Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. |
| 2 |
| Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. |
| 3 |
| Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo.” |
| 4 |
| Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.” |
| 5 |
| Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali |
| 6 |
| n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali. |
| 7 |
| Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.” |
| 8 |
| Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?” |
| 9 |
| Yesu n’abaddamu nti, “Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba. |
| 10 |
| Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.” |
| 11 |
| Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, “Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa.” |
| 12 |
| Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.” |
| 13 |
| Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo. |
| 14 |
| Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, “Laazaalo afudde. |
| 15 |
| Naye ku lw’obulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gy’ali.” |
| 16 |
| Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo n’agamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.” |
| 17 |
| Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana. |
| 18 |
| Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu. |
| 19 |
| Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe. |
| 20 |
| Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde. |
| 21 |
| Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. |
| 22 |
| Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.” |
| 23 |
| Yesu n’agamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.” |
| 24 |
| Maliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.” |
| 25 |
| Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, |
| 26 |
| na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?” |
| 27 |
| Maliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.” |
| 28 |
| Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” |
| 29 |
| Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu. |
| 30 |
| Yesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga. |
| 31 |
| Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo. |
| 32 |
| Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.” |
| 33 |
| Yesu bwe yamulaba ng’akaaba era n’Abayudaaya abaali naye nga bakaaba n’anyolwa mu mutima, n’ajjula obuyinike. |
| 34 |
| N’abuuza nti, “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti, “Mukama waffe jjangu olabeyo.” |
| 35 |
| Yesu n’akaaba amaziga. |
| 36 |
| Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ng’abadde amwagala nnyo!” |
| 37 |
| Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?” |
| 38 |
| Awo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. N’atuuka ku ntaana. Yali mpuku ng’eggaliddwawo n’ejjinja. |
| 39 |
| Yesu n’agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Naye Maliza, mwannyina w’omufu, n’amugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.” |
| 40 |
| Yesu n’amuddamu nti, “Saakugambye nti bw’onokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?” |
| 41 |
| Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti, “Kitange nkwebaza olw’okumpulira. |
| 42 |
| Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olw’abantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti ggwe wantuma.” |
| 43 |
| Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Laazaalo fuluma.” |
| 44 |
| Awo Laazaalo n’ava mu ntaana, ng’amagulu ge n’emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n’ekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu n’abagamba nti, “Mumusumulule atambule.” |
| 45 |
| Bangi ku Bayudaaya abajja ne Maliyamu bwe baalaba Yesu ky’akoze ne bamukkiriza. |
| 46 |
| Naye abalala ne bagenda eri Abafalisaayo ne babategeeza Yesu kye yakola. |
| 47 |
| Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi. |
| 48 |
| Bwe tumuleka bw’atyo, abantu bonna bajja kumukkiriza bamugoberere, n’ekirivaamu Abaruumi bagenda kujja bazikirize ekifo ekitukuvu n’eggwanga lyaffe.” |
| 49 |
| Awo omu ku bo, Kayaafa eyali Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo, n’abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi. |
| 50 |
| Temulaba nti kirungi omuntu omu afe, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?” |
| 51 |
| Ekyo Kayaafa teyakyogera ku bubwe, wabula ye nga Kabona Asinga Obukulu, yayogera eby’obunnabbi nti Yesu yali anaatera okufiirira eggwanga, |
| 52 |
| ate si ggwanga lyokka naye n’okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana. |
| 53 |
| Okuva ku lunaku olwo abakulembeze b’Abayudaaya ne basala amagezi okutta Yesu. |
| 54 |
| Noolwekyo, Yesu n’alekayo okutambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n’avaayo n’alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu, n’abeera eyo n’abayigirizwa be. |
| 55 |
| Embaga y’Abayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogw’okwetukuza ng’embaga tennatuuka. |
| 56 |
| Bwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?” |
| 57 |
| Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali balagidde nti, Omuntu yenna bw’amanya Yesu wali abategeeze, balyoke bamukwate. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/john/011.mp3
21
11