Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo omuntu ayitibwa Laazaro, eyali e Betaniya, n'alwala. Betaniya kye kibuga Mariya ne muganda we Marita mwe baali. |
| 2 |
| Mariya oyo, ye yasiiga Mukama waffe omuzigo ogw'akawoowo ku bigere, n'abisiimuuza enviiri ze, era ye yali mwannyina wa Laazaro omulwadde. |
| 3 |
| Bannyina ba Laazaro abo, ne batumira Yesu nga bagamba nti: “Ssebo, mukwano gwo alwadde.” |
| 4 |
| Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba nti: “Ekigendereddwa mu bulwadde buno, si kufa, wabula kitiibwa kya Katonda, era Omwana wa Katonda bujja kumuweesa ekitiibwa.” |
| 5 |
| Yesu yali mukwano gwa Laazaro ne Marita era ne Mariya. |
| 6 |
| Bwe yawulira nga Laazaro alwadde, gye yali n'asigalayo ate ennaku endala ssatu. |
| 7 |
| Oluvannyuma n'agamba abayigirizwa be nti: “Tuddeyo mu Buyudaaya.” |
| 8 |
| Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Muyigiriza, Abayudaaya baali baagala kukukuba mayinja, ate eyo gy'oyagala okudda?” |
| 9 |
| Yesu n'addamu nti: “Essaawa ez'emisana teziba kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba ekitangaala ky'ensi eno. |
| 10 |
| Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga taba na kitangaala.” |
| 11 |
| Bwe yamala okwogera ebyo, n'abagamba nti: “Mukwano gwaffe Laazaro yeebase, wabula ŋŋenda okumuzuukusa.” |
| 12 |
| Abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.” |
| 13 |
| Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaro, naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo. |
| 14 |
| Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti: |
| 15 |
| “Laazaro afudde. Ku lw'obulungi bwammwe nsanyuse kubanga saaliyo, n'olwekyo mujja kukkiriza. Kale tugende gy'ali.” |
| 16 |
| Awo Tomasi ayitibwa Omulongo, n'agamba bayigirizwa banne nti: “Naffe ka tugende tufiire wamu naye.” |
| 17 |
| Yesu bwe yatuukayo, n'asanga nga Laazaro amaze ennaku nnya mu ntaana. |
| 18 |
| Betaniya kyali kumpi ne Yerusaalemu, kilomita nga ssatu. |
| 19 |
| Abayudaaya bangi, baali bazze ewa Marita ne Mariya okubakubagiza olw'okufiirwa mwannyinaabwe. |
| 20 |
| Marita bwe yawulira nti Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana, Mariya ye ng'ali mu nnyumba. |
| 21 |
| Marita n'agamba Yesu nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde! |
| 22 |
| Naye mmanyi nti ne kaakano, byonna Katonda by'onoomusaba, anaabikuwa.” |
| 23 |
| Yesu n'amugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” |
| 24 |
| Marita n'amugamba nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira okw'olunaku olw'enkomerero.” |
| 25 |
| Yesu n'amugamba nti: “Nze kuzuukira, era nze bulamu. Anzikiriza, ne bw'afa, aliba mulamu. |
| 26 |
| Era buli mulamu anzikiriza, talifa emirembe n'emirembe. Ekyo okikkiriza?” |
| 27 |
| Ye n'amuddamu nti: “Weewaawo Ssebo, nze nzikiriza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ow'okujja mu nsi.” |
| 28 |
| Marita bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'ayita muganda we Mariya, n'amugamba mu kyama nti: “Omuyigiriza azze, akuyita.” |
| 29 |
| Mariya bwe yawulira, n'asituka mangu, n'agenda okusisinkana Yesu. |
| 30 |
| Yesu yali tannatuuka mu kibuga, ng'akyali mu kifo Marita kye yamusangamu. |
| 31 |
| Awo Abayudaaya abaali ne Mariya mu nnyumba nga bamukubagiza, bwe baalaba ng'asituse mangu n'afuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti alaga ku ntaana, akaabire eyo. |
