Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ensi bwe yali nga tennatondebwa, Kigambo nga w'ali. Kigambo yali ne Katonda, era nga ye omu ne Katonda. |
| 2 |
| Okuviira ddala olubereberye, Kigambo yali ne Katonda. |
| 3 |
| Katonda yayita mu ye okutonda ebintu byonna. Tewali kintu na kimu ku bitonde, ekyatondebwa w'atali. |
| 4 |
| Obulamu bwali mu ye, era obulamu obwo ne buleeta ekitangaala mu bantu. |
| 5 |
| Ekitangaala ne kyakira mu kizikiza, ekizikiza ne kitasobola kuwangula kitangaala. |
| 6 |
| Katonda yatuma omuntu, erinnya lye Yowanne, |
| 7 |
| n'ajja okutegeeza abantu ebifa ku kitangaala. Yajja okubategeeza, bonna balyoke bawulire era bakkirize. |
| 8 |
| Yowanne ono si ye yali ekitangaala, wabula yajja ategeeze abantu ebifa ku kitangaala. |
| 9 |
| Ekitangaala kyennyini, ekyakira buli muntu, kyali kijja mu nsi. |
| 10 |
| Kigambo yali mu nsi. Katonda yatonda ensi ng'ayita mu ye. Naye Kigambo bwe yali mu nsi, ensi teyamutegeera. |
| 11 |
| Yajja mu nsi ye, abantu be ne batamwaniriza. |
| 12 |
| Naye abo abaamwaniriza ne bamukkiriza, yabasobozesa okufuuka abaana ba Katonda. |
| 13 |
| Baafuuka abaana ba Katonda, mu ngeri eteri ya bulijjo abantu gye bazaalibwamu, wabula Katonda yennyini ye Kitaabwe. |
| 14 |
| Kigambo yafuuka omuntu, n'abeera wamu naffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng'ajjudde ekisa era n'amazima. Ekitiibwa ekyo, kye yafuna ye, Omwana omu bw'ati yekka owa Katonda. |
| 15 |
| Yowanne yakangula eddoboozi ng'amwogerako nti: “Ono gwe nayogerako, bwe nagamba nti: ‘Oyo anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga yabaawo nga nze sinnabaawo.’ ” |
| 16 |
| Ku bugagga bwe obutakoma, ffenna kwe twagabana, ng'atuwa ebirabo eby'okumukumu. |
| 17 |
| Katonda yawa Amateeka ng'ayita mu Musa, kyokka okusaasira era n'amazima byajja nga biyita mu Yesu Kristo. |
| 18 |
| Tewali yali alabye Katonda, wabula Omwana we omu yekka, nga ye omu ne Katonda era abeerera ddala okumpi ne Kitaawe, ye yatubuulira Katonda bw'ali. |
| 19 |
| Bino bye bigambo Yowanne Omubatiza bye yayogera, Abayudaaya ab'omu Yerusaalemu bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti: “Ggwe ani?” |
| 20 |
| Teyagaana kuddamu, wabula yayatulira ddala nti: “Si nze Kristo.” |
| 21 |
| Ne bamubuuza nti: “Kale ggwe ani? Ggwe Eliya?” Yowanne n'addamu nti: “Nedda.” |
| 22 |
| Awo ne bamugamba nti: “Abaatutumye tunaabagamba nti ggwe ani? Weeyita otya?” |
| 23 |
| N'addamu nti: “Nze ddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu nti: ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama,’ nga Yisaaya omulanzi bwe yayogera.” |
| 24 |
| Abaatumibwa baali ba mu Bafarisaayo. |
| 25 |
| Awo ne babuuza Yowanne nti: “Kale lwaki obatiza oba nga si ggwe Kristo oba Eliya, oba Omulanzi oli?” |
| 26 |
| Yowanne n'abaddamu nti: “Nze mbatiza na mazzi, naye wakati mu mmwe wayimiriddewo gwe mutamanyi, |
| 27 |
| anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.” |
| 28 |
| Ebyo byabaawo e Betaniya, emitala w'omugga Yorudaani. Yowanne gye yabatirizanga. |
| 29 |
| Ku lunaku olwaddirira, Yowanne n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Laba, Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo, aggyawo ebibi by'ensi. |
