Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Bwe waali nga wakyabulayo ennaku mukaaga, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke, Yesu n'ajja e Betaniya, awaali Laazaro, gwe yazuukiza. |
| 2 |
| Ne bamufumbirayo ekyeggulo, Marita n'aweereza. Laazaro yali omu ku baali batudde ne Yesu okulya. |
| 3 |
| Awo Mariya n'addira eccupa erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agusiiga ku bigere bya Yesu, n'abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba n'ejjula akawoowo ak'omuzigo ogwo. |
| 4 |
| Naye Yuda Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti: |
| 5 |
| “Lwaki omuzigo guno tegutundiddwa denaari ebikumi bisatu, ne zigabirwa abaavu?” |
| 6 |
| Yayogera ekyo, si lwa kulumirwa baavu, wabula kubanga yali mubbi. Ye yakwatanga ensawo, era bye baateekangamu, ng'abitwala. |
| 7 |
| Yesu n'agamba nti: “Omukazi mumuleke, omuzigo aguterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange. |
| 8 |
| Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.” |
| 9 |
| Awo ekibiina kinene eky'Abayudaaya, ne kitegeera nti Yesu ali Betaniya. Ne kijja, si lwa Yesu yekka, naye n'okulaba Laazaro, Yesu gwe yazuukiza. |
| 10 |
| Bakabona abakulu ne basala amagezi okutta ne Laazaro, |
| 11 |
| kubanga ku lulwe, Abayudaaya bangi baabavangako, ne bakkiriza Yesu. |
| 12 |
| Ku lunaku olwaddirira, abantu abangi abaali bazze ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemu, |
| 13 |
| ne bakwata amatabi g'enkindu, ne bagenda okumusisinkana, ne baleekaana nti: “Mukama atenderezebwe! Ajja mu linnya lya Mukama, aweereddwa omukisa. Ye Kabaka wa Yisirayeli.” |
| 14 |
| Awo Yesu n'asanga endogoyi, n'agyebagalako, nga bwe kyawandiikibwa nti: |
| 15 |
| “Mmwe abantu b'e Siyooni, temutya. Laba, Kabaka wammwe ajja, nga yeebagadde omwana gw'endogoyi.” |
| 16 |
| Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira, ng'ebyo byawandiikibwa nga bifa ku ye, era nga baabimukolera. |
| 17 |
| Ekibiina ky'abantu ekyaliwo nga Yesu ayita Laazaro okuva mu ntaana n'amuzuukiza, kyanyumya ebibaddewo. |
| 18 |
| Abantu bangi kyebaava bajja okumusisinkana, kubanga baali bawulidde nga yakola ekyewuunyo ekyo. |
| 19 |
| Awo Abafarisaayo ne bagambagana nti: “Mulabe bwe tulemeddwa! Ensi yonna emusenze!” |
| 20 |
| Mu abo abaayambuka e Yerusaalemu, mu budde obw'Embaga okusinza Katonda, mwalimu Abayonaani abamu. |
| 21 |
| Bano ne bajja eri Filipo, eyava e Betusayida eky'omu Galilaaya, ne bamusaba nti: “Ssebo, twagala okulaba Yesu.” |
| 22 |
| Filipo n'agenda n'abuulira Andereya, bombi ne bategeeza Yesu. |
| 23 |
| Yesu n'abaddamu nti: “Ekiseera kituuse Omwana w'Omuntu agulumizibwe. |
| 24 |
| Mazima ddala mbagamba nti empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka. Naye bw'efa, ebala ebibala bingi. |
| 25 |
| Buli ayagala obulamu bwe, alibufiirwa. Naye akyawa obulamu bwe mu nsi muno, alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. |
| 26 |
| Oyo ampeereza, angoberere. Nze we ndi, n'omuweereza wange w'anaabeeranga. Kitange aliwa ekitiibwa oyo ampeereza. |
| 27 |
| “Kaakano omutima gwange gweraliikiridde, era njogere ki? Ŋŋambe nti: ‘Kitange, mponya akaseera kano?’ Naye ate ekyandeeta, kwe kuyita mu kaseera kano ak'okubonaabona! |
| 28 |
| Kitange gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti: “Naligulumiza, era ndirigulumiza nate.” |
| 29 |
| Ekibiina ky'abantu, ekyali kiyimiridde awo bwe kyawulira, ne kigamba nti: “Laddu ye bwatuse!” Abalala ne bagamba nti: “Malayika ayogedde naye.” |
| 30 |
| Yesu n'abagamba nti: “Eddoboozi lino terizze ku lwange, wabula ku lwammwe. |
| 31 |
| Kaakano ensi ejja kusalirwa omusango, kaakano omufuzi w'ensi eno, ajja kugoberwa ebweru. |
| 32 |
| Ate nze bwe ndisitulibwa ku nsi, ndisika bonna ne mbazza gye ndi.” |
| 33 |
| Ekyo yakyogera, ng'ategeeza enfa gy'alifaamu. |
| 34 |
| Awo ekibiina ky'abantu ne kimuddamu nti: “Ffe mu Mateeka twawulira nti Kristo wa kubeerawo emirembe n'emirembe. Ate ggwe lwaki ogamba nti Omwana w'Omuntu ateekwa okusitulibwa? Omwana w'Omuntu oyo ye ani?” |
| 35 |
| Yesu n'abagamba nti: “Ekitangaala kinaabeera nammwe okumala ekiseera kitono. Mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme kubakwatira mu kkubo, kubanga atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda. |
| 36 |
| Mukkirize ekitangaala nga mukyakirina, mulyoke mube abaana b'ekitangaala.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'abeekweka. |
| 37 |
| Newaakubadde yakola ebyewuunyo ebyenkanidde awo mu maaso gaabwe, era tebaamukkiriza. |
| 38 |
| Ekigambo kya Yisaaya omulanzi ne kituukirira, ekigamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye tugamba? Era Mukama yalaga ani obuyinza bwe?” |
| 39 |
| Kyebaava balema okukkiriza, kubanga Yisaaya yagamba era nti: |
| 40 |
| “Katonda yabaziba amaaso, n'abakakanyaza emitima, amaaso gaabwe galeme okulaba, n'emitima gyabwe gireme okutegeera, era baleme kukyuka mbawonye.” |
| 41 |
| Ebyo Yisaaya yabyogera, kubanga yalaba ekitiibwa kya Yesu, n'amwogerako. |
| 42 |
| Sso era bangi mu bakungu Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw'okutya Abafarisaayo, tebaakyatula, baleme okugobwa mu kkuŋŋaaniro. |
| 43 |
| Baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu, okusinga ekitiibwa ekibaweebwa Katonda. |
| 44 |
| Awo Yesu n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba nti: “Anzikiriza, takkiriza Nze, wabula akkiriza oli eyantuma. |
| 45 |
| Era alaba nze, ng'alabye oli eyantuma. |
| 46 |
| Nze najja mu nsi nga ndi kitangaala, buli anzikiriza, aleme kubeera mu kizikiza. |
| 47 |
| Awulira ebigambo byange n'atabikolerako, Nze simusalira musango, kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okugirokola. |
| 48 |
| Agaana Nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango. Ebigambo bye nayogera bye birimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero, |
| 49 |
| kubanga Nze saayogeranga ku bwange, wabula Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba, n'okwogera. |
| 50 |
| Era mmanyi ng'ekiragiro kye, bwe bulamu obutaggwaawo. Kale Nze bye njogera, mbyogera nga Kitange bwe yabiŋŋamba.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/john/012.mp3
21
12