BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Awo n'ayita Ekkumi n'Ababiri wamu n'abawa amaanyi n'obuyinza ku myoyo emibi gyonna era n'okuwonya endwadde. |
| 2 |
| N'abatuma okuyigiriza obwakabaka bwa Katonda n'okuwonya. |
| 3 |
| N'abagamba nti: “Temutwalanga kantu mu lugendo, newandibadde omuggo, newandibadde ensawo, newandibadde omugaati, newandibadde ffeeza, era temubeeranga na kkanzu bbiri. |
| 4 |
| Buli nnyumba gye muyingiramu, mubeeranga omwo era wo we muvanga. |
| 5 |
| Yonna gye bagaananga okubaaniriza, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe ng'obujulizi obubalumiriza.” |
| 6 |
| Bo ne bagenda, ne bayitaayita mu bibuga nga bayigiriza Evangili n'okuwonya buli wantu. |
| 7 |
| Awo Erode omufuzi atwala ekitundu n'awulira byonna ebyakolebwa, n'asoberwa, kubanga abamu baagambanga nti Yowanna Batista azuukidde mu bafu; |
| 8 |
| n'abalala nti Eliya alabise, ate abandi nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde. |
| 9 |
| Erode n'agamba nti: “Yowanna nze namutemako omutwe; ate oyo gwe mpulirako ebyenkana awo ye ani?” N'ayagala okumulaba. |
| 10 |
| Awo abatume ne badda, ne bamunyumiza byonna bye baakola. Ye n'abatwala, n'ava awo nagenda ebbaliko yekka mu kibuga ekiyitibwa Betisayida. |
| 11 |
| Naye abantu bwe baamanya, ne bamugoberera; n'abasanyukira, era n'ababuulira ku bwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya. |
| 12 |
| Obudde bwe bwagenda buziba, Ekkumi n'Ababiri ne bamusemberera ne bagamba nti: “Abantu basiibule, bagende mu bibuga ne mu byalo ebyetoolodde basule eyo, bafune ne kye banaalya, kubanga wano we tuli kifo kyesudde.” |
| 13 |
| Ye n'abagamba nti: “Mmwe mubawe kye banaalya.” Bo ne bamugamba nti: “Tetulina kirala, okuggyako emigaati etaano gyokka n'ebyennyanja bibiri; mpozzi tugende tugulire abantu bano bonna emmere.” |
| 14 |
| Kubanga abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano. N'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze ebibinja nga by'amakumi ataano kinna kimu.” |
| 15 |
| Ne bakola batyo; ne babatuuza bonna. |
| 16 |
| Awo n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula ku ggulu, ne yeebaza, n'abimenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be babigabire abantu. |
| 17 |
| Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebyalema, ebisero kkumi na bibiri eby'obutundutundu. |
| 18 |
| Olwatuuka, yali ali yekka nga yeegayirira, n'abayigirizwa be nga bali naye, n'ababuuza nti: “Abantu bagamba nze ani?” |
| 19 |
| Bo ne bayanukula ne bagamba nti: “Yowanna Batista, naye abalala nti Eliya, n'abandi nti omulanzi omu ku b'edda azuukidde.” |
| 20 |
| Awo n'abagamba nti: “Naye nga mmwe mugamba nze ani?” Petero n'ayanukula nti: “Kristu wa Katonda.” |
| 21 |
| Naye ye n'abakuutira, n'abalagira ekyo obutakibuulirako muntu. |
| 22 |
| N'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu yalina okubonyaabonyezebwa ebingi n'okwegaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi n'okuttibwa, n'okuzuukizibwa ku lunaku olwokusatu.” |
| 23 |
| Awo bonna n'abagamba nti: “Obanga oli ayagala okungoberera, yeerese, yeetikke omusaalaba gwe buli lukya, angoberere. |
| 24 |
| Kubanga buli alyagala okuwonya obulamu bwe, alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe okubeera nze, oyo alibuwonya. |
| 25 |
| Kale omuntu kimugasa ki okulya ensi yonna, sso ye n'azaawa oba n'afiirwa? |
| 26 |
| Kubanga buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, oyo Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi lw'alijja mu kitiibwa kye n'ekya Taata n'ekya bamalayika abatuukirivu. |
| 27 |
| Mazima mbagamba nti waliwo abamu ku bayimiridde wano abatalirega ku lumbe okutuusa nga balabye obwakabaka bwa Katonda.” |
| 28 |
| Oluvannyuma lw'ebigambo bino nga wayise ennaku nga munaana, n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna, n'alinnya nabo ku lusozi okwegayirira. |
| 29 |
| Bwe yali yeegayirira, enfaanana y'amaaso ge n'efuuka, ebyambalo bye ne byeruka, ne bimasamasa. |
| 30 |
| Awo ne walabikawo abasajja babiri nga boogera naye; baali Musa ne Eliya; |