| 30 |
| Ye wuuyo gwe nayogerako nti: ‘Waliwo omuntu anvaako emabega, ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’ |
| 31 |
| Nange nali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n'amazzi, ye alyoke amanyibwe abantu ba Yisirayeli.” |
| 32 |
| Yowanne n'ayatula ng'agamba nti: “Nalaba Mwoyo ng'ava mu ggulu, ng'afaanana ng'enjiibwa, ng'akka ku ye. |
| 33 |
| Nze nali sinnamumanya, wabula Katonda eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti: ‘Gw'oliraba nga Mwoyo akka n'abeera ku ye, ye wuuyo abatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.’ |
| 34 |
| Ekyo nakiraba, era mbategeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.” |
| 35 |
| Ku lunaku olwaddirira, era Yowanne yali akyali awo ng'ayimiridde wamu n'ababiri ku bayigirizwa be, |
| 36 |
| n'alaba Yesu ng'atambula, n'agamba nti: “Laba Omwana gw'Endiga owa Katonda wuuyo!” |
| 37 |
| Abayigirizwa bombi ne bamuwulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu. |
| 38 |
| Awo Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'abalaba nga bamugoberera, n'ababuuza nti: “Munoonya ki?” Ne bamuddamu nti: “Rabbi, osula wa?” (Rabbi, amakulu gaakyo, Muyigiriza). |
| 39 |
| Yesu n'abagamba nti: “Mujje mulabeyo.” Ne bagenda ne balaba gy'asula, ne bamala naye olunaku olwo. Obudde bwali nga essaawa kkumi ez'olweggulo. |
| 40 |
| Omu ku abo abaawulira Yowanne ng'ayogera ne bagenda ne Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni. |
| 41 |
| Ono yasooka kusanga muganda we Simooni, n'amugamba nti: “Messiya, tumulabye.” (Messiya, kwe kugamba nti “Kristo,” ekitegeeza nti “Eyafukibwako Omuzigo”). |
| 42 |
| N'aleeta Simooni eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti “Ggwe Simooni, omwana wa Yona, onooyitibwanga Keefa” (Keefa ye Peetero, ekitegeeza nti “Lwazi”). |
| 43 |
| Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'asalawo okugenda e Galilaaya. N'asanga Filipo, n'amugamba nti: “Yitanga nange.” |
| 44 |
| Filipo yali w'e Betusayida, ekibuga Andereya ne Peetero gye baabeeranga. |
| 45 |
| Filipo n'asanga Natanayili, n'amugamba nti: “Oyo Musa gwe yayogerako mu Kitabo ky'Amateeka, era n'abalanzi gwe baayogerako mu bye baawandiika, tumulabye. Ye Yesu ow'e Nazaareeti.” |
| 46 |
| Natanayili n'amubuuza nti: “E Nazaareeti eyinza okuvaayo akalungi?” Filipo n'amuddamu nti: “Jjangu olabe.” |
| 47 |
| Yesu bwe yalaba Natanayili ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti: “Laba Omuyisirayeli wawu, ataliimu bukuusa!” |
| 48 |
| Natanayili n'amubuuza nti: “Wammanyira wa?” Yesu n'amuddamu nti: “Nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini, Filipo nga tannakuyita.” |
| 49 |
| Natanayili n'amuddamu nti: “Muyigiriza, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Yisirayeli!” |
| 50 |
| Yesu n'amugamba nti: “Okkirizza olw'okuba nga nkugambye nti nakulabye ng'oli wansi w'omuti omutiini? Oliraba ebisinga ebyo.” |
| 51 |
| Era n'amugamba nti: “Mazima ddala nkugamba nti muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku Mwana w'Omuntu.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/john/001.mp3
21
1