Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. |
| 2 |
| Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda. |
| 3 |
| Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo. |
| 4 |
| Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. |
| 5 |
| Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza. |
| 6 |
| Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma, |
| 7 |
| eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye. |
| 8 |
| Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana. |
| 9 |
| Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu. |
| 10 |
| Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. |
| 11 |
| Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. |
| 12 |
| Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. |
| 13 |
| Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. |
| 14 |
| Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima. |
| 15 |
| Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ” |
| 16 |
| Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa. |
| 17 |
| Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima. |
| 18 |
| Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako. |
| 19 |
| Bino bye bigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze b’Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?” |
| 20 |
| Teyagaana kubaddamu, wabula yayatulira ddala nti, “Si nze Kristo.” |
| 21 |
| Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?” Yokaana Omubatiza n’addamu nti, “Nedda, si nze ye.” Ne bongera okumubuuza nti, “Ggwe Nnabbi ayogerwako?” N’addamu nti, “Nedda.” |
| 22 |
| Awo ne bamugamba nti, “Abatutumye tunaabagamba nti, Ggwe ani? Weeyita otya?” |
| 23 |
| N’abaddamu nti, “Nze ndi ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’asinziira mu ddungu nti, ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama mweteekereteekere okujja kwe, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.’ ” |
| 24 |
| Abaatumibwa baava eri Abafalisaayo. |
| 25 |
| Awo ne babuuza Yokaana nti, “Kale lwaki obatiza, obanga si ggwe Kristo oba Eriya oba nnabbi oli?” |
| 26 |
| Yokaana n’addamu nti, “Nze mbatiza na mazzi, naye waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi, |
| 27 |
| anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.” |
| 28 |
| Ebyo byali Besaniya, emitala w’omugga Yoludaani, Yokaana Omubatiza gye yabatirizanga. |
| 29 |
| Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi. |
| 30 |
| Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’ |
| 31 |
| Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n’amazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.” |
| 32 |
| Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu, |
| 33 |
| n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’ |
| 34 |
| Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.” |
| 35 |
| Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri, |
| 36 |
| Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda.” |
| 37 |
| Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu. |
| 38 |
| Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, “Mwagala ki?” Ne bamuddamu nti, “Labbi” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”), “obeera wa?” |
| 39 |
| N’abaddamu nti, “Mujje mulabeyo.” Awo ne bagenda naye gye yali abeera, olunaku olwo ne baluzibiza eyo nga bali naye, obudde bwali ng’essaawa kkumi ez’olweggulo okutuusa akawungeezi. |
| 40 |
| Omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera ne bagoberera Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni Peetero. |
| 41 |
| Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo). |
| 42 |
| Andereya n’atwala Simooni eri Yesu. Yesu bwe yeetegereza Simooni, n’amugamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa,” amakulu nti Peetero. |
| 43 |
| Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.” |
| 44 |
| Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero. |
| 45 |
| Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.” |
| 46 |
| Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?” Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.” |
| 47 |
| Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.” |
| 48 |
| Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?” Yesu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini.” |
| 49 |
| Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!” |
| 50 |
| Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. |
| 51 |
| Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/john/001.mp3
21
1