| 31 |
| baalabikira mu kitiibwa; baali boogera ku kugenda kwe kwe yali agenda okutuukiriza mu Yeruzaalemu. |
| 32 |
| Petero n'abaali naye otulo twali tubali bubi, naye baasigala batunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abasajja bali ababiri abaali bayimiridde naye. |
| 33 |
| Awo bali bwe baali bava w'ali, Petero n'agamba Yezu nti: “Muyigiriza, kirungi ffe okubeera wano; ka tukole wano ensiisira ssatu, emu yiyo, emu ya Musa n'emu ya Eliya.” Yali tamanyi ky'ayogera. |
| 34 |
| Yali akyayogera ebyo, ekire ne kijja, ne kibabuutikira; ne batya nga balaba bayingirira ekire. |
| 35 |
| Awo eddoboozi ne liva mu kire, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange, Omulondemu wange, mumuwulirenga.” |
| 36 |
| Eddoboozi lyagenda okusirika, nga Yezu yekka y'aliwo. Bo ne basirika; mu nnaku ezo ebyo bye baalaba ne wataba gwe baabibuulirako. |
| 37 |
| Ku lunaku olwaddako, bwe baali baserengeta olusozi, ekibiina kinene ne kibasisinkana. |
| 38 |
| Omusajja n'aleekaana okuva mu kibiina ng'agamba nti: “Muyigiriza, nkwegayiridde, tunuulira mutabani wange; ono ye muzaale yekka gwe nnina. |
| 39 |
| Omwoyo gumukwata, amangu ago n'awowoggana; ne gumusambagaza, n'abimba ejjovu; gumuta na buwaze, ate gumumenyaamenya. |
| 40 |
| Neegayiridde abayigirizwa bo bagugobe, ne batasobola.” |
| 41 |
| Awo Yezu n'ayanukula, n'agamba nti: “Owa ezzadde lino eritakkiriza, eryonoonefu! Ndituusa wa okubeera nammwe n'okubagumiikiriza? Kale mutabani wo muleete wano.” |
| 42 |
| Bwe yali asembera, omwoyo omubi ne gumutaagulataagula ne gumusambagaza. Naye Yezu n'akabukira omwoyo omugwagwa, omulenzi n'amuwonya, n'amuddiza kitaawe. |
| 43 |
| Abantu bonna ne beewuunya obukulu bwa Katonda. Bonna baali bakyewuunya byonna by'akola, |
| 44 |
| n'agamba abayigirizwa be nti: “Ebigambo bino biyingire mu matu gaamwe: kubanga Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu.” |
| 45 |
| Bo ne batategeera kigambo ekyo; kyali kibakwekeddwa baleme kukitegeera; ate baali batya okumubuuza ku kigambo ekyo. |
| 46 |
| Awo enkaayana ne zisituka mu bo ku ani asinga obukulu mu bo. |
| 47 |
| Yezu bwe yalaba ebirowoozo ebyali mu mitima gyabwe, n'akwata omwana omuto, n'amuyimiriza ku lusegere lwe, |
| 48 |
| n'abagamba nti: “Buli ayaniriza omwana omuto ono, mu linnya lyange, aba ayanirizza nze; na buli annyaniriza, aba ayanirizza oli eyantuma. Kubanga asinga obutene mu mmwe mwenna, y'asinga obukulu.” |
| 49 |
| Yowanna n'ayanukula nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi mu linnya lyo, ne tumuziyiza; kubanga yali tayita naffe.” |
| 50 |
| Naye Yezu n'amugamba nti: “Muleke kumuziyiza; kubanga oyo atatuwakanya, aba ku ludda lwammwe.” |
| 51 |
| Olwatuuka, ennaku ez'okulinnyisibwa kwe bwe zaali ziri kumpi, amaaso ge n'agasimbira ddala ku kulaga e Yeruzaalemu. N'asindika ababaka bamukulemberemu. |
| 52 |
| Ne bagenda, ne bayingira mu kyalo ky'Abasamariya bamutegekere. |
| 53 |
| Naye abantu ne batamwaniriza kubanga amaaso ge yali agasimbye ku kulaga Yeruzaalemu. |
| 54 |
| Abayigirizwa be, Yakobo ne Yowanna, bwe baalaba ekyo, ne bagamba nti: “Mukama, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize?” |
| 55 |
| Naye ye n'akyuka n'abakomako. |
| 56 |
| Ne bagenda mu kibuga ekirala. |
| 57 |
| Bwe baali batambula mu kkubo, ne wajjawo amugamba nti: “Nzija kukugobereranga yonna gy'onoogendanga.” |
| 58 |
| Yezu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya n'ebinyonyi eby'omu bbanga birina ebisu, naye Omwana w'Omuntu talina w'awunzika mutwe.” |
| 59 |
| Ate n'agamba omulala nti: “Ngoberera.” Naye ye n'agamba nti: “Mukama, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.” |
| 60 |
| N'amugamba nti: “Leka abafu baziike abafu baabwe; ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.” |
| 61 |
| Omulala n'agamba nti: “Ssebo, nzija kukugoberera; kyokka, nzikiriza ŋŋende nsiibule ab'eka.” |
| 62 |
| Yezu n'amugamba nti: “Mpaawo oyo akwata ku nkumbi erima n'akebuka mabega asaanidde bwakabaka bwa Katonda.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/luke/009.mp3
24
9