Luganda Bible
|
| 1 |
| Nze muzabbibu ogw'amazima, ne Kitange ye mulimi. |
| 2 |
| Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala. |
| 3 |
| Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye. |
| 4 |
| Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. |
| 5 |
| Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola. |
| 6 |
| Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya. |
| 7 |
| Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga. |
| 8 |
| Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange. |
| 9 |
| Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbaagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. |
| 10 |
| Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe. |
| 11 |
| Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mu mmwe, era essanyu lyammwe lituukirire. |
| 12 |
| Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe. |
| 13 |
| Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. |
| 14 |
| Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. |
| 15 |
| Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanyi mukama we by'akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe. |
| 16 |
| Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga. |
| 17 |
| Mbalagidde bino, mwagalanenga. |
| 18 |
| Ensi bw'ebakyawanga mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe. |
| 19 |
| Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. |
| 20 |
| Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe banaakikwatanga. |
| 21 |
| Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'erinnya lyange, kubanga tebamumanyi eyantuma. |
| 22 |
| Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw'ekibi kyabwe. |
| 23 |
| Ankyawa nze akyawa ne Kitange. |
| 24 |
| Singa saakolera mu bo mirimu egitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi; naye kaakano balabye ne bankyawa ne Kitange. |
| 25 |
| Naye ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere. |
| 26 |
| Naye Omubeezi bw'alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow'amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange: |
| 27 |
| era nammwe mutegeeza ebyange kubanga okuva ku lubereberye mwali nange. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/john/015.mp3
21
15