| 32 |
| Awo Mariya bwe yatuuka awali Yesu, n'amulaba, n'agwa kumpi n'ebigere bye, n'amugamba nti: “Ssebo, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde!” |
| 33 |
| Yesu bwe yalaba Mariya ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nabo nga bakaaba, n'anyolwa mu mutima, n'ajjula obuyinike, |
| 34 |
| n'ababuuza nti: “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti: “Ssebo, jjangu olabeyo.” |
| 35 |
| Yesu n'akaaba amaziga. |
| 36 |
| Awo Abayudaaya ne bagamba nti: “Mulabe nga bw'abadde amwagala!” |
| 37 |
| Naye abamu ku bo ne bagamba nti: “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, teyandiyinzizza kubaako ky'akola, Laazaro n'atafa?” |
| 38 |
| Awo Yesu n'addamu okujjula obuyinike, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eggaliddwawo n'ejjinja. |
| 39 |
| Yesu n'agamba nti: “Muggyeewo ejjinja.” Marita mwannyina w'omufu, n'agamba Yesu nti: “Ssebo, kaakano awunya, kubanga amaze ennaku nnya!” |
| 40 |
| Yesu n'amugamba nti: “Sikugambye nti bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” |
| 41 |
| Ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'agamba nti: “Kitange, nkwebaza kubanga ompulidde. |
| 42 |
| Nze mmanyi ng'ompulira bulijjo, naye njogedde olw'abantu abali wano, balyoke bakkirize nga ggwe wantuma.” |
| 43 |
| Bwe yamala okwogera ebyo, n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Laazaro, fuluma ojje!” |
| 44 |
| Eyali afudde n'avaayo ng'amagulu ge n'emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n'ekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu n'abagamba nti: “Mumusumulule, mumuleke agende.” |
| 45 |
| Awo bangi mu Bayudaaya abaali bazze ewa Mariya, bwe baalaba Yesu ky'akoze, ne bamukkiriza. |
| 46 |
| Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafarisaayo, ne bababuulira Yesu ky'akoze. |
| 47 |
| Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti: “Tukole ki? Omuntu ono akola ebyamagero bingi. |
| 48 |
| Bwe tumuleka bwe tutyo, bonna bajja kumukkiriza, n'Abarooma balijja ne bazikiriza ekibuga kyaffe n'eggwanga lyaffe!” |
| 49 |
| Awo omu ku bo, Kayaafa, eyali Ssaabakabona mu mwaka ogwo, n'abagamba nti: “Mmwe temuliiko kye mumanyi. |
| 50 |
| Temulaba nti kibagasa omuntu omu okufiirira abantu, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?” |
| 51 |
| Ekyo teyakyogera ku bubwe, wabula nga bwe yali Ssaabakabona omwaka ogwo, yalanga nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo, |
| 52 |
| sso si ggwanga eryo lyokka, naye n'okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana. |
| 53 |
| Okuva ku lunaku olwo, ne bakola olukwe okutta Yesu. |
| 54 |
| N'olwekyo Yesu n'atatambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n'avaayo, n'alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efurayimu, n'abeera eyo n'abayigirizwa. |
| 55 |
| Embaga y'Abayudaaya Ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, bangi ne bava mu byalo, ne bambuka e Yerusaalemu, okukola omukolo ogw'okwetukuza, ng'Embaga tennatuuka. |
| 56 |
| Ne banoonya Yesu. Era nga bakuŋŋaanidde mu Ssinzizo, ne beebuuzaganya nti: “Mulowooza mutya? Tajje ku Mbaga?” |
| 57 |
| Bakabona abakulu n'Abafarisaayo baali balagidde nti bwe wabaawo amanyi Yesu w'ali, ababuulire, balyoke bamukwate. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/john/011.mp3
21
11