali ng'akyasinza, endabika y'amaaso ge n'efuuka, era ebyambalo bye ne bitukula, ne byakaayakana. |
| 30 |
| Awo abasajja babiri, Musa ne Eliya, ne balabika nga boogera naye. |
| 31 |
| Baalabikira mu kitiibwa, era ne boogera ku ngeri y'okufa kwe, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemu. |
| 32 |
| Peetero ne banne be yali nabo, baali bakwatiddwa otulo, kyokka bwe baazuukuka, ne balaba ekitiibwa kya Yesu, n'abasajja ababiri abaali bayimiridde naye. |
| 33 |
| Abasajja bano bwe baali bava awali Yesu, Peetero n'amugamba nti: “Mukama waffe, kirungi tubeere wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu, emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'agamba. |
| 34 |
| Bwe yali ng'akyayogera ebyo, ekire ne kijja ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, awo abayigirizwa ne batya nga kibabikka. |
| 35 |
| Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange, Omulonde wange, mumuwulirize.” |
| 36 |
| Eddoboozi bwe lyamala okwogera, abayigirizwa ne balaba Yesu ng'asigaddewo yekka. Kye baalaba ne bakisirikira, ne batakibuulirako muntu mulala mu nnaku ezo. |
| 37 |
| Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'abayigirizwa be abasatu bwe baava ku lusozi, ekibiina ky'abantu kinene ne kijja okusisinkana Yesu. |
| 38 |
| Awo omusajja eyali mu kibiina ky'abantu n'aleekaana nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, kwatirwa mutabani wange ekisa, ye mwana wange yekka! |
| 39 |
| Omwoyo omubi gumukwata, amangwago n'awowoggana, ne gumujugumiza, n'abimba ejjovu, era okumuvaako, gumala kumumaliramu ddala maanyi. |
| 40 |
| Neegayiridde abayigirizwa bo okugumugobako, ne balemwa.” |
| 41 |
| Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza?” Awo n'agamba kitaawe w'omulenzi nti: “Mutabani wo muleete wano.” |
| 42 |
| Omulenzi bwe yali ng'ajja, omwoyo omubi ne gumukuba ekigwo, era ne gumujugumiza. Yesu n'aguboggolera, n'awonya omulenzi era n'amuddiza kitaawe. |
| 43 |
| Bonna ne bawuniikirira olw'obuyinza bwa Katonda. Abantu baali bakyewuunya byonna Yesu by'akoze, ye n'agamba abayigirizwa be nti: |
| 44 |
| “Muwulirize n'obwegendereza ebigambo byange bino: Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu.” |
| 45 |
| Kyokka bo ne batategeera ky'agambye. Kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera, ate ne batya okumubuuza amakulu gaakyo. |
| 46 |
| Awo abayigirizwa ne bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo. |
| 47 |
| Yesu n'amanya kye balowooza, n'aleeta omwana omuto, n'amuyimiriza kumpi naye. |
| 48 |
| N'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba ayanirizza Katonda eyantuma, kubanga oyo asinga okuba omwetoowaze mu mmwe mwenna, ye asinga okuba oweekitiibwa.” |
| 49 |
| Yowanne n'agamba nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.” |
| 50 |
| Yesu n'amugamba nti: “Temumuziyiza, kubanga atabalwanyisa taba mulabe wammwe.” |
| 51 |
| Awo olwatuuka, ennaku za Yesu ez'okutwalibwa mu ggulu bwe zaali nga ziri kumpi okutuuka, n'amalirira okugenda e Yerusaalemu. |
| 52 |
| N'atuma ababaka bamukulemberemu, ne bagenda ne bayingira mu kabuga k'Abasamariya akamu, okumutegekera byonna. |
| 53 |
| Kyokka abantu baayo ne bagaana okumwaniriza, kubanga yali alabikira ddala nti agenda Yerusaalemu. |
| 54 |
| Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanne, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?” |
| 55 |
| Yesu n'abakyukira n'abanenya. |
| 56 |
| Awo ne bagenda mu kabuga akalala. |
| 57 |
| Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali nga batambula, omuntu omu n'agamba Yesu nti: “Nnaayitanga naawe gy'onoogendanga yonna.” |
| 58 |
| Yesu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya, n'ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'assa mutwe.” |
| 59 |
| Ate n'agamba omulala nti: “Yitanga nange.” Kyokka oyo n'addamu nti: “Ssebo, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.” |
| 60 |
| Yesu n'amugamba nti: “Leka abo abali ng'abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda otegeeze abantu ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda.” |
| 61 |
| Omuntu omulala n'agamba nti: “Ssebo, nja kuyitanga naawe, naye nzikiriza mmale okusiibula ab'ewaffe.” |
| 62 |
| Yesu n'amugamba nti: “Buli akwata enkumbi okulima ate n'aba ng'akyatunula emabega, tayinza kuba wa mugaso mu Bwakabaka bwa Katonda.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/luke/009.mp3
24
9