|
| 1 |
|
| Yesu n'agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi. |
|
| 2 |
|
| Naye ayita mu mulyango, ye musumba w'endiga. |
|
| 3 |
|
| Oyo omuggazi amuggulirawo; n'endiga zimuwulira eddoboozi: endiga ze aziyita amannya era azifulumya ebweru. |
|
| 4 |
|
| Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n'endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi. |
|
| 5 |
|
| Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala.” |
|
| 6 |
|
| Yesu n'abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba. |
|
| 7 |
|
| Awo Yesu n'abagamba nate nti, “Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga. |
|
| 8 |
|
| Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira. |
|
| 9 |
|
| Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro. |
|
| 10 |
|
| Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi. |
|
| 11 |
|
| Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga. |
|
| 12 |
|
| Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya. |
|
| 13 |
|
| Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo. |
|
| 14 |
|
| Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera, |
|
| 15 |
|
| nga Kitange bw'antegeera, nange bwe ntegeera Kitange; nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga. |
|
| 16 |
|
| Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu. |
|
| 17 |
|
| Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate. |
|
| 18 |
|
| Tewali abunziggyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nnakiweebwa Kitange.” |
|
| 19 |
|
| Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo. |
|
| 20 |
|
| Abamu ku bo bangi ne bagamba nti, “Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki?” |
|
| 21 |
|
| Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?” |
|
| 22 |
|
| Yali mbaga ey'okutukuza mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo; |
|
| 23 |
|
| Yesu n'atambulira mu Yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani. |
|
| 24 |
|
| Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti, “Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulirire ddala.” |
|
| 25 |
|
| Yesu n'abaddamu nti, “Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze. |
|
| 26 |
|
| Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. |
|
| 27 |
|
| Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera; |
|
| 28 |
|
| nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange. |
|
| 29 |
|
| Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange. |
|
| 30 |
|
| Nze ne Kitange tuli omu.” |
|
| 31 |
|
| Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba. |
|
| 32 |
|
| Yesu n'abaddamu nti, “Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nnagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?” |
|
| 33 |
|
| Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.” |
|
| 34 |
|
| Yesu n'abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda? |
|
| 35 |
|
| Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba), |
|
| 36 |
|
| mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yatukuza, n'amutuma mu nsi, nti Ovvodde; kubanga ŋŋambye nti Ndi Mwana wa Katonda? |
|
| 37 |
|
| Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza. |
|
| 38 |
|
| Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.” |
|
| 39 |
|
| Ne basala amagezi nate okumukwata: n'ava mu mikono gyabwe. |
|
| 40 |
|
| N'agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng'abatiza; n'abeera eyo. |
|
| 41 |
|
| Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti, “Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bwe yayogera ku ono byali bya mazima.” |
|
| 42 |
|
| Bangi abaali eyo ne bamukkiriza. |
|
|
|